AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA
Abaana n’Emikutu Emigattabantu—Ekitundu 2: Okuyigiriza Omwana Wo Engeri y’Okukozesaamu Obulungi Emikutu Emigattabantu
Abazadde bangi bwe balowooza ku bizibu ebiva mu kukozesa emikutu emigattabantu tebakkiriza baana baabwe kugikozesa. Kyokka, bw’okkiriza omwana wo okukozesa emikutu emigattabantu, oyinza otya okumuyamba okwewala ebizibu ebiva mu kugikozesa era n’okugikozesa obulungi?
Ebiri mu kitundu kino
Omwana wo by’atwala ng’ebikulu
Ky’osaanidde okumanya: Olw’okuba omuntu asobola okwemalira ku mikutu emigattabantu, omwana wo ayinza okwetaaga obuyambi bwo okusobola okussa ekkomo ku biseera by’amala ku mikutu egyo.
Omusingi gwa Bayibuli: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’—Bafiripi 1:10.
Eky’okulowoozaako: Ebiseera omwana wo bye yandibadde akozesa okwebaka, okukola ebyamuweereddwa ku ssomero, oba okuba awamu n’abalala mu maka abimala ku mikutu emigattabantu? Abanoonyereza bagamba nti abatiini beetaaga okwebaka okumala essaawa mwenda buli kiro, naye abo abamala essaawa ennyingi mu lunaku nga bakozesa emikutu emigattabantu bayinza okwebaka okumala essaawa eziri wansi w’omusanvu.
Ky’oyinza okukola: Yogerako n’omwana wo ku bintu by’alina okutwala ng’ebikulu, era mwogere ku nsonga lwaki ky’amagezi okussa ekkomo ku biseera by’amala ku mikutu emigattabantu. Teekawo amateeka amangu okugoberera, gamba ng’obutamukkiriza kukozesa ssimu ekiro ng’ali mu kisenge. Ekigendererwa kyo kyakuyamba mwana wo kukulaakulanya kwefuga, engeri ejja okumuyamba ng’akuze.—1 Abakkolinso 9:25.
Enneewulira y’omwana wo
Ky’osaanidde okumanya: Omuvubuka bw’atunuulira ebifaananyi by’abalala ebiba birongooseddwamu, n’ebifaananyi ebiraga ebintu byokka ebinyuma mikwano gye bye baakoze, ayinza okweraliikirira, okwennyamira, n’okuwulira ekiwuubaalo.
Omusingi gwa Bayibuli: ‘Mweggyeemu . . . obuggya.’—1 Peetero 2:1.
Eky’okulowoozaako: Okukozesa emikutu emigattabantu kireetedde omwana wo okuwulira nti alabika bubi? Omwana wo awulira nti abalala banyumirwa obulamu naye ye tabunyumirwa?
Ky’oyinza okukola: Yogerako n’omwana wo ku kabi akali mu kwegeraageranya n’abalala. Kimanye nti abawala bakosebwa nnyo okusinga abalenzi, kubanga abawala bassa nnyo essira ku mikwano n’endabika. Omwana wo oyinza n’okumukubiriza okukendeeza ku mirundi gy’akozesa emikutu emigattabantu. Omuvubuka omu ayitibwa Jacob agamba nti: “Essimu yange nnagiggyamu programu z’emikutu emigattabantu okumala ekiseera. Kyannyamba okutereeza mu bye ntwala ng’ebikulu awamu n’engeri gye nnali nneetwalamu ne gye nnali ntwalamu abalala.”
Engeri omwana wo gye yeesisaamu ku Intaneeti
Ky’osaanidde okumanya: Okubeera ku mikutu emigattabantu kigeraageranyizibwa ku kubeera mu maaso g’abantu abangi. Kyangu okufuna obutategeeragana era n’obutakkaanya.
Omusingi gwa Bayibuli: “Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma . . . mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne.”—Abeefeso 4:31, 32.
Eky’okulowoozaako: Okukozesa emikutu emigattabantu kireetedde omwana wo okutandika okukola olugambo, okufuna obutakkaanya n’abalala, n’okwogera ebigambo ebitali bya kisa?
Ky’oyinza okukola: Yamba omwana wo okuba n’empisa ennungi ng’ali ku Intaneeti. Ekitabo Digital Kids kigamba nti: “Buvunaanyizibwa bwaffe ng’abazadde okuyigiriza obulungi abaana baffe nti tekikkirizibwa kweyisa mu ngeri ey’obukambwe—ka kibe nti bali ku Intaneeti oba nga bali mu buntu n’abantu abalala.”
Kijjukire nti okukozesa emikutu emigattabantu si kyetaago kya bulamu era si buli muzadde nti akkiriza omwana we okugikozesa. Bw’okkiriza omwana wo okukozesa emikutu emigattabantu, osaanidde okukakasa nti omwana wo mukulu ekimala okusobola okussa ekkomo ku biseera by’amalako, okukola emikwano emirungi, era n’okwewala ebintu eby’obuseegu.