Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
Ekitabo kya Ezeekyeri kirimu obunnabbi bungi obwogera ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu. Obunnabbi obwo butukwatako butya?
Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
Tusuubira nti ekitabo kino kijja kukuyamba okuba omumalirivu okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asaanidde okusinzibwamu.
Ebintu Bye Weetaaga Okumanya
Obusanduuko n’ebipande birimu ebintu ebisobola okukuyamba okweyongera okutegeera by’osoma.
ESSUULA 1
“Yakuwa Katonda Wo gw’Olina Okusinza”
Sitaani bwe yatandikawo obujeemu mu Edeni, teyakoma ku kuleetawo kubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga, naye era yaggulawo olutalo ku kusinza okulongoofu.
ESSUULA 2
“Katonda Yasiima” Ebirabo Byabwe
Ekyokulabirako abaweereza ba Katonda ab’edda kye bassaawo kituyamba okulaba ebintu ebina ebyetaagisa Katonda okusobola okukkiriza okusinza kwaffe.
EKITUNDU 1
“Eggulu ne Libikkulibwa”
ESSUULA 3
‘Nnalaba Okwolesebwa kwa Katonda’
Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yasooka okufuna kwamuwuniikiriza nnyo. Abaweereza ba Katonda abeesigwa leero balina bingi bye bayiga mu ebyo bye yalaba.
ESSUULA 4
‘Ebiramu eby’Obwenyi Obuna’ Be Baani?
Yakuwa yawa Ezeekyeri okwolesebwa okutuyamba okutegeera ebintu bye tutandisobodde kutegeera.
ESSUULA 5
‘Laba Ebintu Ebibi Ennyo eby’Omuzizo Bye Bakola’
Ezeekyeri alaba ebintu 4 ebyesisiwaza ebiraga nti eggwanga lya Isirayiri lyali lyonoonese nnyo mu by’omwoyo.
ESSUULA 6
“Kaakano Enkomerero Ekutuuseeko”
Ebintu eby’obunnabbi Ezeekyeri bye yakola byali biraga omusango Yakuwa gwe yali asalidde Yerusaalemi.
ESSUULA 7
Amawanga Gajja “Kumanya Nti Nze Yakuwa”
Amawanga agavoola erinnya lya Yakuwa era agaayigganya oba ne goonoona abantu be gaali tegasobola kusimattuka ebyo ebyandivudde mu ebyo bye gaakola. Kiki kye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga ago?
ESSUULA 8
“Nja Kuziteerawo Omusumba Omu”
Katonda aluŋŋamya ezeekyeri okuwandiika obunnabbi obukwata ku Masiya, Omufuzi era Omusumba, ajja okuzzaawo okusinza okulongoofu emirembe n’emirembe.
ESSUULA 9
“Nja Kubawa Omutima Oguli Obumu”
Obunnabbi obwaweebwa Abayudaaya abeesigwa abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni butukwatako butya leero?
ESSUULA 10
“Mujja Kulamuka”
Ezeekyeri afuna okwolesebwa okukwata ku lusenyi olujjudde amagumba amakalu agaddamu okuba amalamu. Okwolesebwa okwo kulina makulu ki?
ESSUULA 11
“Nkulonze Okuba Omukuumi”
Omukuumi ono alina buvunaanyizibwa ki? Kulabula ki kw’alina okutegeeza abantu?
ESSUULA 13
‘Bategeeze Kalonda Yenna Akwata ku Yeekaalu’
Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa erina makulu ki?
ESSUULA 14
“Lino Lye Tteeka lya Yeekaalu”
Biki Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bye baayigira ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa? Okwolesebwa okwo kutuyigiriza ki leero?
ESSUULA 15
“Nja Kukomya Obwamalaaya Bwo”
Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyogerwa ku bamalaaya mu kitabo kya Ezeekyeri n’eky’Okubikkulirwa?
ESSUULA 16
‘Teeka Akabonero ku Byenyi by’Abantu’
Engeri abantu abeesigwa gye baateekebwako akabonero mu kiseera kya Ezeekyeri erina ky’etuyigiriza leero.
ESSUULA 18
“Obusungu Bwange Obungi Bulibuubuuka”
Obulumbaganyi bwa Googi buleetera Yakuwa okusunguwala n’alwanirira abantu be.
ESSUULA 19
‘Ebintu Byonna Bijja Kuba Biramu Yonna Omugga Gye Gunaatuuka’
Omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa gwakulukuta gutya mu biseera eby’edda, gukulukuta gutya leero, era gunaakulukuta gutya mu biseera eby’omu maaso?
ESSUULA 20
‘Mugabanyeemu Ensi Okuba Obusika’
Mu kwolesebwa Yakuwa alagira Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse okugabanyizaamu ebika bya Isirayiri Ensi Ensuubize.
ESSUULA 21
“Erinnya ly’Ekibuga Ekyo Linaabanga, Yakuwa Ali Omwo”
Biki bye tuyiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku kibuga n’erinnya lyakyo ery’amakulu?
ESSUULA 22
“Sinza Katonda”
Ekitabo kino kikubiddwa okutuyamba okuba abamalirivu okusinza Yakuwa yekka.
Mu Bufunze, Enkyukakyuka Ezikoleddwa
Lwaki waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu obumu ku bunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri?
AKASANDUUKO 1A
Okusinza Kye Ki?
Okusinza kye ki? Era ensonga y’okusinza ekkaatirizibwa etya mu kitabo kya Ezeekyeri? Okusinza okulongoofu kuzingiramu ki?
AKASANDUUKO 1B
Ebiri mu Kitabo kya Ezeekyeri mu Bufunze
Ekitabo kya Ezeekyeri kyasengekebwa okusinziira ku bintu nga bwe byagenda biddiriŋŋana n’okusinziira ku nsonga enkulu ezoogerwako.
AKASANDUUKO 2A
Okutegeera Obunnabbi bwa Ezeekyeri
Ekitabo kirimu okwolesebwa, ebyokulabirako, engero, n’okulaga ebintu mu bikolwa. Bino byonna bubaka obwava eri Katonda obwalaga ebintu ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso.
AKASANDUUKO 2B
Ezeekyeri—Obulamu Bwe n’Ekiseera We Yabeererawo
Waliwo ne bannabbi abalala abaali baweereza mu kiseera Ezeekyeri mwe yaweerereza nga nnabbi. Waliwo ebintu ebikulu ebyaliwo mu bantu ba Katonda mu kiseera kye.
AKASANDUUKO 3A
Olugendo Oluwanvu Okuva e Yerusaalemi Okutuuka e Babulooni
Kkubo ki abo abaatwalibwa mu buwambe lye bayinza okuba nga baayitamu nga bava mu Yuda okugenda e Babulooni?
AKASANDUUKO 4A
“Nnali Ntunuulira Ebiramu”
Njawulo ki eriwo wakati w’agabumbe agasangibwa mu Bwasuli ne Babulooni eby’edda, n’ebiramu ebina Ezeekyeri bye yalaba mu kwolesebwa?
AKASANDUUKO 5A
“Omwana w’Omuntu, Ebyo Obirabye?”
Ezeekyeri alaba ebintu bina ebyenyinyaza ebikolebwa mu yeekaalu ne mu luggya lwayo.
AKASANDUUKO 6A
‘Mwa Omutwe Gwo n’Ekirevu Kyo’
Yakuwa yalagira Ezeekyeri okukola ebintu ebitali bimu eby’obunnabbi ebyalaga ekyo ekyali kigenda okutuuka ku Yerusaalemi.
AKASANDUUKO 7A
Amawanga Agaali Geetoolodde Yerusaalemi
Waaliwo entalo nnyingi ezaalwanibwa mu nsi ya Yuda ne mu mawanga agaali gagyetoolodde.
AKASANDUUKO 7B
Ebigambo Ebikulu Ebiddiŋŋanwa mu Kitabo kya Ezeekyeri
Waliwo ebigambo ebikulu ebiddiŋŋanwa enfunda n’enfunda mu kitabo kya Ezeekyeri.
AKASANDUUKO 8A
Obunnabbi Obukwata ku Masiya—Omuti gw’Entolokyo Omunene
Olugero oluli mu Ezeekyeri essuula 17 lulina makulu ki?
AKASANDUUKO 8B
Obunnabbi bwa Mirundi Esatu Obukwata ku Masiya
Obunnabbi bwa Ezeekyeri obulaga nti wandibadde omufuzi w’abantu ba Katonda eyandibadde agwanidde okuba omusika wa Kabaka Dawudi.
AKASANDUUKO 9A
Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye—Mu Biseera eby’Edda
Katonda yaluŋŋamya Ezeekyeri okubuulira Bayudaaya banne abaali mu buwaŋŋanguse ebisuubizo bitaano ebikwata ku kuteebwa n’okuzzibwawo kw’abantu ba Katonda.
AKASANDUUKO 9B
Lwaki Tugamba nti Baggibwayo mu 1919?
Lwaki tugamba nti abantu ba Katonda baava mu buwambe bwa Babulooni Ekinene mu 1919?
AKASANDUUKO 9C
Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye—Mu Kiseera Kyaffe
Ebimu ku bintu Katonda bye yasuubiza bituukiriziddwa bitya ne mu kiseera kyaffe?
AKASANDUUKO 9D
Obunnabbi Obukwata ku Kutwalibwa mu Buwambe n’Okukomezebwawo
Obunnabbi obukwata ku Bayudaaya okutwalibwa mu buwambe mu Babulooni eky’edda bwatuukirizibwa ku kigero ekisingawo ekibiina Ekikristaayo bwe kyatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene.
AKASANDUUKO 9E
Ebiseera “Eby’okuzza Obuggya Ebintu Byonna”
Omutume Peetero yayogera ku kiseera ekitandika nga Yesu afuuse Kabaka ne kituukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi.
AKASANDUUKO 10A
Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo Mpolampola
Kiki ekyaliwo ekyasobozesa omulimu gw’okubuulira okukolebwa mu kiseera kyaffe?
AKASANDUUKO 10B
Amagumba Amakalu n’Abajulirwa Ababiri—Akakwate Akaliwo
Obunnabbi buno butuukiriziddwa butya mu kiseera kyaffe?
AKASANDUUKO 10C
Busobola Okutuyamba Okuddamu Okuyimirira
Oluusi tuyinza okuwulira ng’ebizibu bituyitiriddeko, naye okwolesebwa okukwata ku magumba amakalu agaddamu okuba amalamu kutuzzaamu amaanyi.
AKASANDUUKO 11A
Abamu ku Bakuumi Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi
Baayigganyizibwanga, baasigala beesigwa, baalabulanga abantu, era baalangiriranga n’amawulire amalungi.
AKASANDUUKO 12A
Okugatta Awamu Emiggo Ebiri
Mu biseera by’edda emiggo egyo gyali gikiikirira ki era gikiikirira ki mu kiseera kyaffe?
AKASANDUUKO 13A
Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga bya Njawulo
Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba eyawukana etya ku yeekaalu ey’eby’omwoyo omutume Pawulo gye yayogerako?
AKASANDUUKO 14A
Bye Tuyiga mu Kwolesebwa Ezeekyeri Kwe Yafuna
Biki by’oyigira ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa by’oyagala okukolerako ng’osinza Yakuwa?
AKASANDUUKO 15A
Ab’oluganda Ababiri Bamalaaya
Ebyo Yakuwa by’ayogera ku Okola ne Okoliba biraga engeri gy’atwalamu abo abavumaganya erinnya lye ettukuvu era abatagoberera mitindo gye egy’obutuukirivu egikwata ku kusinza okulongoofu.
AKASANDUUKO 16B
Okusinda n’Okukaaba, Okussa Akabonero, Okwasaayasa—Bibaawo Ddi era Bitya?
Okwolesebwa okuli mu Ezeekyeri essuula 9 kutuyamba okwetegekera obulungi enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.
AKASANDUUKO 18A
Yakuwa Alabula Abantu ku Lutalo Olukulu Olugenda Okujja
Obunnabbi bwa Bayibuli bwogera ku lutalo olukulu Katonda mw’ajja okuzikiririza abo bonna abamuwakanya.
AKASANDUUKO 19A
Emigga Egikiikirira Emikisa Egiva eri Yakuwa
Abawandiisi ba Bayibuli abatali bamu baakozesa ekyokulabirako ky’omugga okukiikirira emikisa egiva eri Yakuwa.
AKASANDUUKO 19B
Amazzi Amatono Gafuuka Omugga Omunene!
Omugga ogukulukuta okuva mu yeekaalu ya Yakuwa gukiikirira ki?
TEACHING BOX 20A
Okugabanyaamu Ensi
Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku kugabanyamu ensi kwazzaamu Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni amaanyi, era kuzzaamu n’abantu ba Katonda leero amaanyi.
AKASANDUUKO 21A
“Ekitundu Kye Munaayawulawo”
Ebifo ebitaano ebyali mu kitundu Yakuwa kye yayawulawo bye biruwa? Biki ebyali bikolerwamu?
AKASANDUUKO 22A
Okugezesebwa Okusembayo
Mikisa ki abo abanaayita mu kugezesebwa okusembayo gye banaafuna?