Zabbuli 90:1-17

  • Katonda abeerawo emirembe gyonna naye omuntu abeerawo kaseera buseera

    • Emyaka olukumi giringa olwa jjo (4)

    • Omuntu awangaala emyaka 70 oba 80 (10)

    • “Tuyigirize engeri gye tusaanidde okubalamu ennaku zaffe” (12)

Essaala ya Musa, omusajja wa Katonda ow’amazima.+ 90  Ai Yakuwa, obadde kigo kyaffe*+ mu mirembe gyonna.   Ensozi nga tezinnazaalibwa,Era nga tonnakola nsi n’ebigirimu,+Okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna, ggwe Katonda.+   Ozzaayo omuntu mu nfuufu;Ogamba nti: “Muddeeyo mmwe abaana b’abantu.”+   Mu maaso go emyaka olukumi giringa olwa jjo olwayise,+Giringa ekisisimuka ekimu mu kiro.   Obaggyawo mangu;+ babulawo ng’ekirootoKu makya baba ng’omuddo ogumera.+   Ku makya gumulisa ne gudda buggya,Naye we buwungeerera guba guwotose nga gukaze.+   Obusungu bwo butumalawo.+ N’ekiruyi kyo kitutiisa.   Ensobi zaffe oziteeka mu maaso go;*+Ekitangaala ky’omu maaso go kyanika bye tukola mu kyama.+   Ennaku zaffe zigenda zikendeera* olw’obusungu bwo;Emyaka gyaffe giggwaawo mangu ng’okussa ekikkowe. 10  Tuwangaala emyaka 70,Oba 80,+ omuntu bw’aba omugumu ennyo.* Naye giba gijjudde ebizibu n’ennaku;Giyita mangu ne tubulawo.+ 11  Ani ayinza okumanya amaanyi g’obusungu bwo? Obusungu bwo bwa maanyi ng’okutya kw’ogwanidde okutiibwa.+ 12  Tuyigirize engeri gye tusaanidde okubalamu ennaku zaffe+Tusobole okufuna omutima ogw’amagezi. 13  Komawo, Ai Yakuwa!+ Embeera eno eneemala bbanga ki?+ Saasira abaweereza bo.+ 14  Ku makya tukkuse okwagala kwo okutajjulukuka,+Tusobole okwogerera waggulu n’essanyu era tujaganye+ ennaku zaffe zonna. 15  Tuwe essanyu erituukana n’ennaku z’omaze ng’otulabya ennaku,+Erituukana n’emyaka gye tumaze nga tubonaabona.+ 16  Abaweereza bo ka balabe by’okolaN’abaana baabwe ka balabe obulungi bwo.+ 17  Ekisa kya Yakuwa Katonda waffe ka kitubeereko;Wa emirimu gy’emikono gyaffe omukisa.* Weewaawo, emirimu gy’emikono gyaffe giwe omukisa.*+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “kiddukiro kyaffe.”
Oba, “Omanyi ensobi zaffe.”
Oba, “Obulamu bwaffe buggwaawo.”
Oba, “bw’aba n’amaanyi ag’enjawulo.”
Oba, “Nyweza emirimu gy’emikono gyaffe.”
Oba, “emirimu gy’emikono gyaffe ginyweze.”