Okuteekateeka Amaka Agaweesa Katonda Ekitiibwa
Essuula 15
Okuteekateeka Amaka Agaweesa Katonda Ekitiibwa
1-3. Lwaki abamu balemeddwa okugonjoola ebizibu ebibaawo mu bufumbo ne mu kukuza abaana, naye lwaki Baibuli esobola okubayamba?
KATUGAMBE oteekateeka kuzimba nnyumba. Omaze okugula ettaka. Nga weesunga nnyo, okuba ekifaananyi mu birowoozo byo ng’ennyumba yo empya bw’eneeba. Naye kiba kitya singa tolina byuma bikozesebwa mu buzimbi yadde obumanyirivu bwonna mu kuzimba? Nga wandibadde n’obuzibu bunene nnyo!
2 Bangi bayingira mu bufumbo nga basuubira okuba n’amaka ag’essanyu, kyokka nga tebalina bya kugazimbisa oba obumanyirivu obwetaagibwa mu kuzimba amaka ag’essanyu. Ebbanga ttono oluvannyuma lw’embaga, engeri ezitali nnungi zitandika okweyoleka. Okulwana n’okuyomba bifuuka nkola eya bulijjo. Abaana bwe bazaalibwa, taata ono omuppya ne maama beesanga nga tebalina kinene kye bamanyi ku bya buzadde era nga bwe bataalina kinene kye baali bamanyi ku bikwata ku kukola obufumbo obw’essanyu.
3 Naye eky’essanyu, Baibuli esobola okutuyamba. Emisingi egirimu gye giringa ebyuma ebikozesebwa by’osobola okweyambisa okuteekateeka amaka ag’essanyu. (Engero 24:3) Ka tulabe engeri gye kikolebwamu.
EBIKOZESEBWA OKUTEEKATEEKA OBUFUMBO OBW’ESSANYU
4. Lwaki ebizibu bisuubirwa okubaawo mu bufumbo, era mitindo ki egituweebwa mu Baibuli?
4 Abafumbo ka balabike nga batuukagana bulungi batya,
ba njawulo ku bikwata ku nneewulira zaabwe ez’omunda, bye baayitamu mu buto, era basibuka mu maka ga njawulo. N’olwekyo, ebizibu bisuubirwa okubeerawo nga bamaze okufumbiriganwa. Binaagonjoolebwa bitya? Bo, abazimbi bwe baba bazimba ennyumba, batunula ku pulaani. Ebalaga kye balina okukola. Baibuli etuwa emitindo gya Katonda egikwata ku kuteekateeka amaka ag’essanyu. Ka twekenneenye egimu ku gyo.5. Baibuli eggumiza etya obukulu bw’obwesigwa mu bufumbo?
5 Obwesigwa. Yesu yagamba: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” * (Matayo 19:6) Omutume Pawulo yawandiika: “Okufumbiriganwa [kube] kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda [kibe] kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Abaebbulaniya 13:4) N’olwekyo abafumbo basaanidde okuwulira nga bavunaanyizibwa eri Yakuwa okusigala nga beesigwa eri bannaabwe.—Olubereberye 39:7-9.
6. Obwesigwa buyamba butya okukuuma obufumbo?
6 Obwesigwa buleeta ekitiibwa n’obutebenkevu mu bufumbo. Abafumbo abeesigaŋŋana bakimanyi nti, ka kibeere ki oba ki, bajja kuyambagana. (Omubuulizi 4:9-12) Nga baba ba njawulo nnyo ku abo abasattulula obufumbo bwabwe nga baakafuna ekizibu ekitono! Abantu ng’abo basalawo mangu ago nti ‘baalonda omuntu mukyamu,’ nti ‘tebakyayagalana,’ era nti okufunayo omulala kye kijja okugonjoola ekizibu. Naye endowooza eno tebasobozesa kukula mu birowoozo. Wabula, abantu ng’abo abateesigaŋŋanye bayinza okutwala ebizibu bye bimu mu bufumbo obuppya. Omuntu bw’aba n’ennyumba ennungi naye n’akizuula nti etonnya, mazima ddala agezaako okuzibikira awo awatonnya. Aba teyeetaaga kukyusa nnyumba. Mu ngeri y’emu, okufunayo omulala si ye ngeri y’okugonjoolamu ensonga ezisibukako obuzibu mu bufumbo. Ebizibu bwe bibaawo, tonoonya kugattululwa kuva mu bufumbo, naye noonya makubo kubunyweza. Obwesigwa ng’obwo butwala obufumbo okuba nga bwetaaga okukuumibwa, okufiibwako, n’okutwalibwa ng’eky’omuwendo.
7. Lwaki empuliziganya etera okuzibuwalira abafumbo, naye okwambala “omuntu omuggya” kuyinza kutya okuyamba?
7 Empuliziganya. “Awatali magezi okuteesa kufa: naye kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo,” olugero lwa Baibuli bwe lugamba. (Engero 15:22) Kyokka, abafumbo abamu balina obuzibu mu mpuliziganya. Lwaki kiri bwe kityo? Kuba abantu balina engeri za njawulo ez’empuliziganya. Kino kye kitera okuviirako obutategeeragana obw’amaanyi n’okulemesebwa. Engeri omuntu gye yakuzibwamu nayo eyinza okubaako ky’ekola. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okuba nga baakulira mu maka nga bazadde baabwe bayombagana buli kiseera. Kati ng’abantu abakulu abafumbo, bayinza obutamanya kwogera na munnaabwe mu ngeri ey’ekisa n’okwagala. Wadde nga kiri kityo, amaka go tegasaanidde kwonooneka kubeera ‘nnyumba ejjudde okuyomba.’ (Engero 17:1) Baibuli eggumiza “okwambala omuntu omuggya,” era tesemba njogera ya kkayu, ya kulumya, ya kuleekaanira waggulu, oba ey’okuvuma.—Abeefeso 4:22-24, 31.
8. Kiki ekiyinza okubayamba nga mubadde n’obutategeeragana ne munno?
8 Kiki ky’osobola okukola bwe wabaawo obutategeeragana? Bwe muba nga mmwembi musunguwadde, kiba kirungi ne mugoberera amagezi agali mu Engero 17:14: “Olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.” Yee, muyinza okulekera awo kye mubadde mwogerako okutuusa nga mmwembi mumaze okukkakkana obusungu. (Omubuulizi 3:1, 7) Mu buli ngeri, fuba okubeera ‘omwangu w’okuwulira, alwawo okwogera, alwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Ekiruubirirwa kyo kyandibadde kulongoosa mbeera, so si kuwangula mpaka. (Olubereberye 13:8, 9) Kozesa ebigambo n’enjogera ebinaabakkakkanya mmwembi. (Engero 12:18; 15:1, 4; 29:11) N’ekisinga obukulu, temusigala nga muli basunguwavu, naye mufune obuyambi nga mwogera ne Katonda mmwembi okuyitira mu kusaba.—Abeefeso 4:26, 27; 6:18.
9. Lwaki kiyinza okugambibwa nti empuliziganya etandikira mu mutima?
9 Olugero lwa Baibuli lugamba: “Omutima gw’ow’amagezi guyigiriza akamwa ke, ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.” (Engero 16:23) Ddala ddala, ekisumuluzo kyennyini eky’empuliziganya ematiza kiri mu mutima, so si mu kamwa. Olina ndowooza ki ku munno? Baibuli ekubiriza Abakristaayo okulaga “omwoyo ogulumirirwa.” (1 Peetero 3:8, NW ) Osobola okukola bw’otyo nga munno mu bufumbo alina ekintu ekimweraliikiriza? Singa okikola, kijja kukuyamba okumanya engeri y’okumuddamu.—Isaaya 50:4.
10, 11. Omwami ayinza atya okugoberera okubuulirira okuli mu 1 Peetero 3:7?
10 Okumutwala nga wa Muwendo n’Okumuwa Ekitiibwa. Abaami Abakristaayo balagirwa okubeera ne bakyala baabwe ‘mu ngeri ey’amagezi, nga bassaamu ekitiibwa omukazi ng’ekibya ekisinga obunafu.’ (1 Peetero 3:7) Omuntu okuwa mukyala we ekitiibwa kitwaliramu okumanya nti wa muwendo. Omwami abeera ne mukyala we ‘mu ngeri ey’amagezi’ assa ekitiibwa mu nneewulira ye, obusobozi bwe, amagezi ge, n’ekifo kye. Era yandibadde ayagala okuyiga engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abakazi era gy’ayagala bayisibwemu.
11 Ka tugambe nti mu nnyumba yo olinamu ekibya ekyatika eky’omugaso nnyo. Tewandikikuttenga na bwegendereza? Peetero yakozesa ekigambo “ekibya ekisinga obunafu” ng’alina ekirowoozo bwe kityo, era kino kyandireetedde omwami Omukristaayo okukwata mukyala we omwagalwa n’obwegendereza.
12. Omukyala ayinza atya okulaga nti assaamu omwami we ekitiibwa?
12 Naye kubuulirira ki Baibuli kw’ewa omukyala? Pawulo yawandiika: “Omukazi atyenga bba.” (Abeefeso 5:33) Ng’omukyala bwe yeetaaga okumanya nti omwami we amutwala nga wa muwendo era amwagala, n’omwami naye yeetaaga okukimanya nti mukyala we amussaamu ekitiibwa. Omukyala assa mu mwami we ekitiibwa tajja kulaalaasa nsobi ze, omwami we k’abe nga Mukristaayo oba nedda. Tajja kumuweebuula ng’amukolokota era n’okumufeebya, ka kibe mu kyama oba mu lujjudde.—1 Timoseewo 3:11; 5:13.
13. Ebirowoozo biyinza kuwaanyisibwa bitya mu ngeri ey’emirembe?
13 Kino tekitegeeza nti omukyala tasobola kuwa ndowooza ze. Bwe wabaawo ekimutabula, asobola okukyogera mu ngeri ey’ekitiibwa. (Olubereberye 21:9-12) Omukyala okuwa omwami we ekirowoozo kiyinza okufaananyizibwa n’okumukasukira akapiira. Ayinza okukakasuka mu ngeri ennungi omwami asobole okukabaka, oba ayinza okukakasuka n’eryanyi lingi ne kalumya omwami. Kale nga kiba kirungi nnyo singa abafumbo bombi beewala buli omu okukayukira munne, naye ne boogeranga mu ngeri ey’ekisa era ey’eggonjebwa!—Matayo 7:12; Abakkolosaayi 4:6; 1 Peetero 3:3, 4.
14. Kiki ky’osaanidde okukola singa munno tassaayo nnyo mwoyo ku kugoberera emisingi gya Baibuli mu bufumbo?
14 Nga bwe tulabye, emisingi gya Baibuli gisobola okuku1 Peetero 3:1, 2) Kya lwatu nti n’omwami alina omukyala atayagala bya Baibuli bw’atyo bw’alina okukola. Munno k’abeere nga yeeyisa atya, ggwe kkiriza emisingi gya Baibuli gikufuule omuntu omufumbo asingako obulungi. Okumanya okukwata ku Katonda era kuyinza okukufuula omuzadde asingako obulungi.
yamba okuteekateeka obufumbo obw’essanyu. Naye kiba kitya singa munno talaga kufaayo kwonna ku ebyo Baibuli by’egamba? Bingi ebiyinza okukolebwa singa ogoberera okumanya okukwata ku Katonda ng’otuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Peetero yawandiika: “Abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe, bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.” (OKUKUZA ABAANA NG’OGOBERERA OKUMANYA OKUKWATA KU KATONDA
15. Engeri enkyamu ez’okukwatamu obuvunaanyizibwa bw’ekizadde oluusi zongerwa zitya mu maaso, naye kino kiyinza kukyusibwa kitya?
15 Okubeera obubeezi n’omusumeeno oba ennyondo tekikufuula mubazzi mulungi. Mu ngeri y’emu, okubeera obubeezi n’abaana tekikufuula muzadde mulungi. Mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu, abazadde batera okukuza abaana baabwe mu ngeri bo gye baakuzibwamu. Bwe kityo nno, engeri enkyamu ez’okukuzaamu abaana ebiseera ebimu ziggibwa ku mulembe ogumu ne zitwalibwa ku mulembe omulala. Olugero lw’Ekyebbulaniya olw’edda lugamba: “Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula, [naye] amannyo g’abaana [ge] ganyenyeera.” Kyokka, Ebyawandiikibwa biraga nga si kya tteeka omuntu okugoberera ekkubo ly’abazadde be. Ayinza okulondawo ekkubo eddala, eryo erigoberera amateeka ga Yakuwa.—Ezeekyeri 18:2, 14, 17.
16. Lwaki kikulu okulabirira ab’omu maka go mu byetaago byabwe, era bino bitwaliramu ki?
16 Yakuwa asuubira abazadde Abakristaayo okuwa abaana baabwe obulagirizi obusaanira era n’okubalabirira obulungi. 1 Timoseewo 5:8) Nga bigambo bya maanyi nnyo ebyo! Okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo obw’okulabirira ab’omu maka go, ekitwaliramu okulabirira ebyetaago by’abaana bo eby’omubiri, eby’omwoyo, era n’eby’enneewulira zaabwe ez’omunda, nkizo era buvunaanyizibwa eri omuntu atya Katonda. Baibuli erimu emisingi egiyinza okuyamba abazadde okuteerawo abaana baabwe embeera ey’essanyu. Lowooza ku gino.
Pawulo yawandiika: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi n’okusinga atakkiriza.” (17. Kiki ekyetaagibwa okusobola okuwandiika amateeka ga Katonda ku mitima gy’abaana bo?
17 Teekawo ekyokulabirako ekirungi. Abazadde Abaisiraeri baalagirwa: “[Ebigambo bya Katonda] onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” Abazadde baali ba kuyigiriza abaana baabwe emitindo gya Katonda. Naye ebigambo bino byakulemberwa okubuulirira kuno: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo.” (Ekyamateeka 6:6, 7, italiki zaffe.) Yee, abazadde tebasobola kugaba kye batalina. Amateeka ga Katonda gateekwa okusooka okuba ku mitima gyammwe bwe muba mwagala okugawandiika ku mitima gy’abaana bammwe.—Engero 20:7; geraageranya Lukka 6:40.
18. Mu bikwata ku kulaga okwagala, Yakuwa ateereddewo atya abazadde ekyokulabirako ekirungi ennyo?
18 Bakakase ng’obaagala. Ku kubatizibwa kwa Yesu, Yakuwa yagamba: “Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.” (Lukka 3:22) Mu ngeri eyo Yakuwa yamukakasa nti Mwana we, n’akiraga lwatu nti amusiima era Amwagala. Yesu oluvannyuma yagamba bw’ati Kitaawe: “Wanjagala nze ng’ensi tennatondebwa.” (Yokaana 17:24) N’olwekyo, ng’abazadde abatya Katonda, mulage abaana bammwe okwagala mu bigambo ne mu bikolwa—era mukikole emirundi mingi. Mujjukire bulijjo nti “okwagala kuzimba.”—1 Abakkolinso 8:1.
19, 20. Kiki ekitwalirwamu mu kukangavvula abaana mu ngeri entuufu, era abazadde bayinza batya okuganyulwa mu kyokulabirako kya Yakuwa?
Engero 1:8) Abazadde abeebalama obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuwa abaana baabwe obulagirizi mu kiseera kino bajja kwolekagana n’ebirumya omutima ebinaavaamu gye bujja. Kyokka, abazadde era balabulwa okwegendereza baleme kubakangavvula kisukkiridde. “Bakitaabwe,” bw’atyo bwe yawandiika Pawulo, “temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.” (Abakkolosaayi 3:21) Abazadde bateekwa okwewala okugolola abaana baabwe ekisukkiridde oba okuyeeyereza ensobi zaabwe n’okubavumirira.
19 Okukangavvula. Baibuli eggumiza obukulu bw’okukangavvula okw’okwagala. (20 Yakuwa Katonda, Kitaffe ow’omu ggulu, assaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuwa okukangavvula. Tagwa lubege n’akamu bw’aba agolola. “Ndikukangavvula mpola [“mu ngeri esaanira,” NW ],” bw’atyo Katonda bwe yagamba abantu be. (Yeremiya 46:28) Abazadde basaanidde okukoppa Yakuwa mu nsonga eno. Okukangavvula okusukka ku okwo okusaanidde oba okusukka ekigendererwa eky’okugolola n’okuyigiriza ddala ddala kuba kunyiikaaza.
21. Abazadde bayinza kumanya batya obanga okukangavvula kwe bawa kumatiza?
21 Abazadde bayinza batya okumanya obanga okukangavvula kwe bawa kumatiza? Bayinza okwebuuza, ‘Okukangavvula kwe mpa kutuukiriza ki?’ Kwandibadde kuyigiriza. Omwana wo asaanidde okutegeera lwaki okukangavvula okwo kumuweereddwa. Abazadde era bandifuddeyo ku binaava mu kugolola kwe bakoze. Kituufu nti mu kusooka kumpi buli mwana ajja kunyiiga ng’akangavuddwa. (Abaebbulaniya 12:11) Naye okukangavvulwa tekwandireetedde mwana kuwulira ntiisa oba okuwulira nti takyalina mugaso gwonna oba okumuwa endowooza nti mubi nnyo ddala. Nga tannagolola bantu be, Yakuwa yagamba: “Totya ggwe, . . . kubanga nze ndi wamu naawe.” (Yeremiya 46:28) Yee, okugololwa kwandiweereddwa omwana wammwe mu ngeri eneemusobozesa okukimanya nga muli wamu naye era mumwagala nga bazadde be.
OKUFUNA “OBULAGIRIZI OBUTUUFU”
22, 23. Oyinza otya okufuna obulagirizi obwetaagibwa mu kuteekateeka amaka ag’essanyu?
22 Tuyinza okuba abasanyufu nti Yakuwa atuwadde eby’okukozesa bye twetaaga okuteekateeka amaka amasanyufu. Naye okubeera obubeezi n’eby’okukozesa bino tekimala. Tuteekwa okwemanyiiza okubikozesa mu ngeri entuufu. Ng’ekyokulabirako, omuzimbi ayinza okwemanyiiza engeri embi mu nkwata y’ebyuma by’akozesa. Ebimu ayinza okubikozesa mu ngeri enkyamu ddala. Singa akola bw’atyo, omulimu gwe tegujja kuba mulungi. Mu ngeri y’emu, oyinza okuba ng’olabye obuyisayisa obutali bulungi obusensedde amaka go. Obumu buyinza okuba nga busimbye amakanda era nga si kyangu okubukyusa. Naye, goberera amagezi ga Baibuli: “Omuntu ow’amagezi awuliriza ne yeeyongera okuyiga, era omusajja ategeera ye oyo afuna obulagirizi obutuufu.”—Engero 1:5, NW.
23 Oyinza okufuna obulagirizi obutuufu nga weeyongera okufuna okumanya okukwata ku Katonda. Wekkaanye emisingi gya Baibuli egikwata ku bulamu bw’amaka, era kola enkyukakyuka we kiba kyetaagisa. Tunuulira Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo abataddewo ekyokulabirako ekirungi ng’abafumbo era abazadde. Yogerako nabo. N’ekisinga obukulu, Yakuwa mmubuulirenga byonna ebikuli ku mutima ng’oyitira mu kusaba. (Zabbuli 55:22; Abafiripi 4:6, 7) Asobola okukuyamba obe n’obulamu bw’amaka obw’essanyu obumuweesa ekitiibwa.
[Obugambo obwa wansi]
^ lup. 5 Mu Byawandiikibwa ensonga yokka eyandivuddeko okugattululwa oli n’abeera ng’akkirizibwa okuyingira obufumbo obulala bwe ‘bwenzi’—okwetaba n’omuntu omulala ebweru w’obufumbo.—Matayo 19:9.
GEZESA OKUMANYA KWO
Obwesigwa, empuliziganya, okutwala munno nga wa muwendo, n’okuwa ekitiibwa biyamba bitya okuleetawo essanyu mu bufumbo?
Ngeri ki abazadde ze bayinza okukakasamu abaana baabwe nti babaagala?
Okukangavvula okusaanidde kutwaliramu biki?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 147]