Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki tusaanidde ‘okuba obulindaala’?

Lwaki tusaanidde ‘okuba obulindaala’?

“Temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.”​—MAT. 24:42.

ENNYIMBA: 136, 129

1. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okuba obulindaala. (Laba ekifaananyi waggulu.)

OLUKUŊŊAANA olunene bwe luba lunaatera okutandika, ssentebe agenda ku pulatifoomu n’ayaniriza bonna abazze. Obuyimba butandika era abaliwo bakimanya nti kye kiseera okutuula mu bifo byabwe bawulirize obuyimba obwo kibayambe okuteekateeka ebirowoozo byabwe okuwuliriza emboozi ezigenda okuweebwa. Naye waliwo abamu abawuguddwa, nga batambulatambula oba nga banyumya ne mikwano gyabwe ne batasobola kukimanya nti ekiseera kituuse era nti olukuŋŋaana lutandise. Balemereddwa okuba obulindaala. Ekyokulabirako ekyo kituyamba okulaba ekyo ekiyinza okubaawo singa tetuba bulindaala. Kikulu nnyo okuba obulindaala kubanga mu kiseera ekitali kya wala wagenda kubaawo ekintu ekikulu ennyo ffenna kye tulina okwetegekera. Kintu ki ekyo?

2. Lwaki Yesu yagamba abayigirizwa be ‘okuba obulindaala’?

2 Bwe yali ayogera ku ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu,’ Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi kiseera ekigereke we kinaatuukira.” Oluvannyuma Yesu yagamba abayigirizwa be emirundi egiwerako nti: “Mubeere bulindaala.” (Mat. 24:3; soma Makko 13:32-37.) Enjiri ya Matayo nayo eraga nti Yesu yalabula abayigirizwa be ku nsonga eyo. Yabagamba nti: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako. . . . Mubeerenga beetegefu kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” Era yagamba nti: “Mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”​—Mat. 24:42-44; 25:13.

3. Lwaki tulina okussaayo omwoyo ku bigambo Yesu bye yayogera?

3 Ffe Abajulirwa ba Yakuwa ebigambo bya Yesu ebyo tubitwala nga bikulu nnyo. Tukimanyi nti tuli mu “kiseera eky’enkomerero” era nti “ekibonyoobonyo ekinene” kinaatera okutandika! (Dan. 12:4; Mat. 24:21) Tulaba entalo, okweyongerayongera kw’ebikolwa eby’obugwenyufu n’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, enjawukana mu madiini, enjala, endwadde, ne musisi. N’omulimu gw’okubuulira ogwayogerwako gukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. (Mat. 24:7, 11, 12, 14; Luk. 21:11) Twesunga nnyo okujja kwa Mukama waffe era n’okulaba ng’ekigendererwa kya Katonda kituukirizibwa.​—Mak. 13:26, 27.

OLUNAKU LUSEMBEDDE

4. (a) Lwaki tusobola okugamba nti Yesu kati amanyi ddi Amagedoni lw’anaatandika? (b) Wadde nga tetumanyi ddi ekibonyoobonyo ekinene lwe kinaatandika, kiki kye tumanyi?

4 Bwe tugenda ku lukuŋŋaana olunene, tuba tumanyi ekiseera kyennyini ebitundu ebitali bimu we binaatandikira. Naye ne bwe tufuba tutya, tewali n’omu ku ffe asobola kumanya mwaka, olunaku, oba essaawa ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira. Yesu bwe yali ku nsi yagamba nti: “Eby’olunaku olwo n’ekiseera, tewali abimanyi, ka babe bamalayika mu ggulu oba Omwana, wabula Kitange yekka.” (Mat. 24:36) Naye kati Yesu yaweebwa obuyinza mu ggulu okuzikiriza ensi ya Sitaani. (Kub. 19:11-16) N’olwekyo, kati Yesu ateekwa okuba ng’amanyi ddi Amagedoni lw’anaatandika. Naye ffe tetumanyi. Ekyo kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo okusigala nga tuli bulindaala okutuusa ekibonyoobonyo ekinene lwe kinaatandika. Kyokka okuva edda n’edda, Yakuwa ye abadde amanyi ddi ekibonyoobonyo ekinene lwe kinaatandika. Yasalawo dda ekiseera kyennyini enkomerero lw’eneetandika era buli lukya, enkomerero yeeyongera okusembera. ‘Tejja kulwa!’ (Soma Kaabakuuku 2:1-3.) Ekyo tukimanya tutya?

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti obunnabbi bwa Yakuwa butuukirira mu kiseera kyennyini ky’aba agambye.

5 Obunnabbi Yakuwa bw’ayogera butuukirira mu kiseera kyennyini ky’aba agambye! Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kiseera Yakuwa kye yanunuliramu Abayisirayiri okuva e Misiri. Ng’ayogera ku Lunaku lwa Nisaani 14, 1513 E.E.T., Musa yagamba nti: “Ku lunaku olwo lwennyini emyaka 430 lwe gyaggwaako, abantu ba Yakuwa bonna baava mu nsi ya Misiri.” (Kuv. 12:40-42) ‘Emyaka egyo 430’ gyatandika mu 1943 E.E.T., endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu bwe yatandika okukola. (Bag. 3:17, 18) Nga wayise ekiseera, Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: “Kimanye nti ezzadde lyo baliba bagwira mu nsi endala, era nti abantu b’omu nsi eyo balibafuula baddu era balibabonyaabonya okumala emyaka 400.” (Lub. 15:13; Bik. 7:6) ‘Emyaka egyo 400’ egy’okubonyaabonyezebwa gyatandika mu 1913 E.E.T., Isimayiri bwe yakudaalira Isaaka nga Isaaka yaakaggibwa ku mabeere, era gyakoma mu 1513 E.E.T., Abayisirayiri bwe baava mu Misiri. (Lub. 21:8-10; Bag. 4:22-29) Weetegereze nti bwe waali wakyabulayo ebyasa bina, Yakuwa yassaawo olunaku lwennyini lwe yandibadde anunulirako abantu be!

6. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kununula abantu be?

6 Yoswa, omu ku abo abaanunulibwa okuva e Misiri, yagamba Abayisirayiri nti: “Mukimanyi bulungi nti tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde. Byonna bituukiridde gye muli. Tewali na kimu kitatuukiridde.” (Yos. 23:2, 14) Naffe tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutununula tuyite mu kibonyoobonyo ekinene nga bwe yasuubiza. Naye bwe tuba ab’okuwonawo ng’ensi eno ezikirizibwa, tulina okusigala nga tuli bulindaala.

OKUSOBOLA OKUWONAWO TULINA OKUBA OBULINDAALA

7, 8. (a) Abakuumi baabanga na buvunaanyizibwa ki mu biseera eby’edda, era ekyo kituyigiriza ki? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ekyo ekyabangawo singa abakuumi beebakanga nga bali ku mulimu gwabwe.

7 Tulina kye tuyigira ku basajja abaakuumanga ebibuga mu biseera eby’edda. Mu biseera ebyo, ebibuga ebinene, gamba nga Yerusaalemi, byabanga byetooloddwa bbugwe omuwanvu. Bbugwe oyo yaziyizanga abalabe okuyingira ebibuga ate era olw’okuba yabanga muwanvu, yasobozesanga abakuumi okuyima okwo ne balengera ebifa mu bitundu ebyetooloddewo. Abakuumi baateekebwanga ku bbugwe ne ku miryango gy’ekibuga, emisana n’ekiro. Baalinanga okulabula abantu abaabanga mu kibuga ku kabi konna akaabanga kaboolekedde. (Is. 62:6) Singa abakuumi tebaasigalanga nga bali bulindaala, kyateekanga obulamu bw’abantu mu kabi.​—Ezk. 33:6.

8 Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus yagamba nti mu mwaka gwa 70 E.E., amagye ga Rooma gaasobola okuwamba omunaala gwa Antoniya, olw’okuba abakuumi b’oku miryango gy’ekibuga baali beebase! Awo Abaruumi we baasinziira okulumba yeekaalu ne bagyokya omuliro, era ng’eyo ye yali entikko y’ekibonyoobonyo ekikyasingiddeyo ddala obunene eri eggwanga ly’Abayudaaya.

9. Kiki abantu abasinga obungi leero kye batamanyi?

9 Amawanga mangi leero galina abakuumi abalawuna ensalo era galina n’ebyuma eby’omulembe ebigayamba okulaba ebifa ku nsalo. Gaketta abantu abakyamu oba abalabe ababa bagezaako okugayingira oba okugalumba. Naye ebintu eby’obulabe amawanga ago bye gasobola okulaba by’ebyo byokka ebiva mu bantu oba mu mawanga amalala. Tegalaba ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bukola kati era tegamanyi na kumanya nti gyebuli, so ng’ate Obwakabaka obwo obufugibwa Kristo mu kiseera ekitali kya wala bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna. (Is. 9:6, 7; 56:10; Dan. 2:44) Naye singa ffe tusigala nga tutunula mu by’omwoyo, olunaku olwo bwe lunaatuuka tujja kuba tweteeseteese.​—Zab. 130:6.

SIGALA NG’OTUNULA

10, 11. (a) Kiki kye tusaanidde okwegendereza, era lwaki? (b) Kiki ekiraga nti Sitaani aleetedde abantu obutassaayo mwoyo ku bunnabbi bwa Bayibuli?

10 Lowooza ku mukuumi amaze ekiro kyonna ng’atunula. Kyangu omukuumi oyo okukoowa, otulo ne tumutwala ng’obudde bunaatera okukya. Mu ngeri y’emu, naffe gye tukoma okusemberera olunaku lw’enkomerero gye kijja okweyongera okutubeerera ekizibu okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. Nga kiba kya kabi nnyo singa tulekera awo okubeera obulindaala! Kati ka tulabe ebintu bisatu ebisobola okutulemesa okusigala nga tuli bulindaala.

11 Omulyolyomi aleetera abantu okwebaka mu by’omwoyo. Bwe yali anaatera okuttibwa, emirundi esatu Yesu yalabula abayigirizwa be ku ‘mufuzi w’ensi eno.’ (Yok. 12:31; 14:30; 16:11) Yesu yali akimanyi nti Sitaani yandibadde akuumira abantu mu kizikiza eky’eby’omwoyo baleme kussaayo mwoyo ku kulabula okuli mu bunnabbi bwa Bayibuli. (Zef. 1:14) Sitaani aziba amaaso g’abantu ng’ayitira mu madiini ag’obulimba. Kiki kye weetegerezza ng’oyogera n’abantu abatali bamu? Okirabye nti Sitaani ‘azibye amaaso g’abatakkiriza’? (2 Kol. 4:3-6) Bwe tugezaako okubuulira abantu ebikwata ku kuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani okunaatera okubaawo ne ku bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, bangi ku bo tebaagala kuwuliriza. Batera okugamba nti “Saagala.”

12. Lwaki tetusaanidde kukkiriza Mulyolyomi kutulimbalimba?

12 Okuba nti abantu tebeefiirayo ku bubaka bwaffe, tokikkiriza kukumalamu maanyi oba kukulemesa kusigala ng’oli bulindaala. Pawulo yagamba Bakkiriza banne nti: “Mukimanyi bulungi nti olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja ng’omubbi bw’ajja ekiro.” (Soma 1 Abassessalonika 5:1-6.) Yesu yagamba nti: “Mubeere beetegefu, kubanga Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” (Luk. 12:39, 40) Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ajja kulimbalimba abantu abaleetere okulowooza nti waliwo ‘emirembe n’obutebenkevu’ mu nsi. Ajja kubaleetera okulowooza nti buli kimu kitambula bulungi. Nga tebakisuubira, olunaku lwa Yakuwa lujja kujja era ekyo kijja kubatiisa nnyo. Naye ffe singa tusigala nga tutunula era nga tutegeera bulungi, olunaku lwa Yakuwa terujja kutugwako bugwi “ng’obudde bwe bukya ng’ababbi tebamanyi.” Eyo ye nsonga lwaki kikulu okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’atugamba.

13. Omwoyo gw’ensi gukutte gutya ku bantu, era tuyinza tutya okugwewala?

13 Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okwebaka mu by’omwoyo. Bangi beemalidde ku bintu by’ensi ne kiba nti tebamanyi ‘bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ (Mat. 5:3) Ebiseera byabwe ebisinga obungi n’amaanyi gaabwe babimalira ku kwefunira bintu ebiri mu nsi. (1 Yok. 2:16) Ate era eby’okwesanyusaamu ebingi ebiriwo mu nsi leero bireetedde abantu okwagala ennyo eby’amasanyu. (2 Tim. 3:4) Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba Abakristaayo nti tebasaanidde ‘kweteekerateekera kukola ebyo omubiri bye gwegomba,’ kubanga ekyo kijja kubaviirako okwebaka mu by’omwoyo.​—Bar. 13:11-14.

14. Kulabula ki okuli mu Lukka 21:34, 35?

14 Mu kifo ky’okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi, tusaanidde okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu Yakuwa gw’akozesa okutuyamba okutegeera ebyo ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. [1] (1 Kol. 2:12) Tusaanidde okuba abeegendereza ennyo, kubanga n’ebintu ebirabika ng’ebitono biyinza okutuwugula ne tulekera awo okuweereza Yakuwa. (Soma Lukka 21:34, 35.) Wadde ng’abalala bayinza okutusekerera olw’okusigala nga tuli bulindaala, ekyo tetwandikikkirizza kutuleetera kulekera awo kuba bulindaala. (2 Peet. 3:3-7) Mu kifo ky’ekyo, tulina okweyongera okubaawo mu nkuŋŋaana, kituyambe okwongera okugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.

Okola kyonna ekisoboka okusigala ng’otunula mu by’omwoyo? (Laba akatundu 11-16)

15. Kiki ekyatuuka ku Peetero, Yakobo, ne Yokaana, era ekyo naffe kiyinza kitya okututuukako?

15 Obutali butuukirivu bwaffe busobola okutuleetera okwebaka mu by’omwoyo. Yesu yali akimanyi nti kyangu abantu abatatuukiridde okuwangulwa obunafu bw’omubiri gwabwe. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe. Yesu okusobola okusigala nga mwesigwa, kyali kimwetaagisa okusaba Kitaawe amuyambe. Yesu bwe yali agenda okusaba, yagamba Peetero, Yakobo, ne Yokaana okusigala nga batunula. Naye abatume be abo abasatu tebaamanya nsonga lwaki kyali kikulu nnyo okusigala nga batunula. Mu kifo ky’okusigala nga batunula, baawangulwa obunafu bw’omubiri gwabwe ne beebaka. Wadde nga ne Yesu yali mukoowu, yasigala atunula era ng’asaba Kitaawe. Ekyo abatume be nabo kye baalina okukola.​—Mak. 14:32-41.

16. Mu Lukka 21:36, Yesu yatukubiriza atya okusigala nga tutunula?

16 Okusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, tulina okwagala ennyo okukola ekituufu. Naye ekyo ku bwakyo tekimala. Bwe waali wabula ennaku ntono ebyo ebyali mu nnimiro y’e Gesusemane bibeewo, Yesu yagamba abayigirizwa be okunyiikirira okusaba Yakuwa abayambe. (Soma Lukka 21:36.) N’olwekyo naffe okusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, tulina okunyiikirira okusaba.​—1 Peet. 4:7.

KIRAGE NTI OLI BULINDAALA

17. Tuyinza tutya okwetegekera ebintu ebinaatera okubaawo?

17 Okuva bwe kiri nti Yesu yagamba nti enkomerero ejja kujja ‘mu kiseera kye tutagisuubiriramu,’ kino si kye kiseera okwebaka mu by’omwoyo. Si kye kiseera okutwalirizibwa Sitaani, omwoyo gw’ensi, n’okwegomba okubi okw’omubiri gwaffe. (Mat. 24:44) Okuyitira mu Bayibuli Katonda ne Yesu batubuulira ebintu ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso n’engeri gye tusobola okusigala nga tuli bulindaala. Tulina okussaayo omwoyo ku bunnabbi obuli mu Bayibuli, okufuba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, n’okufuba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. Tulina okumanya obukulu bw’ebiseera bye tulimu kituyambe okwetegekera ebintu ebigenda okujja. (Kub. 22:20) Ebintu ebyo bijja kukwata ku bulamu bwaffe!

^ [1] (akatundu 14) Laba ekitabo God’s Kingdom Rules! essuula 21.