2 Abakkolinso 8:1-24
8 Kaakano ab’oluganda, twagala okubategeeza ebikwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso ekiragiddwa ab’omu bibiina by’e Masedoniya.+
2 Mu kugezesebwa okw’amaanyi nga babonaabona, baayoleka essanyu lingi n’omwoyo omugabi wadde nga baali baavu nnyo.
3 Nkakasa nti ekyo baakikola okusinziira ku busobozi bwabwe,+ era kyasukka ne ku busobozi bwabwe.+
4 Kubanga ab’oluganda abo baatusaba ku lwabwe era ne batwegayirira nnyo tubawe akakisa bawe abatukuvu ekirabo,+ mu ngeri eyo babaweerereze wamu n’abalala.
5 Era baakola ekisinga ku ekyo kye twali tusuubira; okusooka beewaayo eri Mukama waffe n’eri ffe nga Katonda bwe yayagala.
6 N’olwekyo, twakubiriza Tito+ okumaliriza omulimu gw’okukuŋŋaanya ebirabo bye mwawaayo, okuva bwe yali agutandise mu mmwe.
7 Naye nga bwe muli abagagga mu buli kimu, mu kukkiriza, mu kigambo, mu kumanya, mu kufuba ennyo, ne mu kwagala kuno kwe tulina gye muli, era mubeere bagagga ne mu kuwaayo kuno.+
8 Ekyo sikyogera ng’abalagira, wabula okubamanyisa okufuba kw’abalala era n’okukakasa obanga okwagala kwammwe kwa nnamaddala.
9 Kubanga mumanyi ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo, nti wadde yali mugagga yafuuka mwavu ku lwammwe,+ musobole okubeera abagagga okuyitira mu bwavu bwe.
10 Era ne mu kino mpa endowooza yange:+ Bwe mukola ekyo muganyulwa, kubanga omwaka gumu emabega temwakoma ku kwagala bwagazi kukikola naye era mwatandika okukikola.
11 Kale kaakano mumalirize ekyo kye mwatandika okukola. Nga bwe mwali abeetegefu okukikola era musaanidde okukimaliriza nga mukozesa ebyo bye mulina.
12 Singa omuntu aba mwetegefu okubaako ky’awaayo, kikkirizibwa okusinziira ku ekyo ky’alina+ so si ky’atalina.
13 Kubanga saagala kyanguyire balala, ate mmwe kibakaluubirire;
14 kyokka olw’okwenkanankana, bye mulina ebisukka ku bye mwetaaga bikole ku bwetaavu bwabwe, nabo bye balina ebisukka ku bye beetaaga bikole ku bwetaavu bwammwe, wasobole okubaawo okwenkanankana.
15 Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omuntu eyalina ebingi teyalina bingi nnyo, n’oyo eyalina ebitono teyalina bitono nnyo.”+
16 Katonda yeebazibwe awadde Tito omutima ogubalumirirwa+ nga naffe gwe tulina,
17 kubanga abaddeko ne ky’akolawo oluvannyuma lw’okukubirizibwa, era olw’okwagala ennyo okujja, ajja eyo gye muli ku lulwe.
18 Era awamu naye tubatumidde ow’oluganda atenderezebwa mu bibiina byonna olw’ebyo by’akola ku lw’amawulire amalungi.
19 Si ekyo kyokka, naye era ebibiina byamulonda okutambulanga naffe nga tugaba ekirabo kino olw’okuweesa Mukama waffe ekitiibwa n’okulaga nti tuli beetegefu okuyamba abalala.
20 N’olwekyo, twegendereza waleme kubaawo muntu yenna atunenya ku bikwata ku kirabo kino kye tukwasiddwa okugaba.+
21 Kubanga ‘tufuba okukola buli kimu mu bwesigwa, si mu maaso ga Yakuwa* mwokka, naye era ne mu maaso g’abantu.’+
22 Ate era, awamu nabo tubatumidde muganda waffe gwe tugezesezza emirundi mingi ne tulaba nti afuba nnyo mu bintu bingi, ate nga kati afuba nnyo n’okusingawo olw’obwesige obw’amaanyi bw’abalinamu.
23 Naye bwe waba nga waliwo kye mubuuza ku Tito, oyo munnange era mpeereza naye ku lw’obulungi bwammwe; oba bwe wabaawo kye mubuuza ku baganda baffe, abo batume eri ebibiina era kitiibwa kya Kristo.
24 N’olwekyo, mubalage nti mubaagala nnyo,+ era mulage ebibiina nti tetwabeenyumiririzaamu bwereere.
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.