Abafiripi 3:1-21
3 Eky’enkomerero baganda bange, mweyongere okusanyuka mu Mukama waffe.+ Sikaluubirirwa kuddamu kubawandiikira bintu bye nnabawandiikira edda, era bya bukuumi gye muli.
2 Mwekuume abo abalinga embwa; mwekuume abo abakola eby’akabi; mwekuume abo abakomola omubiri.+
3 Kubanga ffe abaakomolebwa mu ngeri entuufu,+ abeenyigidde mu buweereza obutukuvu okuyitira mu mwoyo gwa Katonda, twenyumiririza mu Kristo Yesu,+ era tetwesiga mubiri,
4 naye bwe wabaawo omuntu yenna alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, ye nze.
Bwe wabaawo omuntu omulala yenna alowooza nti alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, nze mmusinga:
5 nnakomolebwa ku lunaku olw’omunaana,+ ndi wa ggwanga lya Isirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya eyazaalibwa abazadde Abebbulaniya;+ Omufalisaayo ku bikwata ku mateeka;+
6 bwe kituuka ku kuba omunyiikivu, nnayigganya ekibiina;+ bwe kituuka ku butuukirivu obufunibwa okuyitira mu mateeka, saaliko kya kunenyezebwa.
7 Naye ebintu ebyali amagoba gye ndi nnabyefiiriza* olwa Kristo.+
8 Okugatta ku ekyo, ebintu byonna mbitwala ng’ebitagasa olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo,
9 ndyoke nsangibwe nga ndi bumu naye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula obwo obuva mu kukkiririza+ mu Kristo+ era obuva eri Katonda nga bwesigamiziddwa ku kukkiriza.+
10 Ekiruubirirwa kyange kwe kumumanya n’okumanya amaanyi g’okuzuukira+ kwe era n’okugabana ku kubonaabona kwe,+ nga nzikiriza okufa nga bwe yafa,+
11 ndabe obanga nnaabeera mu kuzuukira okusooka.+
12 Sigamba nti mmaze okufuna empeera, oba nti mmaze okufuulibwa atuukiridde, naye nfuba+ okulaba nti nfuna ekyo Kristo Yesu kye yannondera okufuna.+
13 Ab’oluganda, seetwala ng’amaze okufuna empeera; naye waliwo ekintu kimu kye nkola: Nneerabira ebintu eby’emabega+ ne nduubirira eby’omu maaso,+
14 nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera+ ey’okuyitibwa okw’omu ggulu,+ Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu.
15 N’olwekyo, ffenna abakuze+ ka tubeere n’endowooza eno, era bwe muba nga mulina endowooza eyawukana ku eno, Katonda ajja kubabikkulira endowooza entuufu.
16 Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.
17 Ab’oluganda, mmwenna munkoppe,+ era mutunuulire abo abeeyisa mu ngeri etuukagana n’ekyokulabirako kye twabateerawo.
18 Kubanga waliwo bangi be nnateranga okwogerako naye kati mboogerako nga nkaaba, kubanga beeyisa ng’abalabe b’omuti gwa Kristo ogw’okubonaabona.*
19 Enkomerero yaabwe kuliba kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto lwabwe, beenyumiririza mu bintu ebyandibadde bibakwasa ensonyi, era balowooza bintu bya nsi.+
20 Naye ffe obutuuze bwaffe+ buli mu ggulu,+ era tulindirira omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo ali mu ggulu.+
21 Era emibiri gyaffe egyatoowazibwa ajja kugifuula gya kitiibwa ng’ogugwe*+ ng’akozesa amaanyi ge amangi, agamusobozesa okussa ebintu byonna wansi we.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “nnabireka kyeyagalire.”
^ Obut., “kugituukanya n’ogugwe ogw’ekitiibwa.”