Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
Bayibuli erimu emisingi n’obulagirizi ebisobola okutuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.
Ebbaluwa Okuva ku Kakiiko Akafuzi
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kakubiriza abo bonna abaagala Yakuwa Katonda okutambuliza obulamu bwabwe ku mazima agali mu Kigambo kye, Bayibuli.
ESSUULA 1
Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera
Kyetaagisa okufuba okusobola okukuuma enkolagana yaffe ne Katonda nga nnywevu. Ekyo tuyinza tutya okukikola?
ESSUULA 2
Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi mu Maaso ga Katonda
Katonda yatuwa omuntu ow’omunda okutuyamba nga tusalawo ku bintu ebitali bimu.
ESSUULA 3
Londa Emikwano Egyagala Katonda
Emikwano gisobola okutuyamba oba okutwonoona. Emisingi gya Bayibuli giyinza gitya okutuyamba okulonda emikwano emirungi?
ESSUULA 4
Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?
Tusaanidde okussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu maka, mu kibiina, ne mu bitundu gye tubeera.
ESSUULA 5
Engeri Gye Tuyinza Okusigala nga Tweyawudde ku Nsi
Yesu yagamba abayigirizwa be nti, ‘Temuli ba nsi’ (Yokaana 15:19). ‘Ensi’ gye yali ayogerako kye ki, era lwaki Abakristaayo basaanidde okugyewala?
ESSUULA 6
Engeri Gye Tuyinza Okulondamu eby’Okwesanyusaamu
Eby’okwesanyusaamu biyinza okugeraageranyizibwa ku kibala ekiriko ekitundu ekirungi n’ekitundu ekivundu. Kiki ekinaatuyamba okulondawo eby’okwesanyusaamu ebirungi n’okwewala eby’okwesanyusaamu ebibi?
ESSUULA 7
Obulamu Obutwala nga bwa Muwendo nga Katonda bw’Abutwala?
Misingi ki egya Bayibuli egisobola okutuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku bulamu n’omusaayi?
ESSUULA 8
Yakuwa Ayagala Abantu Be Babe Bayonjo
Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ayagala tukuume emibiri gyaffe, engoye zaffe, n’awaka waffe nga biyonjo, ayagala tube bayonjo ne mu ngeri endala. Ayagala tube bayonjo mu kusinza kwaffe, mu nneeyisa yaffe, ne mu birowoozo byaffe.
ESSUULA 9
“Muddukenga Ebikolwa eby’Obugwenyufu!”
Ebikolwa eby’obugwenyufu kye ki era tuyinza tutya okubyewala?
ESSUULA 10
Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
Egimu ku miganyulo egiri mu bufumbo gye giruwa? Oyinza otya okulonda obulungi oyo gw’onoofumbiriganwa naye? Kiki ekisobola okuyamba obufumbo okuwangaala?
ESSUULA 11
Oluvannyuma lw’Okugattibwa
Obufumbo bwonna oluusi n’oluusi bubaamu ebizibu. Wadde kiri kityo, n’abafumbo aboolekagana n’ebizibu eby’amaanyi basobola okuba n’obufumbo obunywevu.
ESSUULA 12
Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
Ebigambo byaffe bisobola okuzzaamu abalala amaanyi oba okubalumya. Yakuwa atuyigiriza engeri gye tusaanidde okukozesaamu ekirabo eky’okwogera.
ESSUULA 13
Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?
Waliwo emikolo mingi n’ennaku abantu bye bakuza. Kiki ekisobola okutuyamba okumanya engeri Katonda gy’atwalamu emikolo egyo?
ESSUULA 14
Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
Laba embeera za mirundi 4 mwe kiyinza okutubeerera ekizibu okuba abeesigwa n’emiganyulo gye tufuna mu kuba abeesigwa.
ESSUULA 15
Nyumirwa Omulimu Gwo
Katonda ayagala tunyumirwe emirimu gyaffe. Kiki ekisobola okukuyamba okunyumirwa omulimu gwo? Waliwo emirimu Abakristaayo gye basaanidde okwewala?
CHAPTER 16
Ziyiza Omulyolyomi
Tuli mu nsi efugibwa Sitaani. Tuyinza tutya okusigala okumpi ne Katonda ne twekuuma Sitaani Omulyolyomi?
ESSUULA 17
Sigala mu Kwagala kwa Katonda
Omuwandiisi wa Bayibuli omu akubiriza Abakristaayo nti: “Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo.” Ekyo oyinza kukikola otya?
Ebyongerezeddwako
Amakulu g’ebigambo ebiri mu katabo Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda.