EKIBUUZO 7
Bayibuli Eyogera Ki ku Kiseera Kyaffe?
“Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka . . . Bino byonna ye ntandikwa y’obuyinike.”
“Bannabbi ab’obulimba bangi balijja era balikyamya bangi, era olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”
“Bwe muwuliranga entalo mu bifo ebitali bimu, temutyanga; ebintu ebyo birina okubaawo, naye enkomerero eriba ekyali.”
“Walibaawo musisi ow’amaanyi, era walibaawo enjala n’endwadde ez’amaanyi mu bifo ebitali bimu. Walibaawo ebintu ebitiisa era n’obubonero obw’amaanyi obuva mu ggulu.”
“Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda, era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.”