ESSUULA 136
Ku Lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya
-
YESU ABALABIKIRA KU NNYANJA Y’E GGALIRAAYA
-
PEETERO N’ABALALA BALINA OKULIISA ENDIGA
Ku lunaku Yesu lwe yasembayo okubeera n’abatume be, yali abagambye nti: “Bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulemberamu okugenda e Ggaliraaya.” (Matayo 26:32; 28:7, 10) N’olwekyo, abamu ku bagoberezi be basalawo okugenda e Ggaliraaya, naye banaaba bakola ki?
Nga bali eyo, Peetero agamba abamu ku batume nti: “Ŋŋenda kuvuba.” Abatume abo omukaaga bamugamba nti: “Naffe ka tugende naawe.” (Yokaana 21:3) Bavuba ekiro kyonna, naye tebakwasa byennyanja. Obudde bwe butandika okusaasaana, Yesu ajja ku lubalama lw’ennyanja naye tebamutegeererawo. Yesu abakowoola ng’agamba nti: “Abaana, mulinawo eky’okulya kyonna?” Bamuddamu nti: “Nedda!” Yesu abagamba nti: “Musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja kukwasa.” (Yokaana 21:5, 6) Bakwasa ebyennyanja bingi ne kiba nti tebasobola na kusikayo katimba.
Yokaana agamba Peetero nti: “Oyo Mukama waffe!” (Yokaana 21:7) Amangu ddala, Peetero ayambala ekyambalo kye eky’okungulu, kubanga abadde akiggyeeko ng’avuba. Yebbika mu nnyanja n’awuga mita nga 90 n’atuuka ku lubalama. Abalala abali mu lyato nabo bajja ku lubalama nga bwe basika akatimba akajjudde ebyennyanja.
Bwe batuuka ku lubalama, “balaba omuliro ogw’amanda nga kuliko ebyennyanja n’omugaati.” Yesu abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye muva okuvuba.” Peetero asika akatimba akajjudde ebyennyanja ebinene 153! Yesu abagamba nti: “Mujje mulye eky’enkya.” Tewali n’omu afuna buvumu kumubuuza nti, “Ggwe ani?” kubanga bamanyi nti ye Yesu. (Yokaana 21:10-12) Guno mulundi gwa kusatu nga Yesu alabikira abayigirizwa be nga bali mu kibinja.
Bonna Yesu abawa omugaati n’ebyennyanja ne balya. Oluvannyuma, kirabika ng’atunuulidde ebyennyanja bye bakutte, abuuza nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala okusinga bino?” Kyandiba nti Peetero ayagala nnyo omulimu gw’okuvuba okusinga omulimu Yesu gw’ayagala okumuwa? Peetero amuddamu nti: “Yee, Mukama wange, omanyi nti nkwagala.” Yesu amugamba nti: “Liisanga endiga zange.”—Yokaana 21:15.
Yesu addamu n’amubuuza nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala?” Kirabika Peetero yeewuunya, naye addamu mu bwesimbu nti: “Yee, Mukama wange, omanyi nti nkwagala.” Yesu era amugamba nti: “Lundanga endiga zange.”—Yokaana 21:16.
Yesu amubuuza omulundi ogw’okusatu nti: “Simooni mutabani wa Yokaana, onjagala?” Peetero ayinza okuba nga yeebuuza obanga Yesu abuusabuusa obwesigwa bwe. Peetero amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi ebintu byonna; okimanyi nti nkwagala.” Yesu addamu n’aggumiza ekyo Peetero ky’alina okukola ng’amugamba nti: “Liisanga endiga zange.” (Yokaana 21:17) Abo abaweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina balina okuweereza abo abajja mu kisibo kya Katonda.
Yesu yakwatibwa era n’attibwa olw’okukola omulimu Katonda gwe yamuwa. Kati akiraga nti ne Peetero kye kijja okumutuukako. Yesu amugamba nti: “Bwe wali omuto, wayambalanga n’ogenda gy’oyagala. Naye bw’olikaddiwa, oligolola emikono gyo omulala n’akwambaza era n’akutwala gy’otoyagala.” Naye Yesu amukubiriza nti: “Weeyongere okungoberera.”—Yokaana 21:18, 19.
Peetero bw’alaba omutume Yokaana, abuuza nti: “Mukama waffe, ate ono?” Kiki ekinaatuuka ku mutume Yesu gw’ayagala ennyo? Yesu amuddamu nti: “Bwe mba nga njagala abeerewo okutuusa lwe ndikomawo, ekyo kiba kikweraliikiririza ki?” (Yokaana 21:21-23) Peetero alina okugoberera Yesu awatali kweraliikirira ebyo abalala bye bakola. Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu alaga nti Yokaana y’ajja okusinga batume abalala okuwangaala era nti y’ajja okwolesebwa ebiribaawo nga Yesu akomyewo mu kitiibwa kye nga Kabaka.
Kyokka, waliwo ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola, ebitandisobodde kugya mu mizingo egyandiwandiikiddwa.