Oyinza Otya Okuba Omulamu Emirembe Gyonna?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli egamba nti: “Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yokaana 2:17) Biki Katonda by’ayagala okole?
Okuyiga ebikwata ku Katonda n’Omwana we Yesu. Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Biki ebizingirwa mu ‘kumanya’ Katonda ne Yesu? Tusobola okubamanya bwe tusoma Bayibuli era ne tukolera ku ebyo bye tuyiga. a Bayibuli eraga endowooza Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda gy’alina ku bintu ebitali bimu. (Ebikolwa 17:24, 25) Ate era Bayibuli etubuulira ebikwata ku Mwana we Yesu, eyatuyigiriza “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 6:67-69.
Okukkiririza mu kinunulo Yesu kye yawaayo. Yesu yajja ku nsi “okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo.” (Matayo 20:28) Ekinunulo Yesu kye yawaayo kyaggulirawo abantu ekkubo ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. b (Zabbuli 37:29) Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Kijjukire nti okukkiririza mu Yesu kyokka tekimala. Tulina okwoleka okukkiriza okwo nga tukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza era nga tukola ebyo Kitaawe by’ayagala.—Matayo 7:21; Yakobo 2:17.
Okunyweza enkolagana yo ne Katonda. Katonda ayagala tumusemberere era tubeere mikwano gye. (Yakobo 2:23; 4:8) Katonda abeerawo emirembe n’emirembe. Talifa, era ayagala ne mikwano gye babeere balamu emirembe gyonna. Okuyitira mu Kigambo kye, Katonda alaga ky’ayagaliza abo bonna abamunoonya. Ayagala ‘banyumirwe obulamu emirembe gyonna.’—Zabbuli 22:26.
Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kuba Omulamu Emirembe Gyonna
Endowooza enkyamu: Okufuba kw’abantu kwe kujja okubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.
Ekituufu: Wadde ng’abantu balina bye batuuseeko mu by’ekisawo era nga basuubira nti emyaka abantu gye bawangaala gijja kweyongerako, ekyo tekijja kuvaamu bulamu butaggwaawo. Katonda yekka y’asobola okuwa abantu obulamu obutaggwaawo kubanga ye “nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Asuubiza nti ajja ‘kumirira ddala okufa’ awe abantu bonna abakola by’ayagala obulamu obutaggwaawo.—Isaaya 25:8; 1 Yokaana 2:25.
Endowooza enkyamu: Abantu ab’amawanga agamu be bajja okufuna obulamu obutaggwaawo.
Ekituufu: Katonda tasosola. Wabula, “mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Abantu bonna abagondera Katonda basobola okuba abalamu emirembe gyonna, ka babe ba ggwanga ki.
Endowooza enkyamu: Obulamu obutaggwaawo bujja kuba tebunyuma.
Ekituufu: Katonda yatusuubiza okutuwa obulamu obutaggwaawo olw’okuba atwagala era ayagala tubeere basanyufu. (Yakobo 1:17; 1 Yokaana 4:8) Akimanyi nti abantu okusobola okuba abasanyufu beetaaga okuba n’emirimu emirungi. (Omubuulizi 3:12) Katonda asuubiza nti abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna bajja kuba n’emirimu egijja okubaganyula awamu n’ab’omu maka gaabwe.—Isaaya 65:22, 23.
N’ekisinga ebyo, abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna bajja kweyongera okuyiga ebintu ebipya ebikwata ku Katonda n’ebintu bye yatonda. Katonda yatonda abantu nga baagala okubeerawo emirembe gyonna n’okuyiga ebimukwatako, naye “tebalitegeerera ddala bintu Katonda ow’amazima by’akoze okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.” (Omubuulizi 3:10, 11) N’olwekyo, abo abanaabeerawo emirembe gyonna bajja kuba n’ebintu bingi eby’okuyiga n’eby’okukola.
a Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Okumanya ebisingawo laba vidiyo, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?
b Laba ekitundu, “Yesu Alokola—Mu Ngeri Ki?”