1 Peetero 1:1-25
1 Nze Peetero omutume+ wa Yesu Kristo, mpandiikira abatuuze ab’akaseera obuseera abaasaasaanira mu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya,+ Asiya, ne Bisuniya, abaalondebwa
2 nga Katonda Kitaffe bwe yakimanyirawo,+ era abaatukuzibwa n’omwoyo+ olw’ekigendererwa eky’okubeera abawulize n’olw’okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo:+
Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibongerweko.
3 Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe obungi yatuzaala buggya+ ne tuba n’essuubi eddamu+ okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo okuva mu bafu,+
4 ne tuba n’obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo.+ Obusika obwo bubaterekeddwa mu ggulu,+
5 mmwe abakuumibwa amaanyi ga Katonda okuyitira mu kukkiriza musobole okufuna obulokozi obugenda okubikkulwa mu kiseera eky’enkomerero.
6 Ekyo kibasanyusa nnyo, wadde nga kaakano okumala akaseera katono, kibeetaagisa okunakuwala olw’okugezesebwa okutali kumu;+
7 okukkiriza kwammwe okugezeseddwa,+ okw’omuwendo okusinga zzaabu aggwaawo wadde ng’agezesebwa* mu muliro, kulyoke kubaviireko okufuna ettendo n’ekitiibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.+
8 Wadde nga temwamulabako, mumwagala. Wadde nga temumulaba kaakano, mumukkiririzaamu era mujjudde essanyu eritalojjeka era eringi ennyo,
9 kubanga muli bakakafu nti olw’okukkiriza kwammwe, mujja kulokolebwa.+
10 Bannabbi abaayogera ebikwata ku kisa eky’ensusso ekyali eky’okubalagibwa, baabuuliriza nnyo era ne banoonyereza n’obwegendereza ku bikwata ku bulokozi buno.+
11 Baanoonyerezanga ekiseera kyennyini oba ebiro omwoyo ogwabalimu bye gwalaga ku bikwata ku Kristo,+ bwe gwababuulira ng’ekyabula ekiseera ebikwata ku kubonaabona kwa Kristo+ era ne ku bintu eby’ekitiibwa ebyandiddiridde.
12 Kyababikkulirwa nti baali tebeeweereza bokka, wabula nti baali baweereza mmwe, nga bamanyisa ebintu ebirangiriddwa kaakano gye muli okuyitira mu abo abaababuulira amawulire amalungi nga balina omwoyo omutukuvu ogwaweerezebwa okuva mu ggulu.+ Ebintu bino bamalayika nabo baagala nnyo okubitegeera.
13 N’olwekyo, muteeketeeke ebirowoozo byammwe okukola emirimu egy’amaanyi,+ mubeere nga mutegeera bulungi;+ essuubi lyammwe mulisse ku kisa eky’ensusso ekijja okubalagibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.
14 Ng’abaana abawulize, mulekere awo okugoberera okwegomba kwe mwalina edda nga muli mu butamanya,
15 naye mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu,+
16 kubanga kyawandiikibwa nti: “Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.”+
17 Ate era, bwe muba nga mukoowoola Kitaffe asala omusango awatali kusaliriza+ ng’asinziira ku mulimu gwa buli muntu, mweyise mu ngeri eraga okutya+ mu kiseera kino nga muli batuuze ab’akaseera obuseera.
18 Kubanga mukimanyi nti ffeeza oba zzaabu, ebintu ebiggwaawo, si bye byabanunula+ okuva mu mpisa ezitaliimu ze mwafuna ku bajjajjammwe.
19 Naye mwanunulibwa omusaayi ogw’omuwendo,+ ogwa Kristo, ogulinga ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo+ wadde ebbala.+
20 Kyo kituufu nti yamanyibwa dda ng’ensi tennatandika,*+ naye yamanyisibwa ku nkomerero y’ebiseera ku lwammwe.+
21 Okuyitira mu ye mukkiririza mu Katonda,+ eyamuzuukiza mu bafu+ n’amuwa ekitiibwa;+ okukkiriza kwammwe n’essuubi bisobole okuba mu Katonda.
22 Kaakano nga bwe mumaze okwetukuza nga mugondera amazima era ng’ekyo kibaviiriddeko okuba n’okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa,+ kale mwagalane nnyo okuviira ddala ku mutima.+
23 Kubanga okuyitira mu kigambo kya Katonda omulamu era abeerawo emirembe gyonna,+ muzaaliddwa buggya,+ si na nsigo evunda+ wabula etavunda.*
24 Kubanga “abantu bonna balinga omuddo, era ekitiibwa kyabwe kyonna kiringa ekimuli eky’oku ttale; omuddo guwotoka, ekimuli kyagwo ne kigwa,
25 naye ekigambo kya Yakuwa* kibeerawo emirembe n’emirembe.”+ Era “ekigambo” kino ge mawulire amalungi agaababuulirwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “alongooseddwa.”
^ Kwe kugamba, ensigo esobola okuvaamu ebibala.
^ Laba Ebyong. A5.