OLUYIMBA 70
Noonya Abagwanira
-
1. Mukama waffe yatuyigiriza
’Kubuulira ekigambo:
‘Buli gy’ogenda, fuba okunoonya
Abettanira eby’omwoyo.
Bw’olamusa abali mu nju oba
Obaagaliza emirembe.
Bwe bagaana okukuwuliriza,
Weggyeeko enfuufu ogende.’
-
2. Abakusembeza basembeza ye;
Baggula ’mitima gyabwe.
Baagala ’bulamu obutaggwaawo
Era banaaweereza naawe.
Teweebuuza by’ogenda okwogera
Kuba Yakuwa abikuwa.
’Bigambo byo bwe binoga omunnyo
Abantu basikirizibwa.
(Laba ne Bik. 13:48; 16:14; Bak. 4:6.)