Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kiki Kye Nnyinza Okukola Singa Bazadde Bange Baba Bagenda Kwawukana?

Kiki Kye Nnyinza Okukola Singa Bazadde Bange Baba Bagenda Kwawukana?

Ky’osaanidde okukola

 Babuulire bw’owulira. Buulira bazadde bo ennaku oba okweraliikirira kw’olina. Oboolyawo bayinza okukubuulira ekigenda mu maaso ne kikuyamba obuteeraliikirira nnyo.

 Bazadde bo bwe baba tebalina kye bakugambye ku nsonga eyo, oyinza okufunayo omuntu omukulu gwe weesiga n’oyogerako naye.—Engero 17:17.

 N’ekisingira ddala obukulu, osaanidde okwogera ne Kitaawo ow’omu ggulu, oyo “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Mutegeeze byonna ebikuli ku mutima ‘kubanga akufaako.’—1 Peetero 5:7.

By’otosaanidde kukola

Obulumi bw’oyitamu nga bazadde bo baawukanye bufaananako obw’omuntu amenyese omukono—buba bwa maanyi nnyo mu kusooka naye ekiseera kituuka ne bugenda

 Tosiba kiruyi. Bazadde ba Daniel baayawukana nga wa myaka musanvu, era agamba nti “bazadde bange baali beerowoozaako bokka. Ffe abaana tebaatulowoozaako n’akamu.”

 Daniel ayinza kufuna buzibu ki singa yeeyongera okusibira bazadde be ekiruyi?—Soma Engero 29:22.

 Wadde ng’eky’abazadde be okwawukana kyamukosa nnyo, lwaki Daniel yandibadde abasonyiwa?—Soma Abeefeso 4:31, 32.

 Weewale okukola ebintu ebiyinza okukuviiramu emitawaana. Denny agamba nti “bazadde bange bwe baayawukana nnanakuwala nnyo. Ebintu byatandika obutaŋŋendera bulungi ku ssomero era ebigezo eby’omwaka ogwo nnabigwa. Nnafuuka kazannyirizi mu kibiina era nnateranga okulwana n’abaana abalala.”

 Ggwe olowooza Denny yali asuubira kufuna ki mu kubeera kazannyirizi mu kibiina era n’okulwananga n’abaana abalala?

 Omusingi oguli mu Abaggalatiya 6:7 guyinza gutya okuyamba abavubuka abali mu mbeera ng’eya Denny okwewala okukola ebintu ebiyinza okubaviiramu emitawaana?

 Obulumi bw’olina ku mutima buyinza obutagenda mangu. Naye ojja kuguma ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo.

Obulumi bw’oyitamu nga bazadde bo baawukanye bufaananako obw’omuntu amenyese omukono—buba bwa maanyi nnyo mu kusooka naye ekiseera kituuka ne bugenda