Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

Essuula 6

Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?

1. Kiki bannasayansi kye balemeddwa okunnyonnyola ku bikwata ku bulamu bw’omuntu?

BANNASAYANSI tebamanyi lwaki abantu bakaddiwa ne bafa. Kirabika nti obutofaali obukola emibiri gyaffe bwandibadde bweyongera okwezza obuggya era nga twandibadde balamu emirembe gyonna. Ekitabo Hyojun Soshikigaku (Essomo ly’Obutundu bw’Omubiri Obusirikitu) kigamba: “Tekitegeerekeka n’akamu engeri okukaddiwa kw’obutofaali obukola omubiri gye kukwataganamu n’okukaddiwa era n’okufa kw’omuntu.” Bannasayansi bangi bakkiriza nti waliwo ekkomo ly’obulamu “ery’obuzaaliranwa, eryatukolerwamu.” Ggwe olowooza batuufu?

2. Kiki abamu kye bakoze olw’okubeera ng’obulamu bwa kaseera buseera?

2 Abantu ebiseera byonna bayaayaanira kuwangaala era bagezezzaako n’okulaba nti tebafa. Okuva mu kyasa eky’okuna B.C.E., eddagala eryakolebwa nga lirowoozebwa nti liyinza okusobozesa omuntu obutafa lyasikiriza nnyo abakungu mu China. Abafuzi abakulu aba China abaddawo oluvannyuma beekatankira ebyo ebyayitibwanga ebirungo by’obulamu—ebyakolebwanga mu mercury—ne bafa! Okwetooloola ensi, abantu bakkiriza nti okufa si ye nkomerero y’okubeerawo kwabwe. Abasinza ba Buddha, Abahindu, Abasiraamu, era n’abalala, bonna balina essuubi lya maanyi nnyo mu bulamu oluvannyuma lw’okufa. Mu Kristendomu, bangi balowooleza mu bulamu obw’oluvannyuma obw’okwesiima mu ggulu.

3. (a) Lwaki abantu bayaayaanira obulamu obutaggwaawo? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku kufa ebyetaaga okuddibwamu?

3 Endowooza ezikwata ku ssanyu oluvannyuma lw’okufa zooleka nga bwe waliwo okuyaayaanira obulamu obutaggwaawo. “Atadde ekiseera ekitaggwaawo mu mitima gyabwe,” bw’etyo Baibuli bw’egamba ku bikwata ku kirowoozo ky’obulamu obutaggwaawo Katonda kye yatuteekamu. (Omubuulizi 3:11, NW ) Yatonda abantu abaasooka nga balina essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna ku nsi. (Olubereberye 2:16, 17) Kati olwo, lwaki abantu bafa? Okufa kwayingira kutya mu nsi? Okumanya okuva eri Katonda kutuwa ekitangaala ku bikwata ku bibuuzo bino.—Zabbuli 119:105.

OLUKWE OLUBI

4. Yesu yayatuukiriza atya omumenyi w’amateeka avunaanyizibwa olw’okufa kw’abantu?

4 Omumenyi w’amateeka agezaako okukweka obujulizi. N’oyo avunaanyizibwa ekikolwa eky’obumenyi bw’amateeka ekiviiriddeko obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu okufa bw’akoze. Alina by’akoze okufa kw’abantu kusigale nga tekutegeerekeka. Yesu Kristo yayatuukiriza omumenyi w’amateeka ono bwe yagamba abo abaali banoonya okumutta: “Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye.”—Yokaana 8:31, 40, 44.

5. (a) Oyo eyafuuka Setaani Omulyolyomi yava wa? (b) Ebigambo “Setaani” ne “Omulyolyomi” bitegeeza ki?

5 Yee, Omulyolyomi “mussi” wa ttima nnyo. Baibuli eraga nti muntu wa ddala, so si bubi obuba mu mutima gw’omuntu. (Matayo 4:1-11) Newakubadde yatondebwa nga malayika mutuukirivu, “teyanywerera mu mazima.” Nga kisaanira ddala okuba nti ayitibwa erinnya Setaani Omulyolyomi! (Okubikkulirwa 12:9) Ayitibwa “Setaani,” oba “omuziyiza,” kubanga awakanyizza era n’aziyiza Yakuwa. Omumenyi w’amateeka ono era ayitibwa “Omulyolyomi,” ekitegeeza “omuwaayiriza,” kubanga avodde Katonda ng’amwogerako eby’obulimba.

6. Lwaki Setaani yajeemera Katonda?

6 Kiki ekyaleetera Setaani okujeemera Katonda? Mululu. Olw’omululu omungi, yeegomba okuweebwa okusinza abantu kwe baali bawa Yakuwa. Omulyolyomi teyeggyamu kwegomba okwo okw’okusinzibwa, okwalina okuweebwa Omutonzi yekka. (Geraageranya Ezeekyeri 28:12-19.) Mu kifo ky’ekyo, malayika oyo eyafuuka Setaani yakulaakulanya okwegomba kuno okw’omululu okutuusa lwe kwazaala ekibi.—Yakobo 1:14, 15.

7. (a) Kiki ekireetera abantu okufa? (b) Ekibi kye ki?

7 Tumaze okutegeera oyo eyakola ekikolwa eky’obumenyi bw’amateeka ekyaviirako abantu okufa. Naye kiki kyennyini ekireetera abantu okufa? Baibuli egamba: “Okuluma okuzaala okufa kye kibi.” (1 Abakkolinso 15:56, NW ) Kati ekibi kye ki? Okusobola okutegeera ekigambo kino, ka twekenneenye amakulu gaakyo mu nnimi ezaasooka eza Baibuli. Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebitera okukyusibwa nga “okwonoona” bitegeeza “okusubwa,” amakulu nti obutatuuka ku kiruubirirwa oba ekigendererwa. Kiruubirirwa ki ffenna kye tutatuuseeko? Ekiruubirirwa eky’obuwulize obutuukiridde eri Katonda. Naye, ekibi kyaleetebwa kitya mu nsi?

ENGERI OLUKWE GYE LWATEEKEBWA MU NKOLA

8. Setaani yagezaako atya okuleetera abantu okumusinza?

8 Setaani yakola olukwe lwe yalowooza nti lwandimutuusizza ku kufuga abantu bonna era n’okuba nga basinza ye. Yasalawo okusendasenda abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, okwonoona mu maaso ga Katonda. Yakuwa yali awadde bazadde baffe abaasooka okumanya okwandibatuusizza mu bulamu obutaggwaawo. Baali bamanyi nti Omutonzi waabwe yali mulungi kubanga yali abatadde mu lusuku olulungi olw’e Adeni. Adamu yalabira ddala obulungi bwa Kitaawe ow’omu ggulu Katonda bwe yamuwa omukazi alabika obulungi ennyo ow’okumuyamba. (Olubereberye 1:26, 29; 2:7-9, 18-23) Obulamu bw’abantu ababiri abaasooka okusobola okweyongera okubaawo kyali kyesigamye ku buwulize eri Katonda.

9. Kiragiro ki Katonda kye yawa omuntu eyasooka, era lwaki kyali kisaanira?

9 Katonda yalagira Adamu: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Olubereberye 2:16, 17) Ng’Omutonzi, Yakuwa Katonda yalina obwannannyini obw’okuteekawo emitindo gy’empisa n’okutegeeza ebitonde bye ekirungi n’ekibi. Ekiragiro kye kyali kisaanira kubanga Adamu ne Kaawa baali ba ddembe okulya ebibala eby’oku miti emirala gyonna egyali mu lusuku. Bandisobodde okulaga okusiima kwabwe eri obufuzi bwa Yakuwa obugwanidde nga bagondera etteeka lino, so si kwekulumbaza ne beeteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe.

10. (a) Setaani yatuukirira atya abantu asobole okubazza ku ludda lwe? (b) Biruubirirwa ki Setaani bye yalimbika ku Yakuwa? (c) Ggwe olowooza ki ku ebyo Setaani bye yawaayiriza Katonda?

10 Omulyolyomi yasala amagezi aggye abantu ababereberye ku Katonda. Okusobola okubasendasenda badde ku ludda lwe, Setaani yalimba. Nga yeeyambisa omusota, ng’omukugu mu kukyusakyusa amaloboozi bw’ayinza okulabisa ekifaananyi ng’ekyogera, Omulyolyomi yabuuza Kaawa: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Kaawa bwe yajuliza ekiragiro kya Katonda, Setaani yagamba: “Okufa temulifa.” Awo n’alimbika ebiruubirirwa ebibi ku Yakuwa ng’agamba nti: “Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” (Olubereberye 3:1-5) Mu ngeri eyo Omulyolyomi yabawa endowooza nti waaliwo ekintu ekirungi Katonda kye yali abammye. Nga kwali kuwaayiriza kwa maanyi nnyo eri Kitaffe ali mu ggulu, ow’amazima era ow’okwagala, Yakuwa!

11. Adamu ne Kaawa baafuuka batya banne ba Setaani mu lukwe lwe?

11 Kaawa yatunuulira omuti nate, era ebibala byagwo ne birabika nga bisikiriza nnyo. Bw’atyo n’anogako ekibala n’alya. Oluvannyumako, bbaawe yamwegattako mu kikolwa kino ekibi eky’okujeemera Katonda mu bugenderevu. (Olubereberye 3:6) Wadde nga Kaawa yalimbibwa, ye ne Adamu, bombi baawagira olukwe lwa Setaani olw’okufuga olulyo lw’abantu. Mu butuufu, baafuuka banne mu lukwe luno.—Abaruumi 6:16; 1 Timoseewo 2:14.

12. Abantu okujeemera Katonda kyavaamu ki?

12 Adamu ne Kaawa baalina okwolekana n’ebyava mu bikolwa byabwe. Tebaafuuka nga Katonda, okuba n’okumanya okw’enjawulo. Mu kifo ky’ekyo, ensonyi zaabakwata ne beekweka. Yakuwa yavunaana Adamu omusango era n’amusalira ekibonerezo kino: “Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) “Olunaku” bazadde baffe abaasooka lwe baalya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, Katonda yabasalira omusango era mu maaso ge baali bafu. Awo ne bagobebwa mu Lusuku lwa Katonda era ne batandika okuddirira okutuusiza ddala lwe baafa.

ENGERI EKIBI N’OKUFA GYE BYASAASAANAMU

13. Ekibi kyasaasaanira kitya olulyo lw’omuntu lwonna?

13 Olukwe lwa Setaani olw’okusinzibwa abantu lwalabika nga olwali lukoze. Kyokka, yali tayinza kukuuma basinza be nga balamu. Ekibi bwe kyatandika okukolera mu bantu ababiri abaasooka, baali tebakyasobola kutuusa butuukirivu ku baana baabwe. Ng’ebigambo ebyoleddwa ku jjinja, ekibi kyali kyoleddwa munda ddala mu biwandiiko eby’ensikirano ebyali mu bazadde baffe abaasooka. Bwe kityo, baali basobola kuzaala baana batatuukiridde bokka. Olw’okuba abaana baabwe bonna baazaalibwa nga Adamu ne Kaawa bamaze kwonoona, abaana baabwe abo baasikira ekibi n’okufa.—Zabbuli 51:5; Abaruumi 5:12.

14. (a) Abo abagaana ekibi kye balina tuyinza kubafaananya ani? (b) Abaisiraeri bamanyisibwa batya obwonoonyi bwabwe?

14 Kyokka, ennaku zino, bangi tebakkiriza nti boonoonyi. Mu bitundu ebimu eby’ensi, enjigiriza ey’ekibi ekisikire okutwalira awamu temanyiddwa. Naye obwo tebuba bukakafu nti ekibi tekiriiwo. Omulenzi omucaafu mu maaso, ku lulwe ayinza okugamba nti atukula, era ayinza n’obutakikkiriza ddala okutuusa ng’amaze kweraba mu ndabirwamu. Abaisiraeri ab’edda baali ng’omulenzi oyo we baafunira Amateeka ga Katonda okuyitira mu nnabbi We Musa. Amateeka gaakiraga lwatu nti ekibi kyali weekiri. “Ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yannyonnyola. (Abaruumi 7:7-12) Ng’omulenzi eyeerabye mu ndabirwamu, Abaisiraeri baasobola okulaba nga tebaali balongoofu mu maaso ga Yakuwa, nga beeyambisa Amateeka okwetunuulira.

15. Kiki kye tulaba bwe tutunula mu ndabirwamu ey’Ekigambo kya Katonda?

15 Bwe tutunula mu ndabirwamu ey’Ekigambo kya Katonda ne twetegereza emitindo gyakyo, tusobola okulaba nti tetutuukiridde. (Yakobo 1:23-25) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yesu Kristo kye yagamba abayigirizwa be ku bikwata ku kwagala Katonda ne muliraanwa waabwe, nga bwe kiri mu Matayo 22:37-40. Emirundi nga mingi abantu gye balemwa okutuuka ku kiruubirirwa ekyo! Bangi tebawulira kulumirizibwa kwonna mu muntu waabwe ow’omunda olw’okulemwa okulaga Katonda oba baliraanwa baabwe okwagala.—Lukka 10:29-37.

WEEKUUME OBUKODYO BWA SETAANI!

16. Kiki kye tuyinza okukola okwewala okutwalibwa obukodyo bwa Setaani, era lwaki kino kizibu?

16 Setaani agezaako nnyo okutuleetera okukola ekibi mu bugenderevu. (1 Yokaana 3:8) Waliwo engeri yonna gye tuyinza okwewalamu okutwalibwa obukodyo bwe? Yee, naye kino kitwetaagisa okulwanyisa okwekubiira eri okukola ekibi mu bugenderevu. Kino si kyangu kubanga okwekubiira eri ekibi kwe tuzaalibwa nakwo kwa maanyi nnyo. (Abeefeso 2:3) Pawulo yalina kulwana na maanyi. Lwaki? Kubanga ekibi kyali kitudde mu ye. Singa twagala okusiimibwa Katonda, naffe tuteekwa okulwanyisa okwekubiira eri ekibi okuli mu ffe.—Abaruumi 7:14-24; 2 Abakkolinso 5:10.

17. Kiki ekyongera okukalubya olutalo olw’okulwanyisa engeri zaffe ez’ekibi?

17 Okuva Setaani bw’ali nti buli kiseera anoonya kakisa ka kutusendasenda kumenya mateeka ga Katonda, olutalo lwe tuliko olw’okulwanyisa ekibi si lwangu. (1 Peetero 5:8) Ng’alaga bwe yali afaayo ku Bakristaayo banne, Pawulo yagamba: “Naye ntidde, ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.” (2 Abakkolinso 11:3) Setaani akozesa obukodyo obufaananako leero. Agezaako okusiga ensigo ez’okubuusabuusa ku bikwata ku bulungi bwa Yakuwa n’emiganyulo egiva mu kugondera amateeka ga Katonda. Omulyolyomi agezaako okweyambisa engeri z’ekibi ze twasikira atuleetere okugoberera ekkubo ery’amalala, omululu, obukyayi, n’okwekubiira.

18. Setaani akozesa atya ensi okukuliriza ekibi?

18 Ekimu ku ebyo Omulyolyomi by’akozesa okutulemesa ye nsi, eri mu buyinza bwe. (1 Yokaana 5:19) Singa tetwegendereza, abantu ab’empisa ennyonoonefu era abatali ba mazima ab’omu nsi eno bajja kutuwaliriza okugoberera ekkubo ery’okwonoona erikontana n’emitindo gya Katonda egy’empisa. (1 Peetero 4:3-5) Bangi tebafaayo ku mateeka ga Katonda era bagaana n’okuwuliriza omuntu waabwe ow’omunda ky’abagamba, ne bamuleetera okufiira ddala. (Abaruumi 2:14, 15; 1 Timoseewo 4:1, 2) Abamu batandika mpolampola okugoberera ekkubo omuntu waabwe ow’omunda atatuukiridde lye yali tabakkiriza kugoberera emabegako.—Abaruumi 1:24-32; Abeefeso 4:17-19.

19. Lwaki tekimala okubeera obubeezi n’empisa ennungi?

19 Okubeera n’empisa ennungi kibeera kya buwanguzi mu nsi eno. Kyokka, ekisingawo ku ekyo kyetaagibwa okusobola okusanyusa Omutonzi waffe. Tuteekwa okukkiririza mu Katonda n’okuwulira nga tuvunaanyizibwa gy’ali. (Abaebbulaniya 11:6) “Amanya okukola obulungi n’atakola, kye kibi eri oyo,” bwe yawandiika omuyigirizwa Yakobo. (Yakobo 4:17) Yee, obutafaayo ku Katonda n’amateeka ge mu bugenderevu ku bwakyo ngeri ya kibi.

20. Setaani ayinza kugezaako atya okukulemesa okukola ekituufu, naye kiki ekijja okukuyamba okulwanyisa okunyigirizibwa ng’okwo?

20 Setaani ayinza okukuleetera okuziyizibwa oleme okumanya ebikwata ku Katonda ng’oyitira mu kuyiga Baibuli. Kisuubirwa nga tojja kukkiriza kunyigirizibwa ng’okwo kukulemesa kukola kituufu. (Yokaana 16:2) Wadde ng’abafuzi bangi bakkiririza mu Yesu mu kiseera eky’obuweereza bwe, tebaakyatula kubanga baali batya okuboolebwa bannaabwe. (Yokaana 12:42, 43) Setaani n’obukambwe obungi ennyo agezaako okutiisatiisa omuntu yenna anoonya okufuna okumanya okukwata ku Katonda. Kyokka, osaanidde okujjukira era n’okusiima buli kiseera ebintu eby’ekitalo Yakuwa by’akoze. Oyinza n’okutuuka okuyamba abo abakuziyiza ne bafuna okusiima kwe kumu.

21. Tuyinza tutya okuwangula ensi n’engeri zaffe ez’ekibi?

21 Nga tukyali abantu abatatuukiridde, tujja kusobyanga. (1 Yokaana 1:8) Wadde kiri kityo, tulina obuyambi mu kulwana olutalo luno. Yee, kisoboka okutuuka ku buwanguzi mu lutalo olw’okulwanyisa omubi, Setaani Omulyolyomi. (Abaruumi 5:21) Ku nkomerero y’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yakubiriza abagoberezi be n’ebigambo bino: “Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.” (Yokaana 16:33) N’eri abantu abatatuukiridde, kisoboka okuwangula ensi eno n’obuyambi bwa Katonda. Setaani tayinza kukwasa abo abamuziyiza era ‘abagondera Katonda.’ (Yakobo 4:7, NW; 1 Yokaana 5:18) Nga bwe tujja okulaba, Katonda ataddewo ekkubo ery’okufuniramu eddembe okuva mu busibe bw’ekibi n’okufa.

GEZESA OKUMANYA KWO

Setaani Omulyolyomi y’ani?

Lwaki abantu bakaddiwa ne bafa?

Ekibi kye ki?

Setaani atwaliriza atya abantu okwonoona mu maaso ga Katonda mu bugenderevu?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 54]