Zabbuli 38:1-22
Zabbuli ya Dawudi; ya kujjukiza.
38 Ai Yakuwa, tonnenya ng’oli musunguwavu,Era tongolola ng’oliko ekiruyi.+
2 Obusaale bwo bunfumitidde ddala munda,Era omukono gwo gunnyigiriza.+
3 Omubiri gwange gwonna gulwadde* olw’obusungu bwo.
Mu magumba gange temuli mirembe olw’ekibi kyange.+
4 Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange;+Ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.
5 Ebiwundu byange biwunya era bitanyeOlw’obusirusiru bwange.
6 Nnina ennyiike era ndi mwennyamivu nnyo;Mbeera munakuwavu okuzibya obudde.
7 Munda yange mwokya;*Omubiri gwange gwonna gulwadde.+
8 Nsannyaladde era mmenyesemenyese;Nsinda* olw’obulumi obw’omu mutima gwange.
9 Ai Yakuwa, byonna bye njagala biri mu maaso go,Era okusinda kwange tekukukwekeddwa.
10 Omutima gwange gukuba nnyo era amaanyi gampeddemu.
Ekitangaala ky’amaaso gange kiweddewo.+
11 Bannange ne mikwano gyange banneewala olw’ekirwadde kye nnina,Era banywanyi bange tebasembera we ndi.
12 Abo abanoonya obulamu bwange bantega emitego,Abo abaagala okunkola ekikyamu boogera eby’akabi;+Boogera eby’obulimba okuzibya obudde.
13 Naye okufaananako kiggala, siwuliriza;+Okufaananako omuntu atayogera, siyasamya kamwa kange.+
14 Nfuuse ng’omuntu atawulira,Atalina ky’asobola kwogera okwewozaako.
15 Ai Yakuwa, ggwe gwe nnalindirira,+Era wanziramu, Ai Yakuwa Katonda wange.+
16 Kubanga nnagamba nti: “Ka baleme kusanyukira nnaku yangeWadde okunneekulumbalizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.”
17 Nnabulako katono okugwa,Era nnalinga mu bulumi ekiseera kyonna.+
18 Nnayatula ensobi yange;+Ekibi kyange kyali kinneeraliikiriza.+
19 Abalabe bange balamu era ba maanyi,*Abo abankyawa awatali nsonga beeyongedde obungi.
20 Mu birungi bansasulamu bibi;Bafuuse balabe bange olw’okuba nkola ebirungi.
21 Tonjabulira Ai Yakuwa.
Ai Katonda, tombeera wala.+
22 Yanguwa onnyambe,Ai Yakuwa, obulokozi bwange.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Tewali kitundu kyonna kiramu mu mubiri gwange.”
^ Obut., “Ekiwato kyange kyonna kyokerera.”
^ Oba, “Mpuluguma.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abampalana awatali nsonga bangi.”