Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
Akatabo kano kategekeddwa okukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu, gy’oyogeramu, ne gy’oyigirizaamu.
Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Tuyigiriza abantu obubaka obusinga obukulu obwali buweereddwa abantu.
ESSOMO 2
Okwogera ng’Anyumya
Okwogera ng’anyumya kiyamba abakuwuliriza obutabeera ku bunkenke ne bassaayo omwoyo ku by’oyogera.
ESSOMO 3
Okukozesa Ebibuuzo
Buuza ebibuuzo ebinaasikiriza abakuwuliriza, era ebinaakuyamba okuggumiza ensonga enkulu.
ESSOMO 4
Okwanjula Ebyawandiikibwa
Laba engeri gy’oyinza okuteekateekamu ebirowoozo by’akuwuliriza nga tonnasoma kyawandiikibwa.
ESSOMO 5
Okusoma Obulungi
Kikulu nnyo okusoma obulungi okusobola okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa.
ESSOMO 6
Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa
Yamba abawuliriza okulaba engeri ekyawandiikibwa ky’osomye gye kikwataganamu n’ensonga gy’oyogerako.
ESSOMO 7
Ebituufu era Ebyesigika
Ebintu ebituufu era ebyesigika biyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga gy’oyogerako.
ESSOMO 8
Ebyokulabirako Ebiyigiriza
Longoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu ng’okozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera, era ebiyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu.
ESSOMO 9
Okukozesa Ebintu Ebirabwako
Kozesa ebintu ebirabwako okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu n’okuzijjukira.
ESSOMO 10
Okukyusakyusa mu Ddoboozi
Yoleka enneewulira etuukirawo ng’okyusakyusa mu ddoboozi lyo, ne sipiidi kw’oyogerera.
ESSOMO 11
Okwogera n’Ebbugumu
Yogera n’ebbugumu kiyambe abakuwuliriza okussaayo omwoyo n’okubaako kye bakolawo.
ESSOMO 13
Okulaga Omuganyulo
Yamba abakuwuliriza okulaba engeri ebyo by’oyogerako gye biyinza okubaganyulamu, era obalage engeri gye bayinza okubikolerako.
ESSOMO 14
Okuggyayo Ensonga Enkulu
Yamba abakuwuliriza okugoberera by’oyogera, era olage engeri buli nsonga enkulu gy’ekwataganamu n’omutwe awamu n’ekigendererwa ky’emboozi yo.
ESSOMO 15
Okwogera nga Weekakasa
Yogera nga weekakasa. Laga nti ky’oyogerako okkiriza nti kituufu era nti kikulu.
ESSOMO 16
Ebizimba era Ebizzaamu Amaanyi
Toyogera nnyo ku bintu ebimalamu amaanyi. Essira lisse ku mazima agazzaamu amaanyi agali mu Kigambo kya Katonda.
ESSOMO 17
Ebitegeerekeka eri Abalala
Yamba abakuwuliriza okutegeera by’obabuulira. Nnyonnyola ensonga enkulu mu ngeri ennyangu okutegeera.
ESSOMO 18
Ebiganyula Abakuwuliriza
Leetera abakuwuliriza okufumiitiriza, w’omalira okwogera babe nga bawulira nti balina ekintu eky’omugaso kye bayize.
ESSOMO 19
Okufuba Okutuuka ku Mutima
Yamba abakuwuliriza okwagala Katonda, awamu n’Ekigambo kye Bayibuli.
ESSOMO 20
Okufundikira Obulungi
Bw’ofundikira obulungi kikubiriza abakuwuliriza okukkiriza by’obayigirizza n’okubikolerako.
Laba w’Otuuse
Laba w’otuuse ng’ofuba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu ne gy’okuyigirizaamu.
Era Oyinza Okwagala Okusoma Ebitundu Bino
VIDIYO
Vidiyo Ezikwata ku Katabo, Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
Manya engeri y’okusoma n’okuyigiriza obulungi mu lujjudde.