OLUYIMBA 25
Ekintu kya Katonda Ekiganzi
-
1. Ekitonde ekiggya
Be baana ba Katonda.
Yabagula mu bantu
Era abasiima.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
-
2. Bano ggwanga ttukuvu;
Baagala amazima.
Katonda yabayita;
Baava mu nzikiza.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
-
3. Bafub’o kukuŋŋaanya
Ab’endiga endala.
Beesigwa eri Yesu.
Bamugoberera.
(CHORUS)
Ba muwendo gy’oli;
Bantu ab’erinnya lyo.
Bakutendereza;
Balangirira ettendo lyo.
(Laba ne Is. 43:20b, 21; Mal. 3:17; Bak. 1:13.)