Okukangavvula
Lwaki Bayibuli y’erimu obulagirizi obusingayo obulungi?
Lwaki ffenna twetaaga okuweebwa obulagirizi n’okuwabulwa?
Laba ne Yer 17:9
Yakuwa bw’atukangavvula kiba kiraga ki?
Laba ne Ma 8:5; Nge 13:24; Kub 3:19
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
2Sa 12:9-13; 1Sk 15:5; Bik 13:22—Wadde nga Kabaka Dawudi akola ebibi eby’amaanyi, Yakuwa amukangavvula mu ngeri ey’okwagala era amusonyiwa
-
Yon 1:1-4, 15-17; 3:1-3—Yakuwa akangavvula Yona olw’obutagenda gye yamutuma, naye amuwa akakisa akalala
-
Lwaki kya magezi okukkiriza okukangavvulwa Katonda?
Nge 9:8; 12:1; 17:10; Beb 12:5, 6
Laba ne 2By 36:15, 16
Kiki ekiyinza okutuuka ku abo abagaana okukangavvulwa Katonda?
Nge 1:24-26; 13:18; 15:32; 29:1
Laba ne Yer 7:27, 28, 32-34
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Yer 5:3-7—Abantu ba Katonda bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana okukyusaamu nga bakangavvuddwa, era ekyo kibaviirako okubonerezebwa ennyo
-
Zef 3:1-8—Olw’okuba abantu b’omu Yerusaalemi bagaana okukolera ku kukangavvula okuva eri Yakuwa, bafuna ebizibu eby’amaanyi
-
Tuganyulwa tutya bwe tukkiriza okukangavvula Yakuwa kw’atuwa?
Nge 4:13; 1Ko 11:32; Tit 1:13; Beb 12:10, 11
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Ma 30:1-6—Nnabbi Musa agamba abantu nti bwe bakolera ku kukangavvula okuva eri Yakuwa, bajja kufuna emikisa
-
2By 7:13, 14—Yakuwa abuulira Kabaka Sulemaani ebirungi ebiva mu kukolera ku kukangavvula okuva gy’ali
-
Tuganyulwa tutya mu kukangavvula okuweebwa abalala?
Lwaki tetusaanidde kusanyuka ng’abalala baweereddwa okukangavvula okw’amaanyi?
Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu kuwabulwa n’okukangavvula okuva eri Yakuwa?
Laba ne Ma 17:18, 19; Zb 119:97
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1By 22:11-13—Kabaka Dawudi agamba mutabani we Sulemaani nti Yakuwa ajja kumuwa emikisa singa afuba okukolera ku bulagirizi bwe
-
Zb 1:1-6—Yakuwa asuubiza okuwa emikisa abo abasoma Ekigambo kye era ne bakifumiitirizaako
-
Lwaki abazadde abaagala abaana baabwe babakangavvula?
Laba “Abazadde”
Abaana basaanidde kutwala batya okukangavvula bazadde baabwe kwe babawa?