Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Totya. Nja Kukuyamba”

“Totya. Nja Kukuyamba”

KUBA akafaananyi ng’otambula mu kkubo ekiro. Ogenda okulaba nga waliwo omuntu akugoberera. Bw’oyimiriramu nga naye ayimirira. Bw’oyanguwa, nga naye ayanguwa. Otandika okudduka era otuuka ku nnyumba ya mukwano gwo eri okumpi awo. Mukwano gwo oyo bw’aggulawo oluggi n’oyingira, owulira obuweerero.

Oyinza okuba nga totuukangako mu mbeera eyo, naye oyinza okuba ng’olina ebintu ebirala mu bulamu ebikweraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, kyandiba nti waliwo obunafu bw’olwanyisa naye ng’okyalemereddwa okubuvvuunuka? Omaze ekiseera kiwanvu nga tolina mulimu wadde ng’okoze kyonna ekisoboka okugunoonya? Okiraba nti ogenda okaddiwa era weeraliikirira ebizibu ebiyinza okujjawo ng’okaddiye? Oba kyandiba nti waliwo ekintu ekirala ekikweraliikiriza?

K’obe ng’olina kizibu ki, olowooza tewandyagadde kuba na mukwano gwo gw’osobola okubuulirako ebikweraliikiriza era ng’asobola okukuwa obuyambi bwe weetaaga? Olinayo mukwano gwo ng’oyo? Yee, omulina! Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 41:8-13, Yakuwa mukwano gwo era asobola okukuyamba nga bwe yayamba mukwano gwe Ibulayimu. Mu lunyiriri olwa 10 n’olwa 13, Yakuwa agamba abaweereza be nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu. Kubanga nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’ ”

“NJA KUKUWANIRIRA”

Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Weeteeke mu mbeera Yakuwa gy’ayogerako mu nnyiriri ezo. Ennyiriri ezo teziraga nti otambulira wamu ne Yakuwa ng’akukutte ku mukono wadde ng’ekyo kyandibadde kirungi nnyo. Singa obadde otambulira wamu naye ng’akukutte ku mukono, omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwandibadde gukutte omukono gwo ogwa kkono. Mu kifo ky’ekyo, ennyiriri ezo ziraga ‘ng’omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo ogw’obutuukirivu’ gukutte “omukono gwo ogwa ddyo,” ng’alinga akusika okukuggya mu buzibu bw’olimu. Bw’aba akuggya mu buzibu obwo, akugumya ng’agamba nti: “Totya. Nja kukuyamba.” 

Yakuwa omutwala nga Kitaawo akwagala era nga Mukwano gwo ajja okukuyamba ng’oli mu buzibu? Yakuwa akufaako nnyo, ayagala obeere bulungi, era mwetegefu okukuyamba. Bw’ofuna ebizibu, Yakuwa ayagala obe mugumu kubanga akwagala nnyo. ‘Bulijjo abaawo okukuyamba ng’oli mu buzibu.’​—Zab. 46:1.

OKULUMIRIZIBWA OLW’ENSOBI ZE WAKOLA EMABEGA

Abamu omutima gubalumiriza olw’ensobi ze baakola emabega nga beebuuza obanga ddala Katonda yabasonyiwa. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, lowooza ku musajja omwesigwa Yobu eyakkiriza nti alina ‘ebibi bye yakola mu buvubuka.’ (Yob. 13:26) N’omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, naye omutima gwamulumiriza olw’ensobi ze yakola emabega ne yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti “Tojjukira bibi bya mu buvubuka bwange na byonoono byange.” (Zab. 25:7) Olw’okuba tetutuukiridde, ‘ffenna twayonoona ne tutatuuka ku kitiibwa kya Katonda.’​—Bar. 3:23.

Ebigambo ebiri mu Isaaya essuula 41 mu kusooka byagambibwa abantu ba Katonda ab’edda. Baali boonoonye nnyo mu maaso ga Yakuwa, ne kiba nti Yakuwa yasalawo batwalibwe mu buwambe e Babulooni. (Is. 39:6, 7) Wadde kyali kityo, Yakuwa yakola enteekateeka ey’okununula abo abandyenenyezza mu bwesimbu ne badda gy’ali! (Is. 41:8, 9; 49:8) Ne leero, Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abo bonna abeenenya mu bwesimbu.​—Zab. 51:1.

Lowooza ku Takuya, * eyali agezaako okulwanyisa omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu n’ogw’okwemazisa. Emirundi mingi yagezaako okwekutula ku mize egyo naye n’agiddamu. Yawuliranga atya? Agamba nti: “Nnawuliranga nga sirina mugaso, naye buli lwe nnatuukiriranga Yakuwa ne mmusaba ansonyiwe, yannyimusanga.” Yakuwa yamuyimusanga atya? Abakadde mu kibiina kya Takuya baamugamba abategeezengako buli lwe yabanga alemereddwa okulwanyisa emize egyo. Takuya agamba nti: “Tekyabanga kyangu kubategeeza, naye buli lwe nnabategeezanga bannyambanga nnyo.” Abakadde abo baakola enteekateeka omulabirizi akyalira ebibiina okukyalirako Takuya. Omulabirizi oyo yagamba Takuya nti: “Siri wano mu butanwa. Nzize okukulaba kubanga Yakuwa ayagala nkulabe. Yakuwa ayagadde nkukyalireko.” Takuya agamba nti: “Nze nnali nkola ebibi, naye ate nga Yakuwa y’afuba okunnyamba.” Takuya yalekayo emize egyo emibi era ekiseera bwe kyayitawo yafuuka payoniya owa bulijjo era kati aweereza ku ofiisi y’ettabi. Nga Yakuwa bwe yayamba ow’oluganda oyo, naawe asobola okukuyamba.

OKWERALIIKIRIRA ENGERI Y’OKWEYIMIRIZAAWO

Okubulwa emirimu nakyo kyeraliikiriza abantu bangi. Abamu bwe bafiirwa omulimu, kibazibuwalira okufuna ekintu ekirala eky’okukola okusobola okweyimirizaawo. Wandiwulidde otya singa buli w’olaga bakugamba nti tewali mulimu. Abantu abamu bwe batuuka mu mbeera ng’eyo, bawulira nga baweddemu amaanyi. Yakuwa ayinza atya okukuyamba? Ayinza obutakusobozesa kufunirawo mulimu gw’oyagala, naye ayinza okukuyamba okujjukira ebigambo bya Kabaka Dawudi bino: “Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.” (Zab. 37:25) Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo nnyo, era ng’akozesa ‘omukono gwe ogwa ddyo ogw’obutuukirivu,’ asobola okukuyamba okufuna bye weetaaga okusobola okweyongera okumuweereza.

Yakuwa ayinza atya okukuyamba ng’ofiiriddwa omulimu gwo?

Sara, abeera mu Colombia, yalaba engeri Yakuwa gye yamuyambamu. Yalina omulimu ogwali gumusasula obulungi naye nga kumpi gutwala ebiseera bye byonna. Kyokka yali ayagala okugaziya ku buweereza bwe, bw’atyo yasalawo okuleka omulimu ogwo n’atandika okuweereza nga payoniya. Naye omulimu ogwali gusobola okumuwa ebiseera ebimala okuweereza nga payoniya teyagufuna mangu. Yasalawo okutandika okutunda bbalaafu naye bizineesi eyo n’egwa. Sara agamba nti: “Waayita emyaka esatu miramba nga sirina mulimu, naye Yakuwa yannyamba okugumira embeera eyo.” Sara yayiga okwawulawo wakati w’ebintu bye yeetaaga n’eby’okwejalabya, era n’okulekera awo okweraliikirira eby’enkya. (Mat. 6:33, 34) Nga wayise ekiseera, eyali amukozesa yamuyita n’addamu okumuwa omulimu gwennyini gwe yali akola. Sara yamutegeeza nti okusobola okuddamu okukola omulimu ogwo yalina okusooka okumukakasa nti yandimuwadde obudde obumala okwenyigira mu nteekateeka ze ez’eby’omwoyo. Wadde nga kati Sara tafuna ssente nnyingi ng’ezo ze yafunanga edda, asobola okuweereza nga payoniya. Agamba nti: “Mu mbeera eyo yonna nnalaba omukono gwa Yakuwa.”

OKWERALIIKIRIRA EBIZIBU EBIJJAWO MU BUKADDE

Ekintu ekirala ekyeraliikiriza abantu kwe kukaddiwa. Abantu bangi bwe batuuka mu myaka egy’okuwummuzibwa ku mulimu batandika okweraliikirira engeri gye baneeyimirizaawo. Ate era beeraliikirira ebizibu ebitera okubaawo mu myaka egy’obukadde. Kirabika Dawudi ye yagamba Yakuwa nti: “Tonsuula eri nga nkaddiye; tonjabulira ng’amaanyi gampedde.”​—Zab. 71:9, 18.

Kiki ekiyinza okuyamba abaweereza ba Yakuwa abakaddiye obuteeraliikirira? Basaanidde okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe n’okwesiga Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago bwabwe. Kiyinza n’okubeetaagisa okubaako ebintu ebimu bye beerekereza, gamba ng’ebintu eby’okwejalabya oboolyawo bye baba baamanyiira. Bayinza okukiraba nti “okulya enva endiirwa” kireeta essanyu okusinga “okulya ennyama y’ente ensava” era bayinza n’okukiraba nti ekyo kirungi eri obulamu bwabwe! (Nge. 15:17) Bw’osigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa, ajja kukulabirira ne mu nnaku zo ez’obukadde.

José ne Rose nga bali ne Tony ne Wendy

Lowooza ku José ne mukyala we Rose, abamaze emyaka egisukka mu 65 nga baweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Baamala emyaka egiwerako nga bajjanjaba taata wa Rose eyalina okulabirirwa emisana n’ekiro. Ate ne José yafuna obulwadde bwa kookolo n’alongoosebwa era baamukubanga n’eddagala ery’amaanyi eryamuyisanga obubi ennyo. Yakuwa ayambye José ne Rose? Yee. Naye abayambye atya? Abayambye ng’ayitira mu Tony ne mukyala we Wendy, bakkiriza bannaabwe abaabawa ennyumba aw’okubeera. Tony ne Wendy ennyumba eyo baali baagala okugiwa bapayoniya bagisuliremu bwereere. Emyaka mingi emabega, Tony bwe yali ng’akyasoma, yalabanga José ne Rose nga bayita ku ssomero lye yasomerangamu nga bagenda okubuulira. Yabaagala nnyo olw’obunyiikivu bwabwe, era ekyo kyamukwatako nnyo. Tony ne Wendy bwe baalowooza ku ky’okuba nti abafumbo abo abaali bakaddiye baali bakozesezza obulamu bwabwe bwonna okuweereza Yakuwa, baasalawo okubawa ennyumba eyo. Kati wayise emyaka 15 nga Tony ne Wendy balabirira José ne Rose, kati abasukka mu myaka 80. José ne Rose bakiraba nti Yakuwa y’akozesezza Tony ne Wendy okubayamba.

Naawe Yakuwa akugololedde ‘omukono gwe ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’ Onoowaayo omukono gwo eri oyo akusuubiza nti: “Totya. Nja kukuyamba”?

^ lup. 11 Amannya agamu gakyusiddwa.