Yekosofaati Yeesiga Yakuwa
OLUGERO 67
Yekosofaati Yeesiga Yakuwa
OMANYI abasajja bano era ne kye bakola? Bagenda mu lutalo, era abasajja abali mu maaso bayimba. Naye oyinza okubuuza: ‘Lwaki abayimbi tebalina bitala na mafumu eby’okukozesa mu kulwana?’ Ka tulabe.
Yekosofaati ye kabaka w’obwakabaka obw’ebika ebibiri ebya Isiraeri. Abeerawo mu kiseera kye kimu Kabaka Akabu ne Yezeberi ab’omu bwakabaka obw’omu bukiika kkono obw’ebika 10 we baabeererawo. Naye Yekosofaati kabaka mulungi, era ne kitaawe Asa yali kabaka mulungi. Bwe kityo, okumala emyaka mingi abantu b’omu bwakabaka obw’ebika ebibiri obw’omu bukiika ddyo banyumirwa obulamu obulungi.
Naye kati waliwo ekibaawo ekireetera abantu okutya. Ababaka bategeeza Yekosofaati: ‘Eggye eddene okuva mu nsi za Mowaabu, Amoni era n’okuva ku Lusozi Seyiri lijja okukulumba.’ Abaisiraeri bangi bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi okunoonya obuyambi bwa Yakuwa. Bagenda mu yeekaalu, era ng’ali eyo Yekosofaati asaba: ‘Ai Yakuwa Katonda waffe, tetumanyi kya kukola. Tetuyinza n’akamu kulwanyisa ggye lino ddene. Tutunuulidde ggwe okutuwa obuyambi.’
Yakuwa awuliriza, era agamba omu ku baweereza be okutegeeza abantu: ‘Olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda. Tekijja kubeetaagisa kulwana. Mutunule butunuzi, mulabe engeri Yakuwa gy’anaabawonyamu.’
Bwe kityo, enkeera ku makya Yekosofaati agamba abantu: ‘Mwesige Yakuwa!’ Awo n’alyoka ateeka abayimbi mu maaso g’abaserikale be, era nga batambula bagenda bayimba ennyimba ez’okutendereza Yakuwa. Omanyi ekibaawo nga banaatera okutuuka mu kifo awali olutalo? Yakuwa aleetera abaserikale ab’omu ggye ery’abalabe okulwanagana bokka na bokka. Era Abaisiraeri bwe batuukayo, basanga abaserikale bonna ab’omulabe nga bafudde!
Yekosofaati teyali wa magezi okwesiga Yakuwa? Naffe tujja kuba ba magezi singa tumwesiga.
1 Bassekabaka 22:41-53; 2 Ebyomumirembe 20:1-30.