Lukka 13:1-35
-
Bwe muteenenya mujja kuzikirizibwa (1-5)
-
Olugero lw’omutiini ogutabala (6-9)
-
Omukazi awonyezebwa ku Ssabbiiti (10-17)
-
Olugero olw’ensigo ya kalidaali, n’olw’ekizimbulukusa (18-21)
-
Okuyingira mu mulyango omufunda kyetaagisa okufuba (22-30)
-
Kerode, “ekibe ekyo” (31-33)
-
Yesu akungubagira Yerusaalemi (34, 35)
13 Mu kiseera ekyo, abamu ku abo abaaliwo baabuulira Yesu ebikwata ku Bagaliraaya Piraato be yatta n’atabula omusaayi gwabwe mu biweebwayo byabwe.
2 Yesu n’abaddamu nti: “Mulowooza Abagaliraaya abo ebintu ebyo byabatuukako olw’okuba baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya abalala bonna?
3 Nedda si bwe kiri, era mbagamba nti okuggyako nga mwenenyezza, nammwe mujja kuzikirizibwa.+
4 Oba, abo ekkumi n’omunaana omunaala be gwagwira mu Sirowamu ne gubatta, mulowooza baalina omusango munene okusinga abalala bonna ababeera mu Yerusaalemi?
5 Nedda si bwe kiri, era mbagamba nti okuggyako nga mwenenyezza, mmwenna mujja kuzikirizibwa nga bo.”
6 Awo n’abagerera olugero luno: “Waaliwo omusajja eyalina omutiini mu nnimiro ye ey’emizabbibu, n’ajja okunoonyaako ebibala naye n’atasangako na kimu.+
7 N’agamba oyo eyali alabirira ennimiro y’emizabbibu nti, ‘Kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, naye nga sisangako kibala. Guteme! Gwonoonera ki ettaka?’
8 N’amuddamu nti, ‘Mukama wange, guleke gubeerewo omwaka omulala gumu mmale okugutemeratemera n’okugussaako ebigimusa.
9 Bwe gunaabala ebibala gye bujja, kijja kuba kirungi, naye bwe gutaabale, ng’ogutemawo.’”+
10 Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro ku Ssabbiiti.
11 Laba! waaliwo omukazi omwoyo omubi* gwe gwali gulwazizza okumala emyaka 18, nga yeeweseemu era nga tasobola kuyimirira busimba.
12 Yesu bwe yamulaba n’amugamba nti: “Osumuluddwa okuva mu bulwadde bwo.”+
13 Awo n’amussaako emikono, amangu ago n’ayimirira busimba, n’atandika okugulumiza Katonda.
14 Naye omukulu w’ekkuŋŋaaniro yakwatibwa obusungu olw’okuba Yesu yawonya omukazi oyo ku Ssabbiiti, era n’agamba ekibiina ky’abantu nti: “Waliwo ennaku mukaaga emirimu kwe girina okukolerwa;+ ku nnaku ezo mujje muwonyezebwe, naye si ku Ssabbiiti.”+
15 Naye Mukama waffe n’amuddamu nti: “Bannanfuusi mmwe,+ buli omu ku mmwe ku Ssabbiiti tasumulula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo n’agitwala okunywa amazzi?+
16 Omukazi ono muwala wa Ibulayimu, Sitaani gw’abadde asibye okumala emyaka 18, abadde tasaanidde kusumululwa mu busibe buno ku Ssabbiiti?”
17 Bwe yayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala, naye ekibiina kyonna ne kisanyuka olw’ebintu byonna eby’ettendo bye yakola.+
18 Awo n’agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaananyizibwa ki, era nnaabugeraageranya ku ki?
19 Bulinga akasigo ka kalidaali omuntu ke yatwala n’akasimba mu nnimiro ye, ne kakula ne kafuuka omuti, ebinyonyi eby’omu bbanga ne bijja ne bibeera mu matabi gaagwo.”+
20 Era n’agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya ku ki?
21 Bulinga ekizimbulukusa omukazi kye yatwala n’akitabula mu bipimo* bisatu eby’obuwunga, okutuusa ekitole kyonna lwe kyazimbulukuka.”+
22 Yesu bwe yali agenda e Yerusaalemi, yayitaayita mu bibuga byonna ne mu bubuga bwonna ng’ayigiriza.
23 Awo ne wabaawo eyamubuuza nti: “Mukama waffe, abalokolebwa batono?” N’abagamba nti:
24 “Mufube nnyo okuyingira mu mulyango omufunda,+ kubanga mbagamba nti bangi abalyagala okuyingira naye tebalisobola.
25 Nnyini nnyumba bw’alisituka n’aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru ne mukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’+ Naye alibaddamu nti, ‘Simanyi gye muva.’
26 Awo mulitandika okugamba nti, ‘Twalyanga era ne tunywera mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe ennene.’+
27 Naye ajja kubagamba nti: ‘Sibamanyi. Muve we ndi mmwe mmwenna abakola ebitali bya butuukirivu!’
28 Mulikaaba ne muluma obugigi, bwe muliraba Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, ne bannabbi bonna mu Bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuuliddwa ebweru.+
29 Ate era, abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu Bwakabaka bwa Katonda.
30 Era, laba! waliwo ab’oluvannyuma abaliba ab’olubereberye, n’ab’olubereberye abaliba ab’oluvannyuma.”+
31 Mu kiseera ekyo kyennyini Abafalisaayo abamu ne bajja ne bamugamba nti: “Va wano ogende, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32 N’abagamba nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo* nti, ‘Laba! Leero n’enkya ngoba dayimooni era mponya abalwadde; ku lunaku olw’okusatu nja kuba mmalirizza.’
33 Wadde kiri kityo, leero n’enkya na luli, nnina okweyongerayo kubanga nnabbi talina kuttirwa bweru wa Yerusaalemi.+
34 Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, era akuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’ali,+—mirundi emeka gye nnayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala.+
35 Laba! ennyumba yammwe ebalekeddwa nga kifulukwa.+ Mbagamba nti temuliddayo kundaba okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa!’”*+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “omwoyo ogulemaza.”
^ Obut., “bigera bya seya.” Seya yali egyaamu lita 7.33. Laba Ebyong. B14.
^ Mu Isirayiri, ekibe kyali kimanyiddwa ng’ekisolo eky’olukujjukujju.
^ Laba Ebyong. A5.