ESSOMO 13
Okulaga Omuganyulo
Engero 3:21
MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okulaba engeri ebyo by’oyogerako gye biyinza okubaganyulamu era obalage engeri gye bayinza okubikolerako.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Lowooza ku banaakuwuliriza. Lowooza ku nsonga lwaki beetaaga okuwulira ebyo by’ogenda okubabuulira, era olowooze ku binaasinga okubaganyula.
-
Mu mboozi yo yonna, laga abakuwuliriza eky’okukola. Okuviira ddala ku ntandikwa, buli omu ku bakuwuliriza asaanidde okukiraba nti by’oyogerako bimukwatako. Bw’oba onnyonnyola ensonga enkulu, laga engeri gye bayinza okussa mu nkola ebyo by’obabuulira.