ESSUULA 101
Ekijjulo mu Nnyumba ya Simooni e Bessaniya
MATAYO 26:6-13 MAKKO 14:3-9 YOKAANA 11:55–12:11
-
YESU ADDAYO E BESSANIYA OKUMPI N’E YERUSAALEMI
-
MALIYAMU AFUKA AMAFUTA AG’AKALOOSA KU YESU
Yesu bw’ava e Yeriko, ayolekera Bessaniya era nga waliwo olugendo lwa mayiro nga 12. Ekkubo ly’ayitamu si ddungi era aba alina kutambula ng’ayambuka okutuusa lw’atuuka e Bessaniya. Laazaalo ne bannyina ababiri babeera ku kyalo Bessaniya, ekiri ku Lusozi olw’Emizeyituuni ku luuyi olw’ebuvanjuba. Kiri mayiro nga bbiri okuva e Yerusaalemi.
Abayudaaya bangi batuuse mu Yerusaalemi era beeteekerateekera okukwata embaga ey’Okuyitako. Batuuse ekyabulayo ennaku “basobole okwetukuza” singa babaako ekintu kyonna ekibafudde abatali balongoofu gamba ng’okukwata ku mulambo. (Yokaana 11:55; Okubala 9:6-10) Abamu ku abo abatuuse bakuŋŋaanidde ku yeekaalu era beebuuza obanga Yesu anajja ku mbaga ey’Okuyitako.—Yokaana 11:56.
Abantu balina endowooza za njawulo ku Yesu. Abakulembeze b’eddiini abamu baagala kumukwata bamutte. Mu butuufu, balagidde nti omuntu yenna bw’amanya Yesu w’ali abategeeze “bamukwate.” (Yokaana 11:57) Abakulembeze b’eddiini abo baagezaako okutta Yesu ng’azuukizza Laazaalo. (Yokaana 11:49-53) Kirabika eyo ye nsonga lwaki abamu babuusabuusa obanga Yesu anaabaawo ku mbaga.
Yesu atuuka e Bessaniya ku Lwokutaano, ng’ebulayo “ennaku mukaaga embaga ey’Okuyitako etuuke.” (Yokaana 12:1) Olunaku olupya (Ssabbiiti, Nisaani 8) lugenda kutandika ng’enjuba emaze okugwa. N’olwekyo, Yesu atuuse e Bessaniya nga Ssabbiiti tennatuuka. Yandibadde tasobola kuva Yeriko ku Ssaabiiti—okuva ku Lwokutaano ng’enjuba emaze okugwa okutuuka ku Lwomukaaga ng’ezzeemu okugwa—kubanga okutambula mu kiseera ekyo kyali tekkirizibwa mu mateeka g’Abayudaaya. Kirabika Yesu agenda mu maka ga Laazaalo, nga bwe yakolanga.
Simooni, nga naye abeera Bessaniya, ayita Yesu n’abo b’ali nabo, nga mw’otwalidde ne Laazaalo, okugenda ewuwe okulya ekijjulo ku Lwomukaaga akawungeezi. Simooni ayitibwa “omugenge,” oboolyawo olw’okuba emabegako Yesu yamuwonya ebigenge. Olw’okuba Maliza mukozi munyiikivu, ayambako mu kulabirira abagenyi. Maliyamu ye yeemalidde ku kuwuliriza Yesu era akola ekintu ekireetera abaliwo okwemulugunya.
Maliyamu asumulula akasumbi akalimu “laatiri y’amafuta ag’akaloosa agayitibwa naludo.” (Yokaana 12:3) Amafuta ago ga muwendo nnyo; gagula ddinaali 300 era ssente ezo zenkana omusaala kumpi gwa mwaka mulamba! Maliyamu afuka amafuta ago ku mutwe gwa Yesu ne ku bigere bye era asimuula ebigere bya Yesu ng’akozesa enviiri ze. Akaloosa k’amafuta ago kajjula enju yonna.
Abayigirizwa basunguwala era babuuza nti: “Lwaki amafuta gano ag’akaloosa goonooneddwa?” (Makko 14:4) Yuda Isukalyoti atuuka n’okugamba nti: “Lwaki amafuta ago ag’akaloosa tegaatundiddwa ddinaali 300 ne zigabirwa abaavu?” (Yokaana 12:5) Naye ekyo takyogera lwa kuba alumirirwa abaavu, wabula lwa kuba abba ssente z’abayigirizwa eziteekebwa mu kasanduuko k’atereka.
Yesu awolereza Maliyamu ng’agamba nti: “Lwaki omukazi mumumalako emirembe? Ankoledde ekintu ekirungi. Abaavu mubeera nabo bulijjo, naye nze temujja kuba nange bulijjo. Bw’afuse amafuta ag’akaloosa ku mubiri gwange, akikoze ng’ateekateeka okuziikibwa kwange. Mazima mbagamba nti, yonna mu nsi amawulire gano amalungi gye galibuulirwa, omukazi ono ky’akoze nakyo kiryogerwako okumujjukira.”—Matayo 26:10-13.
Yesu yaakamala olunaku lumu mu Bessaniya era abantu bangi bategedde nti ali mu kitundu ekyo. Abayudaaya bangi bajja mu nnyumba ya Simooni si kulaba Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu “gwe yazuukiza mu bafu.” (Yokaana 12:9) Bakabona abakulu bateesa okutta Yesu ne Laazaalo. Abakulembeze b’eddiini bano bakiraba nti abantu bwe balaba Laazaalo eyazuukizibwa bongera okukkiririza mu Yesu. Abakulembeze b’eddiini bano nga babi nnyo!