Ddala Abantu Abaasooka Baali Mu Lusuku Edeni?
Ddala Abantu Abaasooka Baali Mu Lusuku Edeni?
KUBA akafaananyi ng’oli mu kifo ekirabika obulungi ennyo. Tewali bireekaana, tewali mivuyo egibeera mu bibuga ebinene, era tewali kintu kyonna kikutaataaganya. Tolina kintu kyonna kikweraliikiriza, oli mulamu bulungi era olina amaanyi. Era nga buli kimu ky’olaba kikusanyusa.
Ekifo ekyo era kirimu ebimuli ebirabika obulungi, omugga ogukulukuta amazzi amayonjo, n’ebimera ebirala ebirabika obulungi. Owulira akawewo akalungi, era owunyiriza obuwoowo obuva mu bimuli. Owulira ebikoola nga byenyeenya, amazzi ageekuba ku njazi, ebinyonyi ebiyimba, era n’ebiwuka ebikaaba. Tewandyagadde kuba mu kifo ng’ekyo?
Abantu bangi mu nsi bakkiriza nti abantu abaasooka okutondebwa baali mu kifo ekifaanana bwe kityo. Okumala ebyasa bingi, abantu abali mu ddiini y’Ekiyudaaya, mu madiini g’Ekikristaayo, era n’Abasiraamu, babaddenga bayigirizibwa ebikwata ku lusuku Edeni, Katonda mwe yateeka abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa. Bayibuli eraga nti Adamu ne Kaawa baali mu bulamu bulungi, baali mu mirembe, era nga basanyufu. Ate era waaliwo emirembe wakati waabwe n’ebisolo, era baalina n’enkolagana ennungi ne Katonda. Era Katonda yali abawadde essuubi ery’okubeera mu kifo ekyo ekyali kirabika obulungi emirembe gyonna.—Olubereberye 2:15-24.
Abahindu nabo bakkiriza nti mu biseera eby’edda waaliwo ekifo ekyali kirabika obulungi ennyo. Ab’enzikiriza ya Bbuda nabo bakkiriza nti abakulembeze baabwe baatandika okubaawo mu kiseera ng’ensi eringa olusuku olulabika obulungi. N’amadiini mangi mu Afirika gayigiriza ebintu ebifaananako n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku Adamu ne Kaawa.
Mu butuufu, mu madiini mangi ne mu buwangwa bungi mulimu enzikiriza eziraga nti waaliwoko ekifo ekirabika obulungi ennyo. Omuwandiisi omu yagamba nti: “Mu biseera eby’edda, abantu bangi bakkirizanga nti abantu abaasooka baali babeera mu kifo ekirabika obulungi, nga bali mu mbeera nnungi, nga bali mu mirembe, nga tewali kye batya, era nga balina buli kimu kye beetaaga. . . . Ekyo kyaleetera abantu bangi okwagala okuddamu okubeera mu kifo ekyo ekyali kirabika obulungi, ekyabula.”
Kyandiba nti abantu mu mawanga ag’enjawulo balina engero n’enfumo ezifaananako n’ebyo ebyogerwa ku lusuku Edeni olw’okuba ddala olusuku olwo lwaliyo? Ddala olusuku Edeni lwaliyo? Ye abaffe, ddala Adamu ne Kaawa baaliyo?
Leero abantu bangi tebakkiriza nti olusuku Edeni ddala lwaliyo. Waliwo ne bannaddiini abatakkiriza nti olusuku Edeni lwaliyo. Bagamba nti olwo lugero bugero olwawandiikibwa tubeeko bye tuyigamu.
Kyo kituufu nti Bayibuli erimu engero. Yesu naye yakozesa engero nnyingi. Kyokka Bayibuli bw’eba eyogera ku lusuku Edeni, terwogerako ng’olugero obugero, wabula ng’ekintu ekyaliwo ddala. Bwe kiba nti olusuku Edeni terwaliyo, kati olwo tuyinza tutya okwesiga ebirala byonna ebiri mu Bayibuli? Ka tulabe ensonga lwaki abantu abamu tebakkiriza nti olusuku Edeni lwaliyo. Oluvannyuma tujja kulaba ensonga lwaki ebyo Bayibuli by’etubuulira ku lusuku Edeni bitukwatako ffenna.