Bayibuli Eyogera ki ku Kulabirira Abazadde Abakaddiye?
Bayibuli ky’egamba
Abaana abakulu be balina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okulabirira bazadde baabwe abakaddiye. Bayibuli egamba nti abaana abakulu basaanidde ‘okuyiga okwemalira ku Katonda mu maka gaabwe era n’okuwa bazadde baabwe . . . kye bagwanidde okubawa, kubanga kino kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.’ (1 Timothy 5:4) Abaana abakulu bwe bakakasa nti bazadde baabwe balabirirwa, baba bagondera ekiragiro ekiri mu Bayibuli ekigamba nti abaana balina okussaamu bazadde baabwe ekitiibwa.—Abeefeso 6:2, 3.
Bayibuli tewa bulagirizi bulambulukufu bukwata ku ngeri y’okulabiriramu abazadde abakaddiye. Kyokka, erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza abaalabirira bazadde baabwe. Ate era erimu amagezi agasobola okuyamba abo abalabirira abazadde abakaddiye.
Abantu abamu baalabiriranga batya bazadde baabwe abaali abakaddiye mu biseera eby’edda?
Baakikola mu ngeri ez’enjawulo, okusinziira ku mbeera eyabangawo.
Yusufu yali abeera mu kitundu ekyali ewala ennyo okuva kitaawe Yakobo, eyali akaddiye we yali abeera. Yusufu bwe yafuna obusobozi yakola enteekateeka n’aleeta kitaawe abeere kumpi naye. Oluvannyuma Yusufu yafunira kitaawe aw’okubeera, yamuwanga emmere, era yamukuumanga.—Olubereberye 45:9-11; 47:11, 12.
Luusi yasengukira mu nsi ya nnyazaala we era yakolanga nnyo okusobola okumulabirira.—Luusi 1:16; 2:2, 17, 18, 23.
Yesu, bwe yali anaatera okufa, yafunira maama we, Maliyamu, omuntu ow’okumulabirira, era nga mu kiseera ekyo kirabika yali nnamwandu.—Yokaana 19:26, 27. a
Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okuyamba abo abalabirira abazadde abakaddiye?
Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba abo abalabirira bazadde baabwe abakaddiye okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe, oluusi obuyinza okuba nga si bwangu.
Bazadde bo basseemu ekitiibwa.
Bayibuli ky’egamba: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”—Okuva 20:12.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Bazadde bo basseemu ekitiibwa ng’obaleka okwesalirawo bye baagala okusinziira ku busobozi bwabwe. Bwe kiba kisoboka, baleke beesalirewo ku ngeri y’okubalabiriramu. Mu kiseera kye kimu, basseemu ekitiibwa ng’okola kyonna ky’osobola okubayamba.
Tegeera embeera yaabwe era ba mwetegefu okusonyiwa.
Bayibuli ky’egamba: “Obutegeevu bw’omuntu bukkakkanya obusungu bwe, era bw’abuusa amaaso ensobi y’omulala kimulungiya.”—Engero 19:11.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Muzadde wo akaddiye bw’ayogera ebigambo ebitali bya kisa oba n’alaga nti tasiima by’omukolera, weebuuze nti, ‘Singa nze mbadde mu mbeera gy’alimu nnandiwulidde ntya?’ Bw’ofuba okutegeera embeera gy’alimu era n’oba mwetegefu okusonyiwa, oyinza okwewala okuleetera embeera okweyongera okwonooneka.
Weebuuze ku balala.
Bayibuli ky’egamba: “Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka, naye bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.”—Engero 15:22.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Noonyereza ku ngeri y’okujjanjabamu obulwadde bazadde bo bwe bayinza okuba nabo. Noonyereza ku buyambi obw’enjawulo obuli mu kitundu kyo bazadde bo bwe basobola okuganyulwamu. Yogerako n’abalala abaali balabiridde ku bazadde baabwe abakaddiye. Bw’oba ng’olina baganda bo ne bannyoko, lowooza ku ky’okutuula awamu mwogere ku byetaago by’abazadde bammwe, ku ngeri y’okubalabiriramu, era ne ku ngeri y’okugabanamu obuvunaanyizibwa.
Beera mwetowaaze.
Bayibuli ky’egamba: “Abeetoowaze baba ba magezi.”—Engero 11:2.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Tegeera obusobozi bwo we bukoma. Ng’ekyokulabirako, buli muntu talina biseera bimala era n’amaanyi ge galiko ekkomo. N’olwekyo, oyinza obutakolera bazadde bo ebyo byonna bye wandyagadde kubakolera. Bwe weesanga ng’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira bazadde bo bukuyitiriddeko, lowooza ku ky’okusaba obuyambi okuva eri ab’eŋŋanda zo abalala oba okuva eri abasawo.
Weerabirire.
Bayibuli ky’egamba: “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.”—Abeefeso 5:29.
Oyinza otya okukolera ku magezi ago? Wadde ng’olina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira bazadde bo, kijjukire nti weetaaga okukola ku byetaago byo n’eby’ab’omu maka go bw’oba ng’oli mufumbo. Weetaaga okulya obulungi. Olina okuwummula n’okwebaka ekimala. (Omubuulizi 4:6) Ate era bw’oba obalabirira weetaaga okuwummulamu we kiba kyetaagisizza. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba osobola bulungi—mu mubiri ne mu birowoozo—okulabirira bazadde bo.
Ddala Bayibuli egamba nti abazadde abakaddiye balina kulabirirwa nga bali waka?
Bayibuli teyogera butereevu obanga abaana abakulu balina kulabirira bazadde baabwe nga bali waka. Ab’omu maka abamu basalawo okulabirira bazadde baabwe nga bali waka okutuusa bwe kiba nga tekikyasoboka. Kyokka, ekiseera kiyinza okutuuka ne bakiraba nti kyetaagisa okubatwala mu bifo gye balabirira abakaddiye. Ab’omu maka basobola okutuula awamu ne basalawo ekisinga obulungi eri buli omu.—Abaggalatiya 6:4, 5.
a Omwekenneenya wa Bayibuli omu ayogera bw’ati ku mbeera eyo: “Kirabika Yusufu [bba wa Maliyamu] yali yafa dda era nga mutabani we Yesu ye yali amulabirira, naye kati yali agenda kufa, ani yandimulabiridde? . . . Wano Kristo ayigiriza abaana okulabirira bazadde baabwe abakaddiye.”—The NIV Matthew Henry Commentary in One Volume, olupapula 428-429.