Zabbuli 146:1-10

  • Weesige Katonda, so si bantu

    • Omuntu bw’afa ebirowoozo bye bisaanawo (4)

    • Katonda ayimusa abo abakutamye (8)

146  Mutendereze Ya!*+ Obulamu bwange bwonna ka butendereze Yakuwa.+   Nja kutendereza Yakuwa obulamu bwange bwonna. Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.   Temwesiganga bafuzi,*Oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola.+   Omukka gwe gumuvaamu, n’addayo mu ttaka;+Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bisaanawo.+   Alina essanyu oyo alina Katonda wa Yakobo ng’omuyambi we,+Oyo asuubirira mu Yakuwa Katonda we,+   Eyakola eggulu n’ensi,N’ennyanja, ne byonna ebibirimu,+Oyo abeera omwesigwa ekiseera kyonna,+   Oyo akakasa nti abakumpanyizibwa balagibwa obwenkanya,Oyo awa abayala emmere.+ Yakuwa asumulula abasibe.+   Yakuwa azibula amaaso ga bamuzibe;+Yakuwa ayimusa abo abakutamye;+Yakuwa ayagala abatuukirivu.   Yakuwa akuuma abagwira;Alabirira omwana atalina kitaawe ne nnamwandu,+Naye agootaanya enteekateeka z’ababi.*+ 10  Yakuwa ajja kubeera Kabaka emirembe n’emirembe;+Ggwe Sayuuni, Katonda wo ajja kubeera Kabaka emirembe gyonna. Mutendereze Ya!*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “bakungu.”
Oba, “akyamya ekkubo ly’ababi.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.