OLUYIMBA 94
Tusiima Ekigambo kya Katonda
-
1. Yakuwa Kitaffe, nga twesiimye nnyo
’Kuba nti tulina Ekigambo kyo!
Ebikirimu byonna,
ggwe wabiruŋŋamya.
Kituyigiriza; kituluŋŋamya.
-
2. Kirina amaanyi mangi nnyo ddala.
Kitutuukira ddala ku mutima.
Kitwoleka kye tuli
ne bye twettanira.
Kiwa amagezi; kituwabula.
-
3. Byonna bye tusoma mu Kigambo kyo
Bya muganyulo nnyo; bitukwatako.
Tuyambe bye tuyiga
tubikolereko.
Tusiima nnyo ddala Ekigambo kyo.
(Laba ne Zab. 19:9; 119:16, 162; 2 Tim. 3:16; Yak. 5:17; 2 Peet. 1:21.)