Bayibuli Eyogera Ki ku Kusiiba?
Bayibuli ky’egamba
Mu biseera eby’edda, omuntu bwe yasiibanga ng’alina ekigendererwa ekirungi Katonda yamusiimanga. Naye singa omuntu yabanga n’ekigendererwa ekibi, okusiiba kwe tekwasiimibwanga. Kyokka mu kiseera kino, Bayibuli teragira bantu kusiiba era tebagaana kukikola.
Lwaki abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli baasiibanga?
Nga baagala Katonda abayambe era abawe obulagirizi. Abantu abaali baddayo e Yerusaalemi baasiiba okulaga nti baali beesiga Katonda okubayamba. (Ezera 8:21-23) Pawulo ne Balunabba oluusi baasiibanga bwe baabanga balonda abakadde mu bibiina.—Ebikolwa 14:23.
Nga baagala okukola Katonda by’ayagala. Yesu bwe yamala okubatizibwa, yasiiba ennaku 40 nga yeeteekerateekera obuweereza bwe asobole okukola Katonda by’ayagala.—Lukka 4:1, 2.
Okulaga nti beenenyezza ebibi bye baakola. Okuyitira mu nnabbi Yoweeri, Katonda yagamba Abayisirayiri abataali beesigwa nti: “Mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna, nga musiiba, nga mukaaba, era nga mukuba ebiwoobe.”—Yoweeri 2:12-15.
Ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. Mu mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, mwalimu etteeka eryali libalagira okusiiba ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi olwabangawo buli mwaka. a (Eby’Abaleevi 16:29-31) Okusiiba kwali kwetaagisa ku lunaku olwo, kubanga kwajjukizanga Abayisirayiri nti baali tebatuukiridde era nti baali beetaaga okusonyiyibwa.
Ebigendererwa ebikyamu omuntu by’ayinza okuba nabyo ng’asiiba bye biruwa?
Ng’ayagla abalala bamulabe. Yesu yayigiriza nti omuntu talina kumanyisa balala nti asiiba, wabula kirina kuba wakati we ne Katonda.—Matayo 6:16-18.
Okulaga nti mutuukirivu. Okusiiba tekufuula muntu kuba mutuukirivu okusinga abalala.—Lukka 18:9-14.
Okugezaako okubikka ku bibi bye yakola mu bugenderevu. (Isaaya 58:3, 4) Katonda yakkirizanga okusiiba kw’omuntu eyabanga agondera amateeka ge era nga yeenenyezza mu bwesimbu.
Okutuukiriza akalombolombo k’eddiini. (Isaaya 58:5-7) Katonda alinga omuzadde atasanyukira mwana amugondera olw’okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Ayagala tumugondere buli kiseera nga kiviira ddala ku mutima gwaffe.
Abakristaayo bateekeddwa okusiiba?
Nedda. Katonda yalagira Abayisirayiri okusiiba ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, naye etteeka eryo yaliggyawo Yesu bwe yamala okuwaayo obulamu bwe ku lw’ebibi by’abantu bonna. (Abebbulaniya 9:24-26; 1 Peetero 3:18) Abakristaayo tebali wansi wa Mateeka ga Musa omwali n’etteeka ly’okusiiba ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. (Abaruumi 10:4; Abakkolosaayi 2:13, 14) N’olwekyo, buli Mukristaayo ye yeesalirawo okusiiba oba obutasiiba.—Abaruumi 14:1-4.
Abakristaayo bakimanyi nti okusiiba si kye kisinga obukulu mu kusinza kwabwe. Bayibuli teraga nti okusiiba kwe kuleeta essanyu. Ku luuyi olulala, Abakristaayo ab’amazima basanyufu olw’okuba basinza Yakuwa, “Katonda omusanyufu.”—1 Timoseewo 1:11; Omubuulizi 3:12, 13; Abaggalatiya 5:22.
Endowooza enkyamu ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kusiiba
Endowooza enkyamu: Omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo abafumbo balina okusiiba.—1 Abakkolinso 7:5, King James Version.
Ekituufu: Ebiwandiiko bya Bayibuli ebisingayo okuba ebikadde tebyogera ku kusiiba mu 1 Abakkolinso 7:5. b Abakoppolozi ba Bayibuli be baayongeramu ekigambo “okusiiba,” mu lunyiriri olwo ne mu Matayo 17:21; Makko 9:29; ne Ebikolwa 10:30. Enkyusa za Bayibuli ezisinga obungi eziriwo leero tezoogera ku kusiiba mu nnyiriri ezo.
Endowooza enkyamu: Abakristaayo basaanidde okusiiba okujjukira ennaku 40 Yesu ze yamala ng’asiiba mu ddungu oluvannyuma lw’okubatizibwa.
Ekituufu: Yesu teyalagira bagoberezi be kusiiba era tewali kiraga nti Abakristaayo abasooka baasiibanga okujjukira ennaku ezo. c
Endowooza enkyamu: Abakristaayo basaanidde okusiiba nga bajjukira okufa kwa Yesu.
Ekituufu: Yesu teyalagira bagoberezi be kusiiba nga bajjukira okufa kwe. (Lukka 22:14-18) Wadde nga Yesu yagamba nti abagoberezi be bandisiibye oluvannyuma lw’okufa kwe, yali tawa kiragiro wabula yali ayogera bwogezi ekyali kigenda okubaawo. (Matayo 9:15) Bayibuli ekubiriza Abakristaayo okusooka okulya nga tebannagenda ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu.—1 Abakkolinso 11:33, 34.
a Katonda yagamba Abayisirayiri nti: “Muneebonyaabonyanga” ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. (Eby’Abaleevi 16:29, 31) Ekigambo ekyo kitegeeza okusiiba. (Isaaya 58:3) Bwe kityo, enkyusa ya Contemporary English Version egamba nti: “Temulina kulya kintu kyonna okulaga nti munakuwalidde ebibi byammwe.”
b Laba A Textual Commentary on the Greek New Testament, ekya Bruce M. Metzger, Third Edition, olupapula 554.
c Ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kyogera bwe kiti ku byafaayo by’ekisiibo ky’ennaku 40: “Mu byasa ebisatu ebyasooka, ekiseera ky’okusiiba okweteekerateekera Ppaasika tekyasukkanga wiiki emu; kyatwalanga olunaku lumu oba ennaku biri. . . . Ekisiibo ky’ennaku 40 kyasooka kwogerwako mu lukiiko olw’okutaano olwa Babisopu olwali mu kibuga Nicaea mu mwaka gwa 325, naye abeekenneenya abamu babuusabuusa obanga ddala ekisiibo ekyo kye kyayogerwako mu lukiiko olwo.”—Second Edition, Volume 8, olupapula 468.