Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 129

Piraato Agamba nti: “Laba! Ono Ye Musajja!

Piraato Agamba nti: “Laba! Ono Ye Musajja!

MATAYO 27:15-17, 20-30 MAKKO 15:6-19 LUKKA 23:18-25 YOKAANA 18:39–19:5

  • PIRAATO ANOONYA ENGERI Y’OKUTA YESU

  • ABAYUDAAYA BASABA BABATEERE BALABBA

  • YESU ASEKERERWA ERA ATULUGUNYIZIBWA

Piraato agamba abo abaagala Yesu attibwe nti: “Tewali na kimu ku ebyo bye mumulumiriza kye nzudde. Mu butuufu ne Kerode naye talina ky’azudde.” (Lukka 23:14, 15) Piraato agezaako okuta Yesu ng’akozesa akakodyo akalala. Agamba abantu nti: “ku buli mbaga ey’Okuyitako, mubaako omuntu gwe munsaba okubateera. Kati mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”​—Yokaana 18:39.

Piraato amanyi nti waliwo omusibe ayitibwa Balabba eyasibibwa olw’obubbi, olw’okusekeeterera gavumenti, n’olw’obutemu. N’olwekyo Piraato abuuza abantu nti: “Ani gwe mwagala mbateere, Balabba oba Yesu ayitibwa Kristo?” Olw’okuba bakabona abakulu bamaze okufukuutirira abantu, abantu bagamba nti baagala babateere Balabba so si Yesu. Piraato addamu n’abuuza nti: “Ku bombi ani gwe mwagala mbateere?” Abantu baleekaana nga bagamba nti: “Balabba”!​— Matayo 27:17, 21.

Nga Piraato aweddemu amaanyi, abuuza nti: “Kati olwo Yesu ayitibwa Kristo mmukole ki?” Bonna baddamu nti: “Mukomerere ku muti!” (Matayo 27:22) Kiswaza nnyo okulaba nti baagala omuntu atalina musango y’aba attibwa. Piraato ababuuza nti: “Lwaki? Kibi ki omusajja ono kye yakola? Nze sirina kye nzudde kimugwanyiza kufa; n’olwekyo, nja kumubonereza era mmute.”​—Lukka 23:22.

Wadde nga Piraato afubye okutaasa Yesu, abantu nga basunguwavu nnyo bongera okuleekaana nti: “Mukomerere ku muti!” (Matayo 27:23) Abakulembeze b’eddiini bafukuutiridde abantu era buli omu kati ayagala kulaba ng’omuntu attibwa! Si mumenyi w’amateeka oba omutemu, wabula omuntu atalina musango gwe baayaniriza mu Yerusaalemi nga Kabaka ennaku ttaano emabega. Abayigirizwa ba Yesu bwe baba nga weebali, tebalina kye banyega era tebaagala na kumanyibwa.

Piraato akiraba nti byonna by’akola tebivaamu kalungi konna. Abantu bwe beeyongera okuleekaana, akwata amazzi n’anaaba mu ngalo ng’abantu bonna balaba. Abagamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu ono. Omusango gwammwe.” Wadde akola bw’atyo, abantu tebakyusa ndowooza yaabwe wabula bagamba nti: “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe.”​—Matayo 27:24, 25.

Piraato asalawo okukola ekyo abantu kye baagala mu kifo ky’okukola ekyo ky’amanyi nti kye kituufu. Ata Balabba nga bwe basabye, naye n’awaayo Yesu ne bamwambula ekyambalo era ne bamukuba.

Abasirikale bwe bamala okumukuba, bamutwala mu lubiri lwa gavana. Bayita abasirikale abalala ne batandika okumujolonga. Bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwe. Abasirikale era bateeka olumuli mu mukono gwa Yesu ogwa ddyo era ne bamwambaza olugoye olumyufu, ng’olwo lw’alina okwambala mu kitiibwa kye. Bamukudaalira nga bagamba nti: “Emirembe gibe naawe Kabaka w’Abayudaaya!” (Matayo 27:28, 29) Ate era bawandulira Yesu amalusu era ne bamukuba empi mu maaso. Bamuggyako olumuli ne balumukuba ku mutwe, amaggwa agali ku ‘ngule’ gye bamwambazza ne gongera okumufumita.

Wadde nga Yesu bamukoze ebintu ebyo byonna, asigala mukkakkamu. Ekyo kyewuunyisa nnyo Piraato bw’atyo n’agezaako okwongera okweggyako omusango ng’agamba nti: “Laba! Mmuleese gye muli musobole okukitegeera nti siraba musango gw’azzizza.” Piraato ayinza okuba ng’alowooza nti okuleeta Yesu eri abantu ng’ajjudde ebiwundu era ng’atonnya omusaayi kinaabaleetera okumusaasira. Nga Yesu ayimiridde mu maaso g’abantu abo abatalina kisa, Piraato agamba nti: “Laba! Ono ye musajja!”​—Yokaana 19:4, 5.

Wadde nga Yesu akubiddwa nnyo era ng’alina ebiwundu, asigala mukkakkamu era ekyo kikwata nnyo ku Piraato kubanga ebigambo bye biraga nti awa Yesu ekitiibwa era nti amukwatirwa ekisa.