KYAJJAWO KYOKKA?
Obulamu bw’Ekika Ekimu eky’Ennyanyaagize
ENNYANYAAGIZE, biba biwuka ebifaanana ng’enzige, era bisangibwa ku ssemazinga zonna okuggyako Antarctica. Naye ekika ekimu eky’ennyanyaagize ekisangibwa mu Amerika ekiyitibwa periodical cicada, kyewuunyisa nnyo bannassaayansi.
Lowooza ku kino: Ekiseera ky’obutiti bwe kiggwaako, obukadde n’obukadde bw’ekika ky’ennyanyaagize ezo zijja mbagirawo era zimala wiiki ntonotono nga weeziri. Mu kaseera akatono ke zimala nga zirabise, zeeyubula, zikola amaloboozi agawaawaaza amatu, zibuuka, zizaala, era oluvannyuma ne zifa. Ekyewuunyisa kiri nti wayita emyaka nga 13 oba 17 omujiji omulala ogw’ennyanyaagize ezo ne gulyoka gulabika. Kiki ekibaawo mu kiseera ekyo kyonna ng’omujiji omulala tegunnalabika?
Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tusaanidde okumanya emitendera ennyanyaagize ezo mwe ziyita nga zikula. Nga wayise wiiki ng’emu ennyanyaagize enkulu nga zimaze okulabika, ensajja n’enkazi zeegatta era buli emu ku nkazi ebiika amagi agali wakati wa 400 ne 600 ku miti. Wayita akaseera katono ennyanyaagize enkulu ne zifa. Nga wayise wiiki ntono, amagi ago gaalula era ebinnyanyaagize ebito ne bigwa wansi ne bisima ne biyingira mu ttaka ne bikulira eyo nga binuuna amazzi g’emirandira gy’emiti egitali gimu okumala emyaka egiwera. Nga wayise emyaka nga 13 oba 17, ennyanyaagize ezo ziba zikuze era zifubutuka mu ttaka ne zibiika amagi aganaavaamu omujiji gw’ennyanyaagize oguddako.
Magazini eyitibwa Nature, yagamba nti obulamu bw’ennyanyaagize ezo “bumaze emyaka nga bubobbya bannassaayansi omutwe. . . . N’okutuusa leero, bannassaayansi abeekenneenya ebiwuka bakyebuuza engeri ebiwuka bino gye byajjawo.” Obulamu bw’ebiwuka bino bubeewuunyisa nnyo ddala.
Olowooza otya? Ennyanyaagize eziyitibwa periodical cicada n’emitendera mwe ziyita okukula byajjawo byokka?