Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 12

Oyinza Otya Okusemberera Katonda?

Oyinza Otya Okusemberera Katonda?

1. Katonda awuliriza essaala zonna?

Katonda ayagala abantu ab’amawanga gonna bamutuukirire mu kusaba. (Zabbuli 65:2) Kyokka, Katonda tawuliriza ssaala zonna. Okugeza, essaala z’omusajja ayisa obubi mukyala we zisobola obutawulirwa. (1 Peetero 3:7) Abayisirayiri bwe baagaana okuleka ebibi bye baali bakola, Katonda teyawuliriza ssaala zaabwe. Okusaba nkizo ya maanyi. Kyokka Katonda asobola okuwulira n’essaala z’abo ababa bakoze ebibi eby’amanyi kasita baba nga beenenyezza.​—Soma Isaaya 1:15; 55:7.

Laba vidiyo Katonda Awuliriza Essaala Zonna?

2. Twandisabye tutya?

Okusaba y’emu ku ngeri gye tusinzaamu Katonda, n’olwekyo tusaanidde kusaba Yakuwa yekka, Omutonzi waffe. (Matayo 4:10; 6:9) Ate era, olw’okuba tetutuukiridde, tusaanidde okusaba mu linnya lya Yesu kubanga yafa olw’ebibi byaffe. (Yokaana 14:6) Yakuwa tayagala tuddiŋŋane ssaala ze twakwata obukusu oba empandiike. Ayagala essaala zaffe zibe nga ziviira ddala ku mutima.​—Soma Matayo 6:7; Abafiripi 4:6, 7.

Omutonzi waffe awulira n’essaala ze tusaba mu kasirise. (1 Samwiri 1:12, 13) Ayagala tumutuukirire mu kusaba ekiseera kyonna, gamba, nga tuzuukuse ku makya, nga tugenda okwebaka, nga tugenda okulya, oba nga tufunye ekizibu.​—Soma Zabbuli 55:22; Matayo 15:36.

3. Lwaki Abakristaayo bakuŋŋaana wamu?

Si kyangu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kubanga tuli mu bantu abatakkiririza mu Katonda era abatakkiriza nti ajja kuleeta emirembe ku nsi. (2 Timoseewo 3:1, 4; 2 Peetero 3:3, 13) N’olwekyo twetaaga okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe tuzziŋŋanemu amaanyi.​—Soma Abebbulaniya 10:24, 25.

Okukuŋŋaana awamu n’abantu abaagala Katonda kituyamba okusemberera Katonda. Mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ojja kusangayo abantu abalina okukkiriza era abajja okukuzaamu amaanyi.​—Soma Abaruumi 1:11, 12.

4. Oyinza otya okusemberera Katonda?

Osobola okusemberera Yakuwa ng’ofumiitiriza ku ebyo by’oba oyize mu Kigambo kye, Bayibuli. Fumiitiriza ku bikolwa bye, ku magezi g’atuwa, ne ku bisuubizo bye. Okusaba n’okufumiitiriza bituyamba okutegeera okwagala kwa Katonda n’amagezi ge.​—Soma Yoswa 1:8; Zabbuli 1:1-3.

Okusobola okusemberera Katonda kikwetaagisa okumukkiririzaamu n’okumwesiga. Okukkiriza kulinga ekintu ekiramu ekyetaaga okuliisa. Osaanidde okuliisanga okukkiriza kwo ng’ofumiitiriza ku ebyo by’oyize era n’okakasiza ddala nti bituufu.​—Soma Matayo 4:4; Abebbulaniya 11:1, 6.

5. Okusemberera Katonda kunaakuganyula kutya?

Yakuwa afaayo nnyo ku abo abamwagala. Abakuuma ne watabaawo kintu kyonna kiyinza kunafuya kukkiriza kwabwe oba okubaleetera okufiirwa obulamu obutaggwaawo. (Zabbuli 91:1, 2, 7-10) Atukubiriza okwewala ebyo ebiyinza okuba eby’akabi eri obulamu bwaffe era ebiyinza okutumalako essanyu. Yakuwa by’atuyigiriza bituyamba okuba obulungi.​—Soma Zabbuli 73:27, 28; Yakobo 4:4, 8.