Ddala Olugoye Lwe Baatereka mu Kibuga Turin Mwe Baaziika Yesu?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli teyogera ku lugoye olwo. Abantu bangi balowooza nti olwo lwe lugoye mwe baaziika Yesu Kristo. Olw’endowooza eyo, abantu abamu batwala olugoye olwo ng’ekimu ku bintu ebisinga obutukuvu mu madiini ag’eyita ag’Ekikristaayo. Olugoye olwo lwateekebwa mu ssanduuko eyakolebwa mu magezi ag’ekikugu era lwaterekebwa mu kkereziya eri mu kibuga Turin, mu Yitale.
Ddala ebiri mu Bayibuli biraga nti olwo lwe lugoye mwe baaziika Yesu? Nedda
Ka tulabe ebikwata ku lugoye olwo ebyawukana ku ekyo Bayibuli ky’egamba.
Olugoye lw’e Turin luli lumu era nga lwa sentimita 442 obuwanvu ku sentimita 113 obugazi (ffuuti 14 ne inci 6 ku ffuuti 3 ne inci 8) era baalukuba ekiraka kya sentimita 8 (inci 3) obuwanvu.
Bayibuli ky’egamba: Omubiri gwa Yesu tegwazingibwa mu lugoye lumu lwokka, wabula gwazingibwa mu ngoye eziwerako. Omutwe gwe gwazingibwako olugoye lwa njawulo. Yesu bwe yamala okuzuukira, omu ku batume be yagenda ku ntaana “n’alaba engoye eza kitaani nga ziri awo wansi.” Bayibuli egattako nti: “Olugoye olwali lusibiddwa ku mutwe gwe terwali wamu na ngoye ziri endala, wabula lwali luzingiddwa nga luli lwokka.”—Yokaana 20:6, 7.
Olugoye lw’e Turin luliko amabala agalowoozebwa okuba amatondo g’omusaayi gwa Yesu.
Bayibuli ky’egamba: Yesu bwe yafa, abayigirizwa be baakola ku mulambo gwe “ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali.” (Yokaana 19:39-42) Ekyo kyali kizingiramu okunaaza omulambo n’okugusiiga amafuta n’eby’akaloosa nga tebannaguziika. (Matayo 26:12; Ebikolwa 9:37) N’olwekyo, abayigirizwa ba Yesu bateekwa okuba nga baanaaza omulambo gwe nga tebannaguzinga mu ngoye.
Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica ku lugoye lw’e Turin kuliko ekifaananyi ky’omusajja agalamidde “ku kitundu ekimu eky’olugoye olwo, ate ekitundu ekirala ne kimubikka ekitundu eky’omu maaso okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.”
Bayibuli ky’egamba: Abayigirizwa ba Yesu baayogera ku kufa kwe, ku ntaana mwe yali aziikiddwa gye baasanga nga nkalu, era ne ku bakazi ‘abaalaba bamalayika abaabagamba nti mulamu.’ (Lukka 24:15-24) Singa olugoye lw’e Turin lwali mu ntaana Yesu mwe yaziikibwa, abayigirizwa be bandibadde baalwogerako era ne boogera ne ku bifaananyi ebiruliko. Naye, Bayibuli terina w’eragira nti baalwogerako.
Olugoye lw’e Turin lusaanidde okugulumizibwa?
Nedda. Ne bwe kyandibadde nti olwo lwe lugoye lwennyini Yesu mwe yaziikibwa, tekyandibadde kituufu kulugulumiza. Ebyawandiikibwa bino wammanga biraga ensonga eyo.
Tekyetaagisa. Yesu yagamba nti: “Katonda Mwoyo, n’abo abamusinza bateekwa okumusinza mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Abasinza Katonda mu ngeri entuufu tebakozesa bintu abantu bye batwala ng’ebitukuvu mu kusinza kwabwe.
Tekikkirizibwa. Amateeka ekkumi gagaana okusinza ebifaananyi. (Ekyamateeka 5:6-10) Ate era Bayibuli egamba Abakristaayo nti: “Mwekuume ebifaananyi.” (1 Yokaana 5:21) Abamu bayinza okugamba nti olugoye lw’e Turin si kifaananyi, wabula kabonero bubonero ke bakozesa mu kusinza kwabwe. Naye omuntu bw’agulumiza akabonero, kaba kafuuse ekifaananyi ky’asinza. a N’olwekyo, omuntu ayagala okusanyusa Katonda tagulumiza kintu kyonna, nga mw’otwalidde n’olugoye lw’e Turin.
a Ekifaananyi kye kintu kyonna omuntu ky’agulumiza oba ky’asinza.