Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Lwaki Twambala Bulungi nga Tugenda mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Lwaki Twambala Bulungi nga Tugenda mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Iceland

Mexico

Guinea-Bissau

Philippines

Mu bifaananyi ebiri mu katabo kano okyetegerezza nti Abajulirwa ba Yakuwa baba bambadde bulungi nga bali mu nkuŋŋaana zaabwe? Lwaki tufaayo nnyo ku nnyambala yaffe n’engeri gye twekolako?

Okulaga nti tuwa Katonda waffe ekitiibwa. Kyo kituufu nti endabika yaffe Katonda si gy’asinga okutunuulira. (1 Samwiri 16:7) Kyokka bwe tukuŋŋaana okumusinza twagala tukirage nti tumuwa ekitiibwa, era nti tuwa ne bakkiriza bannaffe ekitiibwa. Singa tuba ba kugenda mu maaso ga kabaka oba mu maaso ga pulezidenti, twandifubye okulaba nti twambala mu ngeri eraga nti tuwa abantu abo ekitiibwa. Bwe kityo, engeri gye tulabikamu nga tuli mu nkuŋŋaana eraga nti Yakuwa Katonda, “kabaka ow’emirembe n’emirembe,” tumuwa ekitiibwa, era nti n’ekifo we tumusinziza tukitwala nga kifo kya kitiibwa.​—1 Timoseewo 1:17.

Okulaga nti emitindo gy’empisa gye tugoberera gya waggulu nnyo. Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okwambala ‘mu ngeri ebaweesa ekitiibwa,’ eraga nti “beegendereza,” era nti bantu abatya Katonda. (1 Timoseewo 2:9, 10) Okwambala mu ngeri ‘etuweesa ekitiibwa’ kitegeeza okwewala okwambala engoye ennyimpi, ezitukwata, ezitangaala, n’endala ez’engeri eyo eziyinza okusasamaza abalala. Ate bwe tubeera ‘abeegendereza’ twambala engoye ezisaana era ezituukagana obulungi n’ekyo kye tuba tukola. Abakristaayo bagoberera emisingi egyo naye ne basigala nga buli omu alina eddembe okwambala engoye ez’emisono ye gy’ayagala naye nga zisaana. Ennyambala yaffe ennungi esobola ‘okulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda’ era n’emuleetera okugulumizibwa. (Tito 2:10; 1 Peetero 2:12) Bwe twambala obulungi nga tugenda mu nkuŋŋaana zaffe, abatulaba bafuna ekifaananyi ekirungi ku kusinza kwaffe.

Ne bwe kiba nti engoye zo si za bbeeyi oba nga teziri ku mulembe, ekyo tekisaanidde kukulemesa kugenda mu nkuŋŋaana. Ekikulu kwe kuba nti engoye zaffe nnyonjo era zisaana.

  • Lwaki kikulu okwambala mu ngeri esaana nga tugenda okusinza Katonda?

  • Misingi ki mu Bayibuli egituwa obulagirizi ku ngeri gye tulina okwambalamu n’okwekolako?