Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 5

Yesu—Azaalibwa Wa Era Ddi?

Yesu—Azaalibwa Wa Era Ddi?

LUKKA 2:1-20

  • YESU AZAALIBWA MU BESIREKEMU

  • ABASUMBA BAGENDA OKULABA YESU NGA YAAKAZAALIBWA

Empula wa Rooma, Kayisaali Agusito, alagidde abantu bonna okwewandiisa. N’olwekyo Yusufu ne Maliyamu balina okugenda mu kibuga Yusufu gy’azaalibwa, ekibuga Besirekemu, ekiri ebukiikaddyo bwa Yerusaalemi.

Abantu bangi bagenze e Besirekemu okwewandiisa. Bwe kityo, ekifo kyokka aw’okusula Yusufu ne Maliyamu kye basobola okufuna kye kiraalo, endogoyi n’ebisolo ebirala mwe bisula. Omwo Maliyamu mw’azaalira Yesu. Maliyamu amuzinga mu ngoye n’amussa mu lutiba, ebisolo mwe biriira.

Katonda ateekwa okuba nga y’aleetedde Kayisaali Agusito okuyisa ekiragiro eky’abantu okwewandiisa. Lwaki? Kubanga ekyo kisobozesa Yesu okuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya jjajjaawe Kabaka Dawudi. Ebyawandiikibwa byali byakiraga dda nti oyo eyandibadde Omufuzi yandizaaliddwa mu Besirekemu.​—Mikka 5:2.

Ng’ekiro ekyo kya njawulo nnyo! Abasumba abali ku ttale, ekitangaala kyaka wonna okubeetooloola. Balaba ekitiibwa kya Yakuwa! Omu ku bamalayika ba Katonda agamba abasumba abo nti: “Temutya, kubanga mbategeeza amawulire amalungi ag’essanyu eringi abantu bonna lye bajja okufuna. Kubanga leero omulokozi, Kristo Mukama waffe, azaaliddwa mu kibuga kya Dawudi. Kano ke kabonero kwe munaamutegeerera: Mujja kusanga omwana omuwere ng’abikiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira.” Amangu ago, wajjawo bamalayika abalala bangi ne bagamba nti: “Ekitiibwa kibeere eri Katonda mu ggulu, n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima.”​—Lukka 2:10-14.

Bamalayika bwe bamala okugenda, abasumba bagambagana nti: “Ka tugende e Besirekemu tulabe ekibaddewo, Yakuwa ky’atutegeezezza.” (Lukka 2:15) Banguwa ne bagenda okulaba omwana Yesu mu kifo malayika gy’abagambye okumusanga. Abasumba bwe babuulira abantu ebyo malayika by’abagambye, abantu bonna beewuunya. Maliyamu assaayo omwoyo ku bigambo ebyo era n’afumiitiriza ku makulu gaabyo.

Leero, abantu bangi balowooza nti Yesu yazaalibwa nga Ddesemba 25. Naye mu Besirekemu, omwezi gwa Ddesemba guba gwa nkuba era obudde buba bunnyogovu nnyo. Mu butuufu, oluusi n’omuzira gugwa. Mu kiseera ekyo, tekisoboka kuba nti abasumba baali bweru nga balabirira ebisibo byabwe. Ate era tekisoboka kuba nti empula wa Rooma yandibadde alagira abantu okugenda okwewandiisa mu kiseera ng’ekyo ate nga yali akimanyi nti baali tebakyayagala bufuzi bwe. Yesu ayinza okuba nga yazaalibwa awo nga mu Okitobba.