Isaaya 44:1-28
44 “Kaakano wuliriza ggwe Yakobo omuweereza wange,Ggwe Isirayiri gwe nnalonda.+
2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,Oyo eyakutonda era eyakubumba,+Azze akuyamba okuviira ddala lwe wava mu lubuto:*
‘Totya ggwe omuweereza wange Yakobo,+Ggwe Yesuluni*+ gwe nnalonda.
3 Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumwa ennyonta*+
N’obugga obukulukuta mu nsi enkalu.
Ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo+
N’emikisa gyange ku bazzukulu bo.
4 Balimera ng’omuddo,+Balimera ng’emiti emyalava ku mbalama z’obugga.
5 Omu aligamba nti: “Ndi wa Yakuwa.”+
Omulala alyeyita erinnya lya Yakobo,Ate omulala aliwandiika ku mukono gwe nti: “Ndi wa Yakuwa.”
Era alyetuuma erinnya lya Isirayiri.’
6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,Kabaka wa Isirayiri+ era Omununuzi we,+ Yakuwa ow’eggye:
‘Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.+
Teri Katonda mulala wabula nze.+
7 Ani alinga nze?+
K’ayanukule mu ddoboozi ery’omwanguka, akyogere era akinkakase!+
Okuva lwe nnassaawo abantu ab’edda,Ka boogere ebintu ebigenda okubaawo,Era n’ebitannabaawo.
8 Temutya,Era temutekemuka.+
Buli omu ku mmwe saamubuulira nga bukyali era ne mmutegeeza?
Muli bajulirwa bange.+
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze?
Nedda, teri Lwazi lulala;+ teriiyo lulala lwe mmanyi.’”
9 Abo bonna abakola ebifaananyi ebyole tebaliiko kye bagasa,N’ebintu byabwe bye baagala ennyo tebiriba na mugaso.+
Ebifaananyi byabwe be bajulirwa baabwe; tebiraba era tebirina kye bimanyi,+N’olwekyo abo abaabikola baliswala.+
10 Ani ayinza okukola katonda, oba okuweesa ekifaananyi eky’ekyuma*Ekitalina mugaso?+
11 Laba! Mikwano gye bonna baliswazibwa!+
Abaweesi bantu buntu.
Ka bonna bakuŋŋaane era bayimirire.
Balitya era bonna baliswazibwa.
12 Omuweesi aweesa ekintu eky’ekyuma ku manda agaaka ng’akozesa ekintu ekikozesebwa okuweesa.
Akikubaakuba n’ennyondo,Ng’akozesa omukono gwe ogw’amaanyi.+
Oluvannyuma alumwa enjala era n’aggwaamu amaanyi;Tanywa mazzi era akoowa.
13 Omubazzi aleega ku muti omuguwa gwe ogupima, n’alamba ku muti ogwo ng’akozesa ennoni emmyufu.
Aguwala ng’akozesa ensinjo, n’agupima ng’akozesa ekyuma ekipima.
Agukolamu ekifaananyi ekiringa omuntu,+Nga kirabika bulungi ng’omuntu,Kibeerenga mu nnyumba.*+
14 Waliwo omuntu atema emiti gy’entolokyo.
Yeeroboza ekika ky’omuti, omuyovu,Aguleka ne gukula mu kibira.+
Asimba omuti gw’omworeni, era enkuba n’egukuza.
15 Oluvannyuma guvaamu enku omuntu z’akozesa okwakisa omuliro.
Ekitundu kyagwo ekimu akikozesa okwota;Akuma omuliro n’afumba emmere.
Kyokka era akolamu katonda n’amusinza.
Agubajjamu ekifaananyi ekyole, n’akivunnamira.+
16 Ekitundu kyagwo ekimu akyokya mu muliro;Akozesa ekitundu ekyo okwokya ennyama gy’alya n’akkuta.
Ate era ayota omuliro n’agamba nti:
“Awo nno, ka mbugume nga bwe ntunuulira omuliro.”
17 Ekitundu kyagwo ekifisseewo akikolamu katonda, akikolamu ekifaananyi kye ekyole.
Akivunnamira n’akisinza.
Akisaba n’akigamba nti:
“Ndokola, kubanga ggwe katonda wange.”+
18 Tebalina kye bamanyi, tebalina kye bategeera,+Kubanga amaaso gaabwe gazibiddwa era tebasobola kulaba,N’omutima gwabwe tegutegeera.
19 Tewali n’omu ku bo afumiitiriza mu mutima gweOba alina amagezi oba okutegeera ne yeebuuza nti:
“Ekitundu kyagwo nnakyokezza mu muliro,Era ku manda gaakyo nnafumbyeko emmere ne njokyako n’ennyama ne ndya.
Kati ate ekitundu kyagwo ekifisseewo nkikolemu ekintu eky’omuzizo?+
Ddala nsaanidde okusinza ekitundutundu ky’omuti?”
20 Alya vvu.
Omutima gwe ogwalimbibwa gumuwabizza.
Tasobola kuwonya bulamu bwe, era teyeebuuza nti:
“Ekintu ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si kya bulimba?”
21 “Jjukira ebintu bino ggwe Yakobo, ggwe Isirayiri,Kubanga oli muweereza wange.
Nnakubumba, era oli muweereza wange.+
Sirikwerabira ggwe Isirayiri.+
22 Ndisangula ebyonoono byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire+N’ebibi byo, ne biba ng’ebibikkiddwa ekire ekikutte.
Komawo gye ndi, kubanga nja kukununula.+
23 Yogerera waggulu n’essanyu, ggwe eggulu,Kubanga Yakuwa y’akoze kino!
Mukube emizira mmwe ebitundu by’ensi ebya wansi!
Mwogerere waggulu olw’essanyu mmwe ensozi,+Ggwe ekibira, n’emiti gyo gyonna!
Kubanga Yakuwa anunudde Yakobo,Era ayolesezza ekitiibwa kye ku Isirayiri.”+
24 Bw’ati Yakuwa Omununuzi wo bw’agamba,Eyakutonda mu lubuto:+
“Nze Yakuwa, eyakola buli kintu.
Nze kennyini nze nnabamba eggulu,+Era nze nnayanjuluza ensi.+
Ani eyali nange?
25 Nze nnemesa obubonero bw’abo aboogera ebitaliimu,*Nze ndeetera abalaguzi okubeera ng’abasirusiru;+Nze ndeetera abasajja abagezigezi okusoberwaEra nze nfuula amagezi gaabwe obusirusiru;+
26 Nze ndeetera ekigambo ky’omuweereza wange okutuukiriraEra nze ntuukiriza ebyo ababaka bange bye balagula;+Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiribeeramu abantu,’+
Ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Biriddamu okuzimbibwa,+Era ndizzaawo ebyamu ebyayonoonebwa’;+
27 Nze ŋŋamba amazzi ag’omu buziba nti, ‘Kalira,Era ndikaliza emigga gyo gyonna’;+
28 Nze njogera ku Kuulo nti,+ ‘Musumba wange,Era alituukiriza byonna bye njagala’;+Nze njogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kiriddamu okuzimbibwa,’
Ne ku yeekaalu nti, ‘Omusingi gwo gulizimbibwa.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okuviira ddala lwe wazaalibwa.”
^ Kitegeeza, “Omugolokofu.” Kino kitiibwa ekikozesebwa ku Isirayiri.
^ Oba, “ku nsi erumwa ennyonta.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “mu ssabo.”
^ Oba, “bwa bannabbi ab’obulimba.”