2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:1-23
26 Awo abantu ba Yuda bonna ne baddira Uzziya+ eyali ow’emyaka 16, ne bamufuula kabaka n’adda mu kifo kya kitaawe Amaziya.+
2 Ye yaddamu okuzimba Erosi+ n’akiddiza Yuda nga kabaka* amaze okugalamizibwa wamu ne bajjajjaabe.+
3 Uzziya+ yalina emyaka 16 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka 52 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya ow’e Yerusaalemi.+
4 Yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, nga Amaziya kitaawe bwe yakola.+
5 Uzziya yanoonya Katonda mu kiseera kya Zekkaliya eyamuyigiriza okutya Katonda ow’amazima, era Yakuwa Katonda ow’amazima yamuwa emikisa+ ekiseera kyonna kye yamala ng’amunoonya.
6 Yagenda n’alwanyisa Abafirisuuti+ n’abomola bbugwe wa Gaasi+ n’owa Yabune+ n’owa Asudodi,+ era oluvannyuma n’azimba ebibuga mu kitundu ky’e Asudodi ne mu kitundu ky’Abafirisuuti.
7 Katonda ow’amazima yeeyongera okumuyamba n’awangula Abafirisuuti n’Abawalabu+ abaabeeranga mu Gulubbaali, era n’Abamewuni.
8 Awo Abaamoni+ ne batandika okuwa Uzziya omusolo. Ettutumu lye lyeyongera ne lituuka n’e Misiri, kubanga yafuuka wa maanyi nnyo.
9 Era Uzziya yazimba eminaala+ mu Yerusaalemi n’aginyweza; yagizimba okumpi n’Omulyango ogw’Oku Nsonda,+ n’Omulyango ogw’Omu Kiwonvu,+ n’okumpi n’Empagi.
10 Ate era yazimba eminaala+ mu ddungu, era n’asima n’enzizi nnyingi (kubanga yalina ebisolo bingi); yakola bw’atyo ne mu Sefera ne mu kitundu eky’omuseetwe. Yalina abalimi n’abakozi abaakolanga mu nnimiro z’emizabbibu mu nsozi ne mu Kalumeeri, kubanga yali ayagala nnyo eby’obulimi.
11 Uzziya era yalina eggye eryali litegekeddwa okulwana. Baagendanga okutabaala nga bali mu bibinja. Yeyeri omuwandiisi+ ne Maaseya be baababalanga era ne babawandiika.+ Abasajja abo ababiri baali bakulirwa Kananiya omu ku baami ba kabaka.
12 Abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, abaali bakulira abalwanyi bano ab’amaanyi baali 2,600.
13 Baakuliranga eggye ly’abasajja 307,500 abaali abeetegefu okulwana; eggye ery’amaanyi eryayambanga kabaka okulwanyisa abalabe.+
14 Eggye lyonna Uzziya yaliwa engabo n’amafumu+ ne sseppeewo n’ebyambalo by’olutalo+ n’emitego gy’obusaale n’amayinja ag’envuumuulo.+
15 Ate era yakola mu Yerusaalemi ebyuma eby’entalo ebyayiiyizibwa abasajja abakugu. Byateekebwa waggulu ku minaala+ ne ku nsonda za bbugwe, era byali bisobola okulasa obusaale n’okukanyuga amayinja amanene. Ettutumu lye lyatuuka wala, kubanga Katonda yamuyamba n’abeera wa maanyi.
16 Kyokka olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana. Yakola ekintu ekitaali kya bwesigwa mu maaso ga Yakuwa Katonda we bwe yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaani ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani.+
17 Amangu ago Azaliya kabona ng’ali wamu ne bakabona ba Yakuwa abalala, abasajja abazira 80, ne bayingira nga bamuvaako emabega.
18 Ne baŋŋanga Kabaka Uzziya ne bamugamba nti: “Uzziya, tosaanidde kwoterereza Yakuwa bubaani!+ Bakabona bokka be basaanidde okwotereza obubaani, kubanga be bazzukulu ba Alooni+ abaatukuzibwa. Va mu kifo ekitukuvu, kubanga okoze ekikolwa ekitali kya bwesigwa era Yakuwa Katonda tajja kukugulumiza olw’ekikolwa kino.”
19 Kyokka Uzziya n’asunguwala,+ era yali akutte ekyoterezo eky’okwotereza obubaani. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona, ebigenge+ ne bimukuba mu kyenyi ng’ali mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Yakuwa, okumpi n’ekyoto eky’okwotererezaako obubaani.
20 Azaliya kabona omukulu ne bakabona abalala bonna bwe baamutunuulira, ne balaba nga yali akubiddwa ebigenge mu kyenyi! Awo ne banguwa okumufulumya, era naye n’ayanguwa okufuluma kubanga Yakuwa yali amukubye ebigenge.
21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa. Waaliwo ennyumba ey’enjawulo mwe yabeeranga olw’okuba yali mugenge,+ era yali takyakkirizibwa kugenda ku nnyumba ya Yakuwa. Yosamu mutabani we ye yali alabirira eby’ennyumba* ya kabaka, era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+
22 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Uzziya, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi.
23 Oluvannyuma Uzziya yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika ne bajjajjaabe. Naye baamuziika mu kibanja ekiziikibwamu ekiri ebweru w’ekifo bakabaka gye baaziikibwanga, kubanga baagamba nti: “Mugenge.” Yosamu+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.