Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 20-26

ZABBULI 138-139

Jjanwali 20-26

Oluyimba 93 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Tokkiriza Kutya Kukulemesa Kubaako ky’Oddamu mu Nkuŋŋaana

(Ddak. 10)

Twagala okutendereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna (Zb 138:1)

Bw’oba ng’otya okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana, saba Yakuwa akuyambe (Zb 138:3)

Okutya kuyinza okuba nga kulaga nti oli mwetoowaze (Zb 138:6; w19.01 lup. 10 ¶10)

GEZAAKO KINO: Okuddamu mu bumpimpi, kiyinza okukendeeza ku kutya kw’oba nakwo.—w23.04 lup. 21 ¶7.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 139:​21, 22—Abakristaayo basaanidde okusonyiwa buli omu? (it-1-E lup. 862 ¶4)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. (lmd essomo 2 akatundu 3)

5. Okufuula Abantu Abayigirizwa

(Ddak. 4) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Mutegeeze ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli era omulage engeri gye tukikolamu. (lmd essomo 10 akatundu 3)

6. Okwogera

(Ddak. 5) ijwyp ekitundu 105—Omutwe: Nnyinza Ntya Okulekera Awo Okuba ow’Ensonyi? (th essomo 16)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 59

7. Osobola Okunyumirwa Obuweereza Bwo Wadde ng’Olina Ensonyi

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Oli muntu wa nsonyi? Toyagala bantu kukulaba ng’olina ky’okola? Omutima gukutyemuka bw’olowooza ku ky’okwogera n’abalala? Ebiseera ebimu, ensonyi ziyinza okutulemesa okukola ebintu bye twandyagadde okukola. Wadde kiri kityo, waliwo bangi abasobodde okukola obulungi omulimu gw’okubuulira n’okugunyumirwa wadde nga balina ensonyi. Kiki kye tusobola okubayigirako?

Mulabe VIDIYO Nkola Kyonna kye Nsobola Wadde nga Nnina Ensonyi. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Mwannyinaffe Lee aganyuddwa atya bw’akoledde ku magezi jjajja we ge yamuwa, ‘ag’okwemalira ku kuweereza Yakuwa’?

Bayibuli eraga nti Musa, Yeremiya, ne Timoseewo bayinza okuba nga baalina ensonyi. (Kuv 3:11; 4:10; Yer 1:​6-8; 1Ti 4:12) Wadde kiri kityo, baasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu buweereza bwabwe eri Yakuwa, kubanga Yakuwa yabayamba. (Kuv 4:12; Yer 20:11; 2Ti 1:​6-8)

Soma Isaaya 43:​1, 2. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Kiki Yakuwa ky’asuubiza abaweereza be?

Yakuwa ayamba atya abo abalina ensonyi okunyumirwa obuweereza bwabwe?

Mulabe VIDIYO Eyaggibwa mu vidiyo erina omutwe, Engeri Okubatizibwa Gye Kutuyamba Okweyongera Okuba Abasanyufu. Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Yakuwa ayambye atya Mwannyinaffe Jackson mu buweereza bwe?

  • Okubuulira kuyinza kutya okuyamba omuntu alina ensonyi?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 151 n’Okusaba