Okumanya Okukwata ku Katonda Bwe Kulijjula Ensi
Essuula 19
Okumanya Okukwata ku Katonda Bwe Kulijjula Ensi
1, 2. Ebitonde bya Yakuwa byayonoonebwa bitya?
KA TUGAMBE omusiizi w’ebifaananyi nnakinku yaakamaliriza okusiiga ekifaananyi ekiyitirivu obulungi. Akirowooza okuba ekirungi ennyo—mulimu gwa kikugu! Naye olunaku lumu omuntu amukwatiddwa obuggya n’ajja n’akyonoona. Ddala kino kireetera omusiizi w’ebifaananyi oyo obulumi bwa maanyi. Aba ayagala okulaba omuntu oyo ng’asibibwa! Era oyinza okukiteebereza nti omusiizi w’ebifaananyi oyo aba ayagala okulongoosa ekifaananyi kye kiddewo nga bwe kyali.
2 Okufaananako omusiizi w’ebifaananyi oyo, Yakuwa yakola omulimu gwa kikugu nnyo mu kuteekateeka ensi n’okugiteekako abantu. Oluvannyuma lw’okutonda omusajja n’omukazi, yagamba nti buli kye yali akoze ku nsi kyali “kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Adamu ne Kaawa baali baana ba Katonda, era yali abaagala nnyo. Yali abaagaliza ebiseera eby’omu maaso ebirungi ennyo era eby’essanyu. Kituufu, Setaani yabajeemesa, naye wadde kyali kityo ebitonde bya Katonda byali tebyonoonereddwa ddala obutasobola kuddamu kulongoosebwa.—Olubereberye 3:23, 24; 6:11, 12.
3. “Obulamu ddala ddala” bwe buluwa?
3 Katonda amaliridde okutereeza ebintu. Ayagalira ddala okulaba nti tubeera mu ngeri gye yagenderera okusooka. Obulamu bwaffe obumpi era obujjudde emitawaana si bwe ‘bulamu ddala ddala,’ kubanga bwa wansi nnyo bw’obugeraageranya n’obwo Yakuwa bwe yagenderera. “Obulamu ddala ddala” Katonda bw’atwagaliza bwe ‘bulamu obutaggwaawo’ mu mbeera ezituukiridde.—1 Timoseewo 6:12, 19.
4, 5. (a) Essuubi ery’Olusuku lwa Katonda linaatuukibwako litya? (b) Lwaki twandirowoozezza ku ssuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso?
Yakobo 4:17) Naye lowooza ku mikisa gy’ojja okunyumirwa singa okozesa okumanya okwo n’oluubirira okutuuka mu bulamu obutaggwaawo. Okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli, Yakuwa Katonda atukubidde ekifaananyi ekirungi ennyo ekiraga obulamu obwo nga bwe buliba mu Lusuku lwa Katonda ku nsi olunaatera okutuuka. Kya lwatu, ng’abantu ba Yakuwa tetuweereza Katonda lwa kwagala bwagazi kufuna kirabo. Tuweereza Katonda olw’okuba tumwagala. (Makko 12:29, 30) Ate era, obulamu tetubufuna nga mpeera ey’okuweereza Yakuwa. Obulamu obutaggwaawo kirabo kuva eri Katonda. (Abaruumi 6:23) Kijja kutuganyula okufumiitiriza ku bulamu obwo kubanga essuubi ery’Olusuku lwa Katonda litujjukiza engeri za Yakuwa Katonda—“ye mugabi w’empeera [ow’okwagala] eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Essuubi erinywevu ddala mu birowoozo byaffe ne mu mitima gyaffe lijja kutusobozesa okugumira ebizibu ebiriwo mu nsi ya Setaani.—Yeremiya 23:20.
4 Okumanya okukwata ku Katonda kutuleetera obuvunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa. (5 Kati ka twekkaanye essuubi eryo eryesigamiziddwa ku Baibuli ery’obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda olunaabaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Obulamu buliba butya okumanya okukwata ku Katonda bwe kulijjula ensi?
OLUVANNYUMA LWA KALUMAGEDONI —OLUSUKU LWA KATONDA KU NSI
6. Kalumagedoni kye ki, era kinaategeeza ki eri abantu?
6 Nga bwe kyalagibwa emabegako, mangu Yakuwa Katonda ajja kuzikiriza embeera embi ez’ebintu eziriwo. Ensi egenda esemberera mangu nnyo ekyo Baibuli ky’eyita Kalu–Magedoni, oba Kalumagedoni. Ekigambo ekyo kiyinza okuleetera abantu abamu okulowooza ku nnamuzisa w’amaanyi ga nukuliya aleeteddwa amawanga agalwanagana, naye Kalumagedoni wa njawulo nnyo ku ekyo. Nga Okubikkulirwa 16:14-16 bwe walaga, Kalumagedoni lwe ‘lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.’ Lwe lutalo oluzingiramu “bakabaka b’ensi zonna,” oba amawanga gonna. Mangu, Omwana wa Yakuwa Katonda, Kabaka eyateekebwawo, ajja kutabaala. Ebinaavaamu bikakafu ddala. Abo bonna abawakanya Obwakabaka bwa Katonda era abali ekitundu ky’embeera embi eza Setaani bajja kusaanyizibwawo. Abo bokka abeesigwa eri Yakuwa be bajja okuwonawo.—Okubikkulirwa 7:9, 14; 19:11-21.
7. Setaani ne balubaale be balibeera ludda wa mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo, era kino kirireeta miganyulo ki eri abantu?
7 Kiteebereze nti owonyeewo ku kuzikirizibwa okwo. Obulamu bwandibadde butya ku nsi mu nsi eyo empya Katonda gy’asuubiza? (2 Peetero 3:13) Tekitwetaagisa kuteebereza, kubanga Baibuli etubuulira, era by’etubuulira bisanyusa nnyo. Tuyiga nti Setaani ne balubaale be bajja kuggibwako obuyinza bwonna bwe balina, basibirwe mu bunnya obutakoma obutabaako kintu kyonna kye bakola mu kiseera eky’Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Yesu Kristo. Ebitonde ebyo ebibi era eby’ettima ennyo tebijja kubaawo nga bwe biri kati nga byekwekeredde, nga bitusiikuulira emitawaana era n’okugezaako okutusuula mu bikolwa eby’obutali bwesigwa eri Katonda. Nga bujja kuba buweerero bwa maanyi!—Okubikkulirwa 20:1-3.
8, 9. Mu nsi empya, kiki ekirituuka ku bulumi, obulwadde n’okukaddiwa?
8 Ekiseera kijja kutuuka, endwadde zonna ziggweewo. (Isaaya 33:24) Abalema bajja kuyimirira, batambule, badduke, era bazine n’amazina nga bayimiridde ku magulu gaabwe amalamu obulungi. Bakiggala abamaze emyaka n’emyaka nga tebalina kantu konna ke bawulira, bajja kuwulira amaloboozi agasanyusa. Ate bamuzibe bajja kwewuunya nnyo nga balaba langi ez’enjawulo n’ebintu bwe bifaanana. (Isaaya 35:5, 6) Balirwaddaaki ne bakuba ekimunye ku baagalwa baabwe! Mpozzi amaaso gaabwe galijjako ekifu kitono okumala kaseera katono olw’amaziga ag’essanyu.
9 Ggwe kirowoozeeko! Waliba tewakyali galubindi, tewakyali miggo gyeyambisibwa mu kutambula, tewakyali ddagala, yadde eddwaliro lyonna! Endwadde ez’enneewulira ez’omunda n’obwennyamivu tebiriddayo nate kumalako bantu ssanyu. Abaana tebaliddamu kuzziŋŋama lwa ndwadde. Byonna ebireetebwa okukaddiwa bijja kujjululwa. (Yobu 33:25) Tujja kuba n’obulamu obusingako obulungi, era n’amaanyi agasingawo. Buli nkya tujja kuzuukukanga ng’amaanyi gaffe gazziddwa buggya era nga twesunga olunaku oluppya olw’obulamu obw’essanyu n’emirimu egimatiza.
10. Mulimu ki abanaawonawo ku Kalumagedoni gwe bajja okukola?
10 Wajja kubaawo emirimu mingi egisanyusa egy’okukolebwa abo abanaawonawo ku Kalumagedoni. Bajja kufuula ensi olusuku lwa Katonda. Ebinaaba bisigalidde byonna eby’embeera zino enkadde ennyonoonefu bijja kwerulwawo. Zipaaka n’ennimiro ennungi bye bijja okudda mu bifo awaalinga obuyumba obubi obufuutiike awamu n’ettaka eryayonoonebwa. Bonna bajja kuba n’ennyumba ennungi ezeeyagaza. (Isaaya 65:21) Ekiseera bwe kirigenda kiyitawo, ebitundu ebyo eby’ensi ebiriba bifuuliddwa olusuku lwa Katonda bijja kugaziwa era byegattegatte wamu okutuuka ensi yonna lw’eneetuuka ku mutindo gw’obulungi Omutonzi gwe yateekawo emabega eri mu lusuku Adeni. Nga kijja kituleetera essanyu lingi nnyo okwenyigira mu mulimu ogwo ogw’okulongoosa!
11. Abantu banaaba na nkolagana ki mu biseera eby’omu maaso n’obutonde obubeetoolodde ku nsi era n’ensolo?
11 Bino byonna bijja kukolebwa wansi w’obulagirizi bwa Katonda waleme kubaawo kya kabi kyonna kikolebwa ku butonde obutwetoolodde. Abantu bajja kubeera mu mirembe n’ensolo. Mu kifo ky’okumala gatta nsolo, abantu bajja kuddamu okukozesa obulungi obuvunaanyizibwa obwabaweebwa obw’okulabirira ensi, bazirabirire bulungi. Kuba akafaananyi emisege n’obuliga, empologoma n’obuyana, nga biriira wamu—era ng’ensolo ezo ezikuumirwa awaka teziri mu kabi konna. N’omwana omuto talitya nsolo za mu nsiko, era n’obutebenkevu bw’ensi empya tebulyonoonebwa bantu bakambwe, abatemu. (Isaaya 11:6-8) Nga ensi empya ejja kuba ya mirembe!
OLULYO LW’OMUNTU LUKYUSIDDWA
12. Isaaya 11:9 lutuukirizibwa lutya leero, era lulituukirizibwa lutya mu Lusuku lwa Katonda?
12 Isaaya 11:9 lutubuulira ensonga lwaki tewaliba kabi konna kalikolebwa mu nsi yonna. Lugamba: “Ensi yonna erijjula okumanya Mukama ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” Kino kikwata ku bantu kubanga ensolo tezisobola kufuna ‘kumanya okukwata ku Yakuwa’ na kukola nkyukakyuka, okuva bwe zitasobola kulowooza. Naye okumanya okukwata ku Mutonzi waffe kukyusa abantu. Tewali kubuusabuusa, ggwe kennyini, omaze okukola enkyukakyuka olw’okukozesa okumanya okukwata ku Katonda mu bulamu bwo. Bukadde na bukadde bakoze bwe batyo. N’olw’ensonga eyo, obunnabbi buno butandise okutuukirira mu abo abaweereza Yakuwa. Kyokka era, busonga ku kiseera abantu mu nsi yonna lwe banneggirako ddala engeri zonna eziringa ez’ensolo oba ez’ettemu ne bafuuka ba mirembe olubeerera.
13. Nteekateeka ki ey’eby’enjigiriza ejja okubaawo ku nsi?
13 Nga kijja kuba kiyitirivu obulungi okumanya okukwata ku Katonda bwe kunajjula ensi yonna! Wajja kubaawo enteekateeka ey’eby’enjigiriza wansi w’obulagirizi bwa Kabaka Yesu Kristo ne 144,000 abanaafuga naye. Wajja kubaawo “ebitabo” ebippya mu kiseera ekyo. Kya lwatu bino bijja kuba biragiro bya Katonda ebiri mu buwandiike ebijja okukozesebwa okuyigiriza abatuula mu nsi. (Okubikkulirwa 20:12) Abantu bajja kuyiga mirembe, so si kulwana. Eby’okulwanyisa byonna bijja kuviirawo ddala. (Zabbuli 46:9) Abatuuze b’omu nsi empya bajja kuyigirizibwa okuyisanga bantu bannaabwe mu ngeri ey’okwagala, ebawa ekitiibwa, era ebatwala okuba ab’omuwendo.
14. Ensi eriba ya njawulo etya ng’olulyo lw’omuntu lufuuse maka gamu agali obumu?
14 Olulyo lw’omuntu lujja kufuuka maka gamu agali obumu. Tewajja kubaawo nkonge yonna eri obumu n’oluganda. (Zabbuli 133:1-3) Tewaliba alyetaaga kusiba nnyumba ye olw’okutya ababbi. Emirembe gijja kubeera mu buli mutima, mu buli nnyumba, mu buli kitundu kyonna eky’oku nsi.—Mikka 4:4.
OKUZUUKIRA OKW’ESSANYU
15. Bibinja ki ebibiri ebijja okuzuukizibwa ku nsi?
15 Mu kiseera ekyo eky’Emyaka Olukumi, mujja kubaamu okuzuukira. Abo abayonoona mu bugenderevu eri omwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi ge agakola, nga bagugubira mu bikolwa ebikontana n’ebyo omwoyo gwe bye gwoleka oba obulagirizi bwe guwa tebalizuukizibwa. (Matayo 23:15, 33; Abaebbulaniya 6:4-6) Kya lwatu, Katonda y’ajja okusalawo baani abaayonoona mu ngeri eyo. Naye ng’ebibinja bibiri ebyawufu bijja kuzuukizibwa—“abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Okuva bwe wajja okubaawo enteekateeka ennungi, kya nsonga okusalawo nti abanaasooka okwanirizibwa nate mu bulamu ku nsi be batuukirivu, abo abaaweereza Yakuwa n’obwesigwa.—Abaebbulaniya 11:35-39.
16. (a) Baani abajja okuba mu ‘batuukirivu’ abalizuukizibwa ku nsi? (b) Beesigwa ki ab’omu biseera eby’edda be wandyagadde okusisinkana, era lwaki?
16 Mu kifo ky’okuwulira amawulire agakwata ku ntalo, obutyabaga, n’okufa, abaweereza ba Yakuwa bajja kufuna alipoota ez’essanyu ezikwata ku kuzuukira. Kijja kuba kya ssanyu lya nsusso okuwulira nti abasajja n’abakazi abeesigwa nga Abeeri, Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Yobu, Musa, Lakabu, Luusi, Dawudi, Eriya, ne Eseza bazuukiziddwa. Nga bajja kutumanyisa ebyafaayo bingi ebibuguumiriza nga bannyonnyola kalonda yenna akwata ku ebyo Baibuli by’eyogerako! Tewali kubuusabuusa, bo era n’abatuukirivu abalala abafudde mu myaka egyakayita bajja kwagala nnyo okumanya ku bikwata ku nkomerero y’enteekateeka ya Setaani era n’engeri Yakuwa gye yatukuzaamu erinnya lye era n’alagira ddala obutuufu bw’obufuzi bwe.
17. Buyambi ki abeesigwa bwe bajja okuwa abalala abalizuukizibwa?
17 Abeesigwa bano nga bajja kukola omulimu gwa mugaso nnyo mu kitundu ekiddirira eky’okuzuukizibwa, nga obuwumbi n’obuwumbi bwa “abatali batuukirivu” basumululwa mu kufa! Abantu abasinga obungi tebaafuna mukisa kumanya Yakuwa. Setaani yali ‘abazibye amaaso g’ebirowoozo byabwe.’ (2 Abakkolinso 4:4) Naye omulimu gw’Omulyolyomi gujja kujjululwa. Abatali batuukirivu bajja kukomawo ku nsi erabika obulungi ennyo era ey’emirembe. Bajja kwanirizibwa abantu abategekeddwa obulungi abajja okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we afuga, Yesu Kristo. Ng’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abazuukiziddwa beeyongera okumanya n’okwagala Omutonzi waabwe, okumanya okukwata ku Yakuwa kujja kujjula ensi mu ngeri eterabwangako.
18. Ggwe olowooza oliwulira otya ng’oyaniriza abaagalwa abalizuukizibwa?
18 Ng’okuzuukira kujja kuleeta essanyu lingi nnyo mu mitima gyaffe! Ani atawulirangako bulumi olw’omulabe waffe kufa? Ddala, ani atawulirangako kunyolwa kwa maanyi enkolagana ey’okwagala oba ey’omukwano gye yalina bwe yasattululwa
ng’obulwadde, obukadde, akabenje, oba ettemu litutte obulamu bw’omwagalwa we? Kale nno, teeberezaamu essanyu erinaabaawo abantu abaali baawukanye olw’okufa bwe banaasisinkana nate mu Lusuku lwa Katonda. Bamaama ne bataata, abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala, ab’emikwano n’ab’eŋŋanda, bajja kugwaŋŋana mu bifuba, nga baseka era nga bakaaba amaziga olw’essanyu.OBUTUUKIRIVU BULUDDE DDAAKI NE BUTUUKA!
19. Kya magero ki ekijja okubaawo mu Myaka Olukumi?
19 Mu bbanga eryo lyonna ery’Emyaka Olukumi, ekyamagero eky’ekitalo kijja kuba kigenda mu maaso. Eri abantu, oboolyawo kino kye kijja okuba ekintu ekisingirayo ddala okubuguumiriza mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Yakuwa ajja kulagira Omwana we okukozesa emiganyulo gya ssaddaaka ey’ekinunulo ku buli musajja n’omukazi yenna omuwulize. Mu ngeri eyo, ekibi kijja kuggibwawo era olulyo lw’omuntu lujja kukomezebwawo ku butuukirivu.—1 Yokaana 2:2; Okubikkulirwa 21:1-4.
20. (a) Kiritegeeza ki okuba atuukiridde? (b) Abaliwonawo ku Kalumagedoni n’abo abalizuukizibwa balibeera ddi abalamu mu makulu amajjuvu ddala?
20 Obutuukirivu! Kinaategeeza ki? Kijja kutegeeza okukomawo mu bulamu Adamu ne Kaawa bwe baalina nga tebannayonoona eri Yakuwa Katonda. Mu mubiri, mu birowoozo, mu nneewulira ez’omunda, mu by’empisa, mu by’omwoyo—mu buli ngeri yonna gy’oyinza okulowoozaako—abantu abatuukiridde bajja kutuukanira ddala mu bujjuvu n’emitindo gya Katonda. Naye olwo abantu bonna baliba bafaanana? Nedda! Ebitonde bya Yakuwa—emiti, ebimuli, ensolo—byonna bituyigiriza nti ayagala ebintu okuba eby’enjawulo. Abantu abatuukiridde bajja kuba n’engeri za njawulo era n’ebirabo bya njawulo. Buli omu ajja kunyumirwa obulamu nga Katonda bwe yabugenderera okuba. Okubikkulirwa 20:5 lugamba: “Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa.” Okufaananako ab’ekibiina ekinene abaliwonawo ku Kalumagedoni, abalizuukizibwa balifuuka abalamu mu bujjuvu nga bamaze okutuuka ku butuukirivu obutaliiko bbala lyonna ery’ekibi.
21. (a) Kiki ekiribaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi? (b) Mu nkomerero, kiki ekirituuka ku Setaani n’abo bonna abamuwagira?
21 Abantu abatuukiridde bajja kwolekera ekigezo kimu eky’enkomerero. Ku nkomerero y’Emyaka Olukumi, Setaani ne balubaale be bajja kusumululwa mu bunnya obutakoma okumala akaseera katono era bajja kukkirizibwa okukola kaweefube akomererayo okukyusa abantu okubaggya ku Yakuwa. Abantu abamu bajja kukulembeza okwegomba okukyamu mu kifo ky’okwagala Katonda, naye obujeemu buno bujja kusalibwako mangu. Yakuwa ajja kuzikiriza abeerowoozaako bokka bano awamu ne Setaani ne balubaale be bonna. Abakozi b’obubi bonna bajja kuba baviiriddewo ddala emirembe gyonna.—ONOOKOLA OTYA?
22. Weesunga kukola bintu ki mu Lusuku lwa Katonda?
22 Ekiseera eky’emirembe n’emirembe kiriba mu maaso g’abo abaagala Yakuwa Katonda abalibeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Balibeera n’essanyu lya kitalo, era naawe oyinza okulituukako. Ennyimba, okusiiga ebifaananyi, okukola eby’emikono—ddala ddala, buli kimu abantu abatuukiridde kye balikola kiriba kisingira wala nnyo ebintu eby’ekitalo ebikoleddwa bakakensa ab’omu nsi enkadde! Anti, abantu baliba batuukiridde era nga balina ebiseera ebitaliiko kkomo. Teebereza by’olisobola okukola ng’omuntu atuukiridde. Lowooza ate, ku ebyo ggwe ne bantu banno bye muliyiga ku bitonde bya Yakuwa—okuva ku buwumbi n’obuwumbi bw’ebibinja by’emmunyeenye okutuuka ku buntu obusingirayo ddala okuba obusirikitu. Buli kimu omuntu ky’alituukako kiryongera kusanyusa mutima gwa Kitaffe omwagazi ali mu ggulu, Yakuwa.—Zabbuli 150:1-6.
23. Lwaki obulamu mu Lusuku lwa Katonda tebugenda kukooyesa?
23 Mu kiseera ekyo, obulamu buliba tebukooyesa. Ebiseera gye birikoma okweyongera n’obulamu gye bujja okweyongera okusanyusa. Anti, tewali kkomo ku kumanya okukwata ku Katonda. (Abaruumi 11:33) Emirembe n’emirembe, wajja kubaawo ebirala eby’okuyiga era n’eby’okuvumbula ebippya. (Omubuulizi 3:11) Era nga bwe weeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda, ojja kweyongera okuba omulamu—si myaka mitono, naye emirembe n’emirembe!—Zabbuli 22:26.
24, 25. Lwaki osaanidde okutambuliza obulamu bwo kati ku kumanya okukwata ku Katonda?
24 Ebiseera ebyo eby’omu maaso eby’essanyu mu lusuku lwa Katonda ku nsi tebigwana kufuba kwonna oba okwefiiriza kwonna kw’okola? Awatali kubuusabuusa kyo bwe kiri! Yakuwa akuwadde ekisumuluzo ekikuggulirawo ebiseera eby’omu maaso ebiyitirivu obulungi. Ekisumuluzo ekyo kwe kumanya okukwata ku Katonda. Onookikozesa?
25 Singa oyagala Yakuwa, ojja kufuna essanyu mu kukola by’ayagala. (1 Yokaana 5:3) Bw’onookola bw’otyo, ng’ojja kufuna emikisa mingi nnyo! Singa okozesa okumanya okukwata ku Katonda, kiyinza okukuleetera obulamu obusingawo okuba obw’essanyu wadde ng’oli mu nsi eno ejjudde emitawaana. Ate emikisa mingi nnyo egiri mu biseera eby’omu maaso, kubanga kuno kwe kumanya okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo! Kino kye kiseera ekisaana okubaako ky’okola. Ba mumalirivu okutambuliza obulamu bwo ku kumanya okukwata ku Katonda. Laga okwagala kw’olina eri Yakuwa. Wa erinnya lye ettukuvu ekitiibwa olage nti Setaani mulimba. Ne Yakuwa Katonda, Ensibuko y’amagezi ag’amazima n’okumanya, ajja kukusanyukira mu mutima gwe ogujjudde okwagala. (Yeremiya 31:3; Zeffaniya 3:17) Era ajja kukwagala emirembe n’emirembe!
GEZESA OKUMANYA KWO
“Obulamu ddala ddala” bwe buluwa?
Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, kiki ekijja okubaawo ku nsi?
Baani abajja okuzuukizibwa okubeera ku nsi?
Abantu balifuuka batya abatuukiridde era baligezesebwa batya ku nkomerero?
Olina ssuubi ki ku bikwata ku Lusuku lwa Katonda?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 188, 189]
Osuubira okubeera mu Lusuku lwa Katonda, okumanya okukwata ku Katonda bwe kulijjula ensi?