Zabbuli 18:1-50
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi omuweereza wa Yakuwa. Oluyimba luno yaluyimbira Yakuwa ku lunaku Yakuwa lwe yamununula mu mukono gw’abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo. Yagamba nti:+
18 Nkwagala nnyo, Ai Yakuwa amaanyi gange.+
2 Yakuwa lwe lwazi lwange era kye kigo kyange; y’annunula.+
Katonda wange lwe lwazi lwange+ mwe nzirukira,Ye ngabo yange era lye jjembe* lyange ery’obulokozi;* kye kiddukiro kyange.+
3 Nkoowoola Yakuwa, oyo agwanidde okutenderezebwa,Era nja kununulibwa mu mukono gw’abalabe bange.+
4 Emiguwa gy’okufa gyanneezingirira;+Abantu abatalina mugaso abalinga mukoka ow’amaanyi bantiisa.+
5 Emiguwa gy’emagombe* gyanneezingirira;Ebyambika by’okufa byanjolekera.+
6 Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,Nnakaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye,+Era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.+
7 Awo ensi n’etandika okukankana n’okuyuuguuma;+Emisingi gy’ensozi ne gikankana,Gyakankana kubanga yali asunguwadde.+
8 Omukka gwava mu nnyindo ze,Omuliro ogusaanyaawo gwava mu kamwa ke;+Amanda agamemuka gaava w’ali.
9 Yassa eggulu ng’akka,+Era ekire ekikutte kyali wansi w’ebigere bye.+
10 Yeebagala kerubi n’ajja ng’abuuka mu bbanga.+
Yakkira ku biwaawaatiro by’ekitonde eky’omwoyo.*+
11 Awo ne yeebikka ekizikiza,+Era yali yeetooloddwaEbire ebikutte era ebijjudde amazzi.+
12 Omuzira n’amanda agaaka byava mu kwakaayakana okwali mu maaso geNe biyita mu bire.
13 Awo Yakuwa n’awuluguma mu ggulu;+Eddoboozi ly’Oyo Asingayo Okuba Waggulu ne liwulirwa,+Ne waba omuzira n’amanda agaaka.
14 Yalasa obusaale bwe n’abasaasaanya;+Yakasuka okumyansa kwe n’abatabulatabula.+
15 Entobo z’emigga zaalabika;+Emisingi gy’ensi gyeyerula olw’okuboggola kwo, Ai Yakuwa,Olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.+
16 Yayima waggulu n’agolola omukono gwe,N’ankwata n’anzigya mu mazzi amawanvu.+
17 Yannunula mu mukono gw’omulabe wange ow’amaanyi,+Yannunula mu mukono gw’abo abatanjagala era abaali bansinga amaanyi.+
18 Bannumba ku lunaku lwe nnali mu buzibu,+Naye Yakuwa yannyamba.
19 Yantwala mu kifo omutali kabi;*Yannunula kubanga yali asiima bye nkola.+
20 Yakuwa ampa empeera okusinziira ku butuukirivu bwange;+Ampa empeera olw’okuba siriiko musango.*+
21 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Yakuwa,Era ekibi eky’okuva ku Katonda wange sikikoze.
22 Amateeka ge gonna gali mu maaso gange;Era ebiragiro bye sijja kubibuusa maaso.
23 Nja kusigala nga siriiko kya kunenyezebwa mu maaso ge,+Era nja kwewala okwonoona.+
24 Yakuwa k’ampe empeera olw’okuba ndi mutuukirivu;+Olw’okuba siriiko musango mu maaso ge.+
25 Eri omwesigwa oba mwesigwa;+Eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa;+
26 Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu,+Naye eri atali mugolokofu olaga nti oli mugezi nnyo.+
27 Olokola abanaku,*+Naye otoowaza ab’amalala.*+
28 Ggwe okoleeza ettaala yange, Ai Yakuwa,Katonda wange afuula ekizikiza kyange ekitangaala.+
29 Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu;+Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.+
30 Ekkubo lya Katonda ow’amazima lyatuukirira;+Ebigambo bya Yakuwa birongoofu.+
Ngabo eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.+
31 Ani Katonda okuggyako Yakuwa?+
Era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?+
32 Katonda ow’amazima y’ampa amaanyi,*+Era ajja kutereereza ddala ekkubo lyange.+
33 Ebigere byange abifuula ng’eby’empeewo;Ansobozesa okuyimirira ku bifo ebigulumivu.+
34 Ayigiriza emikono gyange okulwana entalo;Emikono gyange gisobola okuweta omutego ogw’ekikomo.
35 Ompa engabo yo ey’obulokozi,+Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira,Era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.+
36 Ebigere byange obigaziyiriza ekkubo;Ebigere byange tebijja* kuseerera.+
37 Nja kuwondera abalabe bange mbatuukeko;Sijja kudda okutuusa nga basaanyeewo.
38 Nja kubabetenta baleme okusituka;+Bajja kugwa mbalinnyeko.
39 Ojja kumpa amaanyi nnwane olutalo;Ojja kuleetera abalabe bange okugwa mu maaso gange.+
40 Ojja kuleetera abalabe bange okunziruka;*Abo abankyawa nja kubamalawo.*+
41 Bawanjaga, naye tewali abataasa;Bakaabirira ne Yakuwa, naye tabaddamu.
42 Nja kubasekulasekula babe ng’enfuufu efuumuulibwa empewo;Nja kubakasuka eri ng’ebisooto eby’omu nguudo.
43 Ojja kumponya okwemulugunya kw’abantu.+
Ojja kunnonda okukulembera amawanga.+
Eggwanga lye simanyi lijja kumpeereza.+
44 Bajja kuwulira buwulizi ebinkwatako baŋŋondere;Abagwira bajja kujja gye ndi nga bakankana.+
45 Abagwira bajja kuggwaamu amaanyi;*Bajja kuva mu bigo byabwe bajje nga bakankana.
46 Yakuwa mulamu! Olwazi lwange lutenderezebwe!+
Katonda ow’obulokozi bwange agulumizibwe.+
47 Katonda ow’amazima awoolera eggwanga ku lwange;+Assa amawanga wansi w’obuyinza bwange.
48 Annunula mu mukono gw’abalabe bange abakambwe;Onsitula n’onteeka waggulu w’abo abannwanyisa;+Omponya omuntu akola eby’obukambwe.
49 Kyennaava nkugulumiza mu mawanga, Ai Yakuwa,+Era nnaayimbiranga erinnya lyo ennyimba ez’okutendereza.+
50 Alokola kabaka gwe yalonda;*+Alaga gwe yafukako amafuta okwagala okutajjulukuka,+Akulaga Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ye mulokozi wange ow’amaanyi.”
^ Oba, “ku biwaawaatiro by’embuyaga.”
^ Oba, “mu kifo ekigazi.”
^ Obut., “olw’obulongoofu bw’emikono gyange.”
^ Oba, “ababonaabona.”
^ Obut., “amaaso ag’amalala.”
^ Obut., “y’annyambaza amaanyi.”
^ Oba, “Obukongovule bwange tebujja.”
^ Oba, “Ojja kumpa emigongo gy’abalabe bange.”
^ Obut., “kubasirisa.”
^ Oba, “bajja kuggwaawo mpolampola.”
^ Oba, “Awa kabaka gwe yalonda obuwanguzi obw’amaanyi.”