Baalaba Okwagala mu Bikolwa
YOMARA ne bannyina, Marcelo ne Hiver, babeera ku kaalo akatono mu Guatemala. Yomara yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma bannyina nabo baamwegattako. Naye waaliwo ekizibu. Bonna abasatu bazibe ba maaso era baali tebamanyi kusoma bitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe. N’olw’ensonga eyo, oyo eyabayigiriza Bayibuli ye yabasomeranga mu katabo ke baabanga bakozesa era n’ennyiriri mu Bayibuli.
Okugenda mu nkuŋŋaana nakwo kwabazibuwaliranga nnyo. Baali tebasobola kutambula bokka olugendo lw’eddakiika 40 okutuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekyabali okumpi. Naye ab’oluganda mu kibiina baakola enteekateeka okubatwalanga mu nkuŋŋaana zonna. Era bwe baatandika okuweebwa ebitundu mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki, ab’oluganda baabayambanga okukwata mu mutwe ebitundu byabwe.
Mu Maayi 2019, waatandikibwawo enkuŋŋaana z’ekibiina ku kyalo kyabwe. Mu kiseera ekyo, waaliwo ow’oluganda ne mukyala we abaali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo abaali basengukidde ku kyalo ekyo. Bapayoniya abo beeteerawo ekiruubirirwa eky’okubayamba okuyiga okusoma n’okuwandiika olulimi lwa bamuzibe, wadde nga bapayoniya abo nabo baali tebamanyi lulimi olwo. Baagenda ku tterekero erimu ery’ebitato ne bafuna ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe basobole okuyiga okulusoma n’okuluyigiriza abalala.
Oluvannyuma lw’emyezi mitono, ab’oluganda abo abasatu baali basobola bulungi okusoma olulimi lwa bamuzibe, era ekyo kyabayamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. a Kati Yomara, Marcelo, ne Hiver baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Ate era Marcelo kati muweereza mu kibiina. Baweereza Yakuwa n’obunyiikivu buli wiiki. Obunyiikivu bwabwe buleetedde n’abalala okuba abanyiikivu.
Ab’oluganda abasatu abazibe b’amaaso basiima nnyo okwagala ab’oluganda mu kibiina kwe babalaga. Yomara agamba nti: “Okuva ku lunaku lwe twasooka okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, batulaze okwagala okwa nnamaddala okw’Ekikristaayo.” Marcelo agattako nti: “Tulina emikwano mirungi mu kibiina, era ddala tuli mu luganda olw’ensi yonna olulimu abantu abaagalana era abali obumu.” Yomara ne bannyina beesunga olunaku lwe baliraba ng’ensi efuuliddwa Olusuku lwa Katonda.—Zab. 37:10, 11; Is. 35:5.
a Akatabo akalina omutwe, Learn to Read Braille kaategekebwa okuyamba abazibe b’amaaso n’abo abatalaba bulungi okuyiga okusoma n’okuwandiika olulimi lwa bamuzibe.